TUTEREEZE ENJOGERA Y'OLULIMI LWAFFE OLUGANDA
Polof. Dan D. Ntanda Nsereko
Mu bbanga ttono eryakayita waliwo enjogera ezisenseredde olulimi lwaffe Oluganda, kyokka nga nkyamu era nga ziwaawaaza amatu. Enjogera zino tuyinza okuzigeraageranya n'akawuka kannamuginga akalumba era ne kasenkenya omuti empolampola kimomozo ate nga ku mbiro; ogenda okwejjuukiriza nga omuti gusigadde kiwowongole. Enjogera zino tuteekwa kuzirwanyisa n'amaanyi, sinakindi nga olulimi lwaffe lusaanawo. Nga jjajjaffe M.B. Nsimbi bwe yawanjaga mu 1950 (Olulimi Oluganda), "tusaanidde okutakabanira Olulimi lwaboffe Oluganda luleme kufaafaagana n'okubula kagenderere, so nga Abaganda bannannyinirwo bakyaliwo."Wano ndaga ezimu ku njogera ezo enkyamu awamu n'ezo ze nkakasa okuba entuufu.
1.Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
njagala lya mmere njagala kulya mmere
njagala ggenda Kampala njagala kugenda Kampala
njagala ssoma kitabo njagala kusoma kitabo
njagala yiga njagala kuyiga
2. Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
nze ali mu kiyungu nze ndi mu kiyungu
nze eyabadde avuga nze nabadde nvuga
nze amwagala nze mmwagala
nze ayimba nze nnyimba
ffe abayimba ffe tuyimba
ffe abaasinze ffe twasinze
si ffe abasokoolamu ebintu si ffe tusokoolamu ebintu
ggwe eyatutte ensimbi zange ggwe watutte ensimbi zange
ggwe nze ayagala ggwe njagala
mmwe abaleese emiti mmwe muleese emiti
ye eyaleese emiti ye yaleese emiti
be abaleese emiti be baleese emiti
3. Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
ndi mu kugenda Kampala ηηenda Kampala
tuli mu kusoma bitabo tusoma bitabo
bali mu kutuula batudde
tuli mu kuzuukuka tuzuukuse
abo abali mu kubba ebikajjo byange abo ababba ebikajjo byange
ensigo eziri mu kutundibwa mbi ensigo ezitundibwa mbi
4. Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
waliwo kye sitategedde waliwo kye sitegedde
5. Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
miriyooni kakadde
biriyooni kawumbi
katabalika (tuliriyooni) kasedde
katabalika (tuliriyooni olukumi) kafukunya
6. Enjogera enkyamu enjogera entuufu
ensongalwaki nzize ekindeese, ensonga endeese oba kyenvudde nzija
mmanyisa olunaku ddi lw'olijja mmanyisa olunaku lw'olijja
mmanyisa ekifo wa gy'ogenda mmanyisa ekifo gy'ogenda
mmanyisa omuntu ani gw'oyagala mmanyisa omuntu gw'oyagala
mmanyisa ensonga ki ekuleese mmanyisa ensonga ekuleese
mmanyisa langi ki gy'oyagala mmanyisa erangi gy'oyagala
yiga engeri ki ey'okulima katunguluccumu yiga ennnima ya katunguluccumu
simanyikiki ekinaabaawo simanyi kinaabaawo
omuwendo gw'ente mmeka eziriwo omuwendo gw'ente eziriwo
7. Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
mukwano wange mukwano gwange
mikwano bange mikwano gyange
mukwano wo mukwano gwo
mikwano bo mikwano gyo
bakwano bange mikwano gyange
bakwano bo mikwano gyo
bakwano bammwe mikwano gyammwe
bakwano baabwe mikwano gyabwe
mikwano bammwe mikwano gyammwe
mikwano be mikwano gye
abeηηanda bange abooluganda
abeηηanda baffe abooluganda
abeηηanda bammwe abeηηanda zammwe
abeηηanda baabwe abeηηanda zaabwe
8. Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
maama wange maama, nnyabo oba mmange
maama waffe nnyaffe
taata wange taata oba kitange
taata waffe taata oba kitaffe
ssenga wange ssenga oba sseηηange
bassenga baffe bassenga oba bassengaffe
kojja wange kojja oba kojjange
jjajja wange jjajja oba jjajjange
jjajja waffe jjajjaffe
mwannyina wange mwannyinaze
mwannyina waffe mwannyinaffe
mwannyina wo mwannyoko
mwannyina wammwe mwannyinammwe
mwannyina waabwe mwannyinaabwe
bba wange baze
bbaawo balo
bbaawe bba
babba baabwe babbaabwe
9. Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
Mwami Ssaalongo Ssaalongo
Mukyala Nnaalongo Nnaalongo
Mwami Mulangira Mulangira
bampita Nsereko nze Nsereko
10.Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
zibbanka bbanka
zibbaasi ssatu bbaasi ssatu
ziroole loole
zikampuni kampuni oba amakampuni
zimmotoka mmotoka
zibulangiti bulangiti
zidisitulikitisi zonna disitulikiti zonna
ziyunivaasite zaffe yunivaasite zaffe
zikkomitiizi obukiiko
ziwoofiisi ofiisi
11.Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
yagenze Mulago okubeera nga ajjanjabwa yagenze Mulago kujjanjabwa
bazze babeere nga bayiga Oluganda bazze kuyiga Luganda
mujje mubeere nga mutendekebwa okuyimba mujje mutendekebwe okuyimba
bajja kubeera nga bakomawo ku ssaawa bbiri bajja kukomawo ku ssaawa bbiri
tuli mu kubeera nga tulina amafuta tulina amafuta
yasoboddde okubeera nga abeegattako yasobodde okubeegattako
yinsuwa eyamba ababa babeera bafunye ebizibu yinsuwa eyamba ababa bafunye ebizibu
yitayo osobole okubeera ng'omanya ebisingawo yitayo omanye ebisingawo
jjangu osobole okubeera nga oyiga jjangu oyige
mwebale okubeera nga mutuwuliriza mwebale kutuwuliriza
tagenda kubeera nga abeerawo tajja kubaawo
agenda kuba/kubeera nga abeerawo ajja kubeerawo
enkalala z'abalonzi tezinnaba kubeera nga zifuluma enkalala z'abalonzi tezinnafuluma
12. Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
nnyina nnina
tuyina tulina
oyina olina
muyina mulina
bayina balina
enju eya kayina enju eya kalina
13.Enjogera enkyamu enjogera entuufu
ekizibubaakigonjodde na kulonda (vote) ekizibu baakigonjodde na kukuba kalulu
omubaka oyo tayogera, alonda bulonzi omubaka oyo tayogera, akuba bukubi kalulu
ggwe ojja okusisinkana ebisale by'obwetissi ggwe ojja okusasula ebisale by'obwetissi
batunda kamukamu n'okusuubuza batunda lejjalejja ne kolijja
atwaliddwamu kkooti avunaanyizibwe atwaliddwa mu kkooti avunaanibwe
omuwababi omuwaabi
omuwaabirwa omuwawaabirwa
ssaabawababi wa gavumenti ssaabawaabi wa gavumenti
abalamuzi b'omupiira ddiifiri, abafuuyi, oba abasazi
14. Kompyuta
Ekigambo "kompyuta" kyagandawazibwa kuva mu kigambo ky'Olungereza "computer."Kyokka aboogezi b'Oluganda abamu bakiyita ekyuma kikalimagezi, nga balowooza nti olwo bazimba Luganda. N'obuwombeefu, nze ndaba nti bakyamu. Ekyuma obuuma tekisobola kuba na magezi, kubanga tekirowooza era tekiyiiya. Omuntu eyakiyiiya awamu n'oyo ayiiya pulogulaamu z'akiteekamu be basaanye okuyitibwa "bakalimagezi." Ekyuma kikola bukozi ekyo nnannyinikyoky'akiragira okukola,okusinziira ku pulogulaamu gy'akiteekamu. Kyova owulira enjogera eno nti "gasiya ayingira, ye gasiya afuluma."Tewali kuwannaanya nga kompyuta kyuma kya mugaso nnyo. Ebintu ebimu omuntu by'akola nga yeeyambisa kompyuta, ddala byewuunyisa: gamba nga okuddaabiriza ekizungirizi nga kiri ewala eyo mu bwengula.Yii, wamma omuntu Katonda yamuwa amagezi!Nolwekyo nkubira nga ηηamba nti ekyuma kino okukiyita kompyuta kimala. Kyangu okwatula mu Luganda; era kyangu okuwandiika.Kye kimu ku bigambo ebigwira, gamba nga "blanket" (bulangiti )ne "bus" (bbaasi) ebituufu okugandawaza.
15. Ekigambo "nkomeredde"
Mu ggulaama y'Oluganda, ekigambo "nkomeredde" kyandibadde nnakongezakikolwa.Kitegeeza nkalakkalira oba lubeerera oba kiseera kyonna. Labira ku lugero lw'Abaganda luno nti:
"Nkomeredde, nga Lubaale wa Nabuzaana."
Anti Lubaale Nabuzaana bwe yatembanga omuntu ku mutwe nga tamuvaako.Kino abakyala Abaganda baakiyaayaaniranga nnyo, kibasobozesenga okwekuukuulubyanga mu bisaakaate by'abaami ekiseera kyonna nga bwe baagala.Eby'embi, Nabuzaana teyabakwatanga. Ku kino kwe kwava olugero olulala nti:
"Ky'oyagala tekijja gy'oli, Nabuzaana akwata Banyoro."
Ekyokulabirako ekirala eky'enkozesa y'ekigambo kino entuufu yiino: Michael B, Nsimbi mu kitabo kye Olulimi Oluganda(1950), bwe yali annyonnyola amakulu g'enjogera "nnaasula bbiri Kkungu Buyoozi" yawandiika n'agamba bw'ati:
"Ebigambo ebyo bigambibwa omuntu agenderera okumala ennaku entono mu kifo, [kyokka] n'akirwamu oba n'akituuliramu ddala enkomeredde."
Amakulu gano era gakakasibwa ne John D. Murphy (nga ayambibwako Fr. Clement Kiggundu, Rmigius Kintu, Rebacca Kiziri, Younus Mpagi, Harriet R. Mukasa ne Br. Tarcisius Nsobya) mu Luganda- English Dictionary (1972). Ekigambo bakikyusa mu Lungereza nga eternal oba perpetual.Ekyokulabirako, essanyu ery'enkomeredde.
Ebyembi, abantu bangi mu nsangi zino, naddala bannamawulire, ekigambo "nkomeredde" bakikozesa nga nnakongezalinnya etegeeza eky'enkomerero oba eky'oku ntikko.Ekyokulabirako:Bukedde owa 27 Novemba 2012 yawandiika nti:
"Ebbago [ku mafuta] singa liyisibwa nga bwe liri mu kaseera kano libeera liwa minisita obuyinza obw'enkomeredde okuwa kkampuni z'amafuta olukusa..."
Obubaka Bukedde bwe yali ayagala abasomi be bafune bwandiwandiikiddwa bwe buti:
"Ebbago[ku mafuta] singa liyisibwa nga bwe liri mu kaseera kano,lijjakuwa minisita obuyinza obw'enkomerero oba obw'oku ntikko oba obutakubwako mukono okuwa kkampuni z'amafuta olusa ..."
Ekyokulabirako ekirala kisangibwa mu kitabo kya Charles Peter Mayiga, Buganda ku Ntikko (2013):
"Embuga z'abakulu b'ebika zaali tezikyalina buyinza bwa nkomeredde mu kulamula abazzukulu."
Empandiika entuufu yandibadde bw'eti:
"Embuga z'abakulu b'ebika zaali tezikyalina buyinza bwa nkomerero oba obw'oku ntikkoobaobutakubwako mukonomu kulamula abazzukulu."
Ka nsuubire nti okutangaaza kuno kunaasobozesa aboogezi n'abawandiisi b'Oluganda okukozesa ekigambo kino mu ngeri entuufu.
16. Ekigambo "kawaayiro" n'ebigambo ebirala ebyekuusa ku mateeka
Aboogezi abamu bwe baba bajuliza Ssemateeka n'amateeka amalala batera nnyo okukozesa ekigambo "kawaayiro."Mu kulaba kwange, ekigambo ekyo bakikozesa mu bukyamu.Bwe kiba kikozesebbwa mu makulu g'akyo amatuufu, ekigambo "kawaayiro" kitegeeza ekitundu ekiwaayire, ekiyunge oba ekikookere ku nkomerero y'etteeka.Anti "okuwaayira" kitegeeza kuyunga oba kukookera. Ebiseera ebisinga obungi ekigambo ekituufu aboogezi abo kye baba bategeeza ye "nnyingo" ("article mu Ssemateeka)oba "katundu"("section"mu tteeka eddala).
Enjogera entuufu ey'ebigambo ebitera okujulizibwa mu mboozi ezeekuusa ku mateeka ne ku gavumenti yandibadde bw'eti:
Constitution - Ssemateeka oba Konsitityusoni;
Act oba statute - tteeka (gamba Penal Code Act - Etteeka ly'Ebibonerezo);
byelaws, regulations, oba rules - buteeka;
chapter - ssuula;
article - nnyingo;
section - katundu;
subsection- katundu ka katundu;
paragraph- palagulaafu;
schedule - sedule;
annex oba appendix - kawaayiro;
proviso - oba conditionkakwakkulizo;
provision - katundu konna mu tteeka;
Supreme Court- Kkooti y'oku Ntikko;
Constitutional Court - Kkooti Etaputa Ssemateeka oba Kkooti ya Ssemateeka
Court of Appeal - Kkooti Ejulirwamu;
High Court - Kkooti Enkulu;
Magistrate's Court - Kkooti Ento;
International Court of Justice - Kkooti y'Ensi Yonna;
International Criminal Court - Kooti y'Ebibonerezo ey'Ensi Yonna;
summons- semaanisi
bail- kweyimirirwa
warrant of arrest - waalanta.
exhibit - kizibiti
federal - federo;
federetion - federesoni;
unitary - kipooli;
kingdom - bwakabaka;
republic - kyetwala;
central government - gavumenti eya wakati;
local government - gavumenti ez'ebitundu.
17. Okujoboja
Okujobojagwe muze gw'okwogera Oluganda nga otabiikirizaamu ennimi endala.Omuze guno gusinga kuba mu abo abeeyita abayigirize oba abasomyeko ku nnimi engwira, naddala Olungereza.Kino tukiwulira lunye ku mikutu gya leediyo ne ttivvi.Enjogera eno ewaawaaza nnyo amatu.N'okutamya etamya nnyo ebiba byogerwa, kubanga birumira, wozzi nga ettaka mu nswa.Kiweebuula era ne kijungulula olulimi Oluganda.Abatabiikiriza Olungereza mu Luganda bakikola lwa nsonga nnyingi. Ezimu ku zo ze zino: kulaga nga bwe bamanyi ku Lungereza;buteekakasa ku bye baba boogera; butasooka kufumiitiriza na kusengeka nsonga ze baba bagenda okwogerako;okulowooza nti Oluganda lwa wansi,lwavu mu bigambo era mbu lwo lwokka terumala kwogererwamu birowoozo bya magezi. Naye ndowooza ensonga esinga okuvaako okujoboja kya Baganda butaba bannyikivu mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa, butafaayo kulukaza, butamanya bukulu bwalwo, bulagajjavu na buteefuga. Nkakasa nti singa tussaayo omwoyo,ne tumalirira era ne twekakaba, tusobola okunyumya emboozi empanvu nga tetutabiikirizzaamu Lungereza.
Ku nsonga eno neekola nnyo bannabyabufuzi n'abakungu ba gavumenti abalala abatali bamu abatali Baganda, be ntera okuwulira ku mikutu gya leediyo ne ttivvi, abafuba ennyo okwogera Oluganda nga tebalutabiseemu nnimi ndala. Emboozi zaabwe ziba mpoomu, teziwaawaaza matu, era nga nnyanguokutegeera.Abakulu abo bawa olulimi lwaffe ekitiibwa.Siraba kirobera bannaabwe Abaganda, bannannyini lulimi,nabo okwekakaba ne boogera Oluganda olusengejje nga bo.Wano era sirema buteebaza abateesiteesi era abakubiriza ba pulogulaamu ku leediyo ne ttivvi ezimu abafuba okuwabula abagenyi baabwe abazoogereramu okwekomako bwe baba batandiikiriza okujoboja.Bannange, temuggyanga okwo.
18. Oluganda lusobola okwetengerera
Aboogezi bangi batera okuwagika ebigambo by'Olungereza ku by'Oluganda.Ebyokulabirako bye nawulira ku leediyo ezimu:
(i) Enkuηηaana z'ensiisira, ziyite zicampmeetings, zaawedde bulungi.
(ii) Buli ntebe yagula ddola za Amerika enkumi ttaano, five thousand United States dollars.
(iii) Olukusense, Abazungu lwe bayita measles, lukyase nnyo mu nsangi zino.
(iv) Enswaswa, Abazungu gye bayita monitor lizard, ewangaala emyaka munaana.
(v) Basabye gavumenti esseewo akakiiko akabuuliriza, oba mu lufuutifuuti, commission of inquiry, keekenneenye ensonga eno.
Naye ddala muganyulo ki oguli mu kuwagika ebigambo by'Oluzungu ebyo ku by'Oluganda mu sentensi zino?Tewali.Omuze gw'okuwagika ebigambo ebyo ku Luganda gufeebya n'okukonzibya ne gukonzibya Oluganda; teguluganya kusajjakulana kwetengerera lwokka. Gwoleka buteekakasa nakwesibira mu buddu bwa birowoozo obw'enkomeredde obutuwalula okulabira buli kantu okuyita mu ndabiso z'Abazungu. Okuwagika ebigambo ebigwira okw'engeri eno kusaanye kukome, okuggyako mpozzi ngaomwogezi ajuliza bigambo bya saayansi ebitannayingira na kugundiirira mu Luganda.
19. Omulanga
Emyaka nga 65 egiyiseewo M.B. Nsimbi yayolekanga olulimi Oluganda bwe lwali lugenda lubuutikirwa n'okufeebezebwa ennimi endala ezaali zoogerwa mu Bugannda mu kiseera ekyo.Yalagula nti "emyaka ng'ataano okugenda okuyitawo, waliba tewakyali Baganda aboogera Oluganda lwennyini." Yawanjaga n'agamba nti:
"Kino kye kiseeraeky'okuziyiza akabi akasemberedde olulimi Oluganda.Omulimu gw'okuziyiza akabi ako gwa Baganda bennyini. Enjogera y'olulimi Oluganda entuufu, Abaganda tebeetaaga kugiyigirizibwa bantu ba mawanga malala, kuba yo bagiyonka mu mabeere."
Kirabika nga jjajjaffe oyo bye yalagula bigenda bituukirira.Okulaajana kweAbaganda tukusudde muguluka.Anti buli lukya enjogera y'Oluganda egenda yeeyongera kudobonkana.Wulira Pawulo Kafeero bw'awanjaga mu luyimba lwe, Olulimi Lwange, nti:
"Nvuga livansi, oba ηηenda mu maaso?
Olulimi lwange okudobonkananga luti.
Lwonna ne lufuuka ekitakyasanyusa.
Ffe kennyini nga tulufudde ekidiba omuwugwa"!
Kitalo! Kale nno nange nkuba omulanga eri abazadde mu maka, abasomesa mu masomero, bakabona mu masinzizo, n'abakulembeze ab'emitendera gyonna egy'enjawulo,babe basaale mu kutaasa Oluganda.Basaanye babe kyakulabirako ekirungi mu njogera y'Oluganda entuufu, era eruweesa ekitiibwa.Bwe bataakikole, Oluganda lusaanawo.Ate nga olulimi lye ggwanga.N'ekirala, nkizudde nga emikutu gya leediyo ne ttivvi nagyo gikola kinene mu kuyigiriza oba mu kuwabya abawuliriza baagyo ku njogera y'Oluganda.Noolwekyo, nsaba abateesiteesi ba pulogulaamu ku mikutu egyo bassennyo omulaka ku njogera y'Oluganda entuufu era ey'omutindo. Aboogezi be bayita okwetaba mu pulogulaamu zaabwe nabo basaanye babalabulirengawo bajje nga beetegese okwogera olulimi ku mutindo ogusaanidde, nga tebajoboja oba okuwagika ebigambo ebigwira ku Luganda ebitasaanira. Wano nno neebaza nnyo emikutu gya leediyo ezimu egifuba okuwabula aboogezi baazo ababa basobezza mu njogera y'Oluganda. Tebaggyanga okwo.Abawuliriza leediyo ya BBC eya Bungereza tebalema kutendereza mutindoogwa wagguluolulimi Olungereza gye lwogerwamu.Ka naffe twekakabe, twekembe, twejuubetutaase era tutumbuleomutindo gw'enjogera y'olulimi lwaboffe Oluganda.
© 2014 Dan D. Ntanda Nsereko
Sennoga shafiq
Nsanyuse okufuna wensobola okuteleeleza olulimi o luganda, Banange mwebale nyo omulimu guno
Gulere , Ph.D.
Omwami, omwamizi, okwama, okwamya, my kutegeera kwange - president, director or leader, to yield, to support yield.
Bagala Joe
Tubebaza nyo olw'omurimu guno gwe mukola..!
Margaret Nankinga
Weebale ssebo okuwabula kwo naye ekyo si kituufu, ekigambo ekyo ky'owandiise ''kawaayiro'' kiwangaala. Tewandiwangadde singa mu maaso ga 'wa' wabaddewo ennukuta ey'ekinnyindwa ng'egattiddwa ku nsirifu
Mukasa Tebajjanga
Okuwabula: Mu luganda bwe tuwandiika ekigambo okugeza "Kawaayiro" tekiwangaala ntegeeza nti waa tewangaala.