Ebijaguzo by'okukuza wiiki y'ennimi za Afirikaennansi bituuse ne mu masomero ne gakubirizibwa okwgazisa abayizi ennimi zaabwe n'okubatendeka okuziyiiyizaamu amagezi ag'ekikugu basobole okukulaakulanya amawanga gaabwe.
Omukwanaganya w'akakiiko akakwanaganya ebikujjuko byawiiki y'ennimi za Afirika ennansi Margaret Nankinga bino yabyogedde bwe yabaddeku bujaguzo bya wiiki eno ebyategekeddwa ku ssomero lya St. Martin's S.S e Naggalama, Mukono. Eno abayizi baayolesezza obukugu bwabwe mu kusoma bwino munnimi zaabwe, okuvvuunula ebiwandiiko okuva mu Lungereza okubizza mu nnimi zaabwe ssaako ennyimba, amazina n'ebitontome mu nnimi zaabwe enzaaliranwa.
Omugenyi omukulu ku mukolo guno Mw. Andrew Kirabira owa pulojekiti ya Bbanka y'Ensi yonna enoonyereza ku nkola z'obulimi n'obulunzi ez'ekinnansi yatenderezza abayizi olw'omutindo gwe baayolesezza n'abakubiriza okussa amaanyi mu kuyiga okuwandiika, okusoma ennimi zaabwe era n'okuzeeyambisa okuyiiya ebizimba eggwanga.
Omu ku bagenyi okuva mu yunivasite ya UgandaMartyrs e Nkozi, Mw. Robert Mudhasi yennyamidde olw'ennimi ezimu nga Olusoga obutaba na bitabo bimala abaana bye basobola okusoma ne bayiga ennimi zaabwe.Yasabye gavumenti eyambeko abawandiisi mu nnimi zino kisobozese abayizi okufuna ebitabo mu nnimi zaabwe.
Obukulu bw'amaka mu kusomesa abaana ennimi zaabwe gwe mulamwa aboogezi abasinga abaabadde ku mukolo gw'okukuza olunaku lw'ennimi ennansi gwe baasimbyeko amannyo. Omukolo guno gwategekeddwa Ekibiina Ky'olulimi Oluganda ekikulemberwa omukyala Grace Nansubuga..
Omwogezi omukulu ku mukolo guno, Katikkiro w’Ekika ky’Engo, Mw. Lubowa Ssebina Gyaviira ku Lwokusatu ku lunaku lw’okukuza olunaku Lw’ennimi ennansi munsi yonna yakuutidde abazadde obutalagajjalira baana baabwe era bajjumbire okubasomesa ennimi zaabwe babe nga baziyiga kuviira ddala waka.. Omukolo guno gwabadde ku Bulange e Mmengo mu Kampala.
Amyuka omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Bwakabaka Mw. .Peter Zaake, yasabye wabeewo okulambikibwa mu nkozessa y’ebigambo ebitali bimu okusobola okukulaakulanya olulimi Oluganda ng'ono yasembeddwa ne munnakakiiko ka Luganda/ Lusoga/ Lugwere Commission, muky. Naluggya Tomusange eyategeezezza nti omulimu gw'okulabika ku nkozesa y'ebigambo agukoze nnyo naddala mu boogezi b'emikolo gy'okwanjula.. Omukiise mu Lukiiko, Mw. Nviiri yannyonnyodde engeri olunaku luno olwatongozebwa UNESCO gye lwatandikamu.
Margaret Nankinga, akwanaganya akakiiko akategeka ebijaguzo bya wiiki y'ennimi ennansi aka African Languages Coordinating Committee aka African Academy Of Languages (ACALAN) yasabye abazedde okuddamu okujjumbira okugula obutabo obuwandiikiddwa mu nnimi ennansi abaana basobola okubusoma n'okubweyambisa okuyiga okusoma n'okuwandiika ennimi zaabwe.
Yategeezezza nti bo we baakulira ebitabo bingi ebiri mu llimi Oluganda baabisomeranga waka ng'abazadde bajjumbira okubigula ne babissa awaka abaana babisome.
Yasabye okugula ebitabo ebiri mu nnimi zaffe efuuke empisa ya Buganda. Yasabye n'abasomesa nga basomesa abaana obukugu mu mirimu egitali gimu naddala okufumba bayigirize n'abaana obukugu mu bintu ebyabwe eby'ekinnansi nga okufumba emmere ey'ekinnansi ng'eno eyamba okutumbula obulambuzi, eggwanga mwe lifuna ssente.
Ye omuwandiisi webitabo by’olulimi oluganda, Dr Adam Kimala yakunze Abaganda okwagazisa abaana olulimi lwabwe nga balubasomesa okutandikira ddala mu maka mwe basibuka.
Abateesa baasembye Buganda esseewo ekifo mu lubiri lwa Ssaabasajja basomeseza era n'okutundira emmere y'ekinnansi era efumbiddwa mu kinnansi, abalambuzi abajja baveewo nga bategedde byonna ebikwata ku mmere y'Omuganda. (EBIFAANANYI BITUWEEREDDWA EKIBIINA KY'OLULIMI OLUGANDA)
https://lugandalusogalugwerecommission.com/381335025#!/products/olulimi-oluganda-n’ebyobuwangwa--okutungira--omwana-ensawo-0x3a---enkola-y-0x27-ekinnansi--ezimba-ob
BANNAKAKIIKO akateekateeka wiiki y'ennimi ennansi beesitudde ne bagenda mu kibuga Dakar ekya Senegal okwekenneenya bye baatuuseeko mu bijaguzo bya wiiki y'ennimi ennansi ey'omwaka 2023 ate babage n'enteekateeka z'abijaguzo by'omwaka 2024.
Senegal ly'eggwanga omuva abadde Ssentebe w'omukago gw'Amawanga ga Afirika ow'omwaka 2022, Pulezidenti Macky Sall ng'ono yasikiddwa Pulezidenti Azali Assoumani owa Comoros, nga Ssentebe w'Omukago gw'Amawanga ga Afirika (AU) ow'omwaka 2023.
Wiiki y'ennimi za Afirika ekuzibwa buli January okuva 24- 30 .
Mu kuggulawo oluteesa luno akola nga Dayirekita w'embeera z'abantu mu kakiiko k'Omukago gw'Amawanga ga Afirika, Muky. Angela Martins eyasomye okwogera kwa Kaminsona, Omubaka Minata Samate Cessouma ataabaddewo, yagambye nti abaagala okulamula Afirika kirungi bagiramulire ku by'ekola si ku bo bye baagala ekole. Yasabye Abafirika okweggyamu endowooza enkyamu .
Abalala abaayogedde kwabadde akulira ACALAN Dr Dampha Fafa Lang eyalambuludde emirimu gya ACALAN. akulira akakiiko ka bannannimi abakugu mu ACALAN, Polof. Sammy Chumbow ne Polof. Fary Silate Ka.
Buli munnakakiiko yalambuludde ebyakoleddwa mu ggwanga lye mu wiiki y'ennimi ennansi n'okusoomoozebwa kwe baasanze n'oluvannyuma enteeseganya ku mulamwa gwa wiiki y'ennimi ennansi ogw'omwaka 2024 ne guteesebwako era ne kisalibwawo gubeere ku byanjigiriza okukwatagana n'omulamwa gw'Omukago gw'Amawanga ga Afirika ogw'omwaka ogwo.
Ebigambo byennyini eby'omulamwa guno bijja kufulumizibwa nga bimaze okuyisibwa.
Tujjukire okweyambisa ennimi za Afirika okulwanyisa n'okumalirawo ddala enjala, okutumbula ebyobuwangwa ebyenfuna n'enkulaakulana tusobole okuzimba Afirika gye twagala.
Bannakakiiko mu kifaananyi eky'awamu oluvannyuma lw'okuggulawo oluteesa lwabwe.
Muky. Angela Martins ne Dr Dampha mu kuggulawo oluteesa.