Wansi ku muko guno kuliko n'enfumo ezitali zimu nga nazo zaakozesebwanga era zikyakozesebwa okuyigiriza abaana.

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Latest comments

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Bamuyita batya

GENDA NE KU MUKO GUNO:  ENGERO ZA BAJJAJJA 2

Ettooke bwe lyafuna erinnya lyalyo

EDDA ennyo, ku nsi kuno kwalingako abantu ba muswaba abaakeeranga okuyigga okufuna kye balya. Abantu baakwo tebaalinga balimi naye nga bayizzi bamutasubwa era emmere yaabwe yabanga nnyama njigge.

Naye essanyu teribeerera. Olwali olwo ekyeya eky’amaanyi nga kibalumba era ekyava mu kyeya kino y’enjala kakuuse eyaleka abantu nga beerya nkuta, kubanga ensolo nnyingi zaafa ate n’entono ezaasimattuka ne zidduka ne zeeyongerayo nga zinoonya ekyokulya.

Abantu enjala yabanafuya nnyo nga n’abaana baabwe bakeera mu bibira kunoonya kye basobola okuzza eri omumwa.

Lumu, abaana babiri baali bafeffetta ekibira okunoonya kye balya, ne bagwa ku kimera ekyali ekiwanvuwanvu nga waggulu kiriko ebibala ebyali ebya kyenvuyenvu. Abaana bano ababiri omu yabuuza munne oba ebibala bino babirya kyokka nga ku bombi tekuli amanyi kubanga baali tebabirabangako.

Omwana omu yaleeta ekirowoozo nti alinnye agende alye ku kibala alabe oba kiriika. Yawalampa ekimera kino era bwe yatuuka waggulu n’akongola ekibala n’assa mu kamwa n’alya, agenda okuwulira nga kiwooma okukamala olwo n’akongola n’ekirala era olw’obugonvu n’obuwoomi obwakiriko, ng’amiringusa kimiringuse.

Munne eyali asigadde wansi agenda okulaba nga munne ali waggulu awoomerwa okukamala, kwe kumubuuza nga bw’akaaba nti:

“Tokke, tokke nange ndyeko?

Tokke, tokke nange ndyeko?”

Yali amugamba ave ku kimera waggulu akke wansi naye asobole okulinnya yeeriire ku bibala munne bye yali awoomerwa.

Abantu abalala abaali mu kibira nga nabo banoonya ebyokulya wano we baasanga omwana ono ng’ali wansi awanjagira munne ali waggulu amirungusa ebibala nti:

“Tokke, tokke nange ndyeko?

Tokke, tokke nange ndyeko?”

Bwe baatunula waggulu ne balaba omwana alya ebibala ebibuulukuse kwe kumulagira akongole ng’abasuulira wansi era bwe baalyako ne bawulira nga biwooma olwo nabo ne baffeffetta ebibala bino nga bwe balya ebyali bibuulukuse.

Bwe baabanga batuma abaana okugenda mu kibira balabe oba ekimera kiri kye baalyako ebibala ebiwooma oba kyassa ebibala ebirala nga bagamba nti ‘Genda wali we twasanga omwana agamba tokke olabe oba ebibala gyebiri”

Ekigambo tokke, kye kyavaamu ttooke ne lituumibwa ekibala ekyo kye baalya ne kibawoomera era ne leero tuliyita ttooke ate kwe libalira ne tukiyita ekitooke.

Abantu bwe baakoowa okugendanga mu kibira okufeffetta ebibala bino ne basalawo ekimera kino kye baali batuumye ekitooke okukireeta okumpi mu maka gaabwe ne bakisimba era leero bw’otuukayo osanga ensuku ezigudde akaleka

Nange awo we nalabira.

(Wekkaanye nti Abaganda bakkiriza nti ekitooke kyaleetebwa Nambi Nantuttululu naye olugero lwa Nambi terulaga bwe lyajjamu kuyitibwa ttooke.)

Engeri ekiryo gye kyafunamu erinnya lyakyo

GENDA NE KU MUKO GUNO:  ENGERO ZA BAJJAJJA 2

 

 

Awo olwatuuka ne wabaawo omusajja n’awasa mukazi we ne bazaala abaana baabwe bataano.

 

Olwali olwo enjala n’egwa mu kitundu ng’ekyokulya bawamma kiwamme. Lumu maama w’abaana yali anoonya ky’aliisa abaana be ne bba nga takiraba era bwe yali atambulatambula n’alaba oluddo emmanju w’enju olwali lulanze nga luliko n’ebikoola ebinene. Yayagala okunogako ebikoola afumbire abantu be naye nga takakasa oba ddala oluddo luno balulya.

 

Yayita omwana  omukulu n’amutuma agende kitaawe gye yali abajjira, amubuuze oba oluddo olulanda, luli oluli emmanju balulya.

 

Yamukuutira obuteerabira era omwana mu kwagala obuteerabira, yagenda ayimba nti:

 

Maama abuuza nti luli oluli emmanju balulya?

 

Maama abuuza nti luli oluli emmanju balulya?

 

Bwe yali atambula n’atuuka mu kibira kye yalina okuyitamu alyoke agguke emitala kitaawe gye yali abajjira. Bwe yali ayimba ate olwo ebinyonyi ebyali mu kibira nabyo ne bitandika okuyimba nga bwe bimuyeeyereza nti:

 

Jjogo jjogoli jjogoli jjogo jjogoli jjogoli!

 

Jjogo jjogoli jjogoli jjogo jjogoli jjogoli!

 

Omwana yawuniikirira era n’ayimirira n’atandika okuyimba nti

 

Maama abuuza nti luli oluli emmanju balulya?

 

N’ebinyonyi ne biddamu nti

 

Jjogo jjogoli jjogoli jjogo jjogoli jjogoli

 

Baagenda bayimba bwe batyo ekyavaamu n’omwana n’atandika kuyimba jjogo jjogoli jjogoli jjogo jjogoli jjogoli

 

Eby’okugenda ewa kitaawe yabyerabira n’atandika kuyimba jjogoli n’ebinyonyi.

 

Maama bwe yalinda n’alaba ng’omwana tadda kwe kutuma amuddako era n’ono yagenda ayimba aleme kwerabira naye bwe yatuuka awaali mukulu we n’ebinyonyi nga bayimba jjogoli naye n’atandika kuyimba jjogoli era gye baali bamutumye teyatuuka.

 

Maama yatuma Omwana owookusatu n’owookuna naye bonna nga bwe batuuka ku binyonyi nga badda mu kuyimba jjogoli n’ebinyonyi.

 

Oluvannyuma yatuma omwana asembayo obuto n’amukalaatira akomewo mangu amanye oba bafunye kye banaalya. Omwana naye yagenda ayimba asobole obuteerabira:

 

Maama abuuza nti luli oluli emmanju balulya?

 

Bwe yatuuka mu kibira n’asanga bakulu be n’ebinyonyi nga bayimba  Jjogo jjogoli jjogoli jjogo jjogoli jjogoli.

 

Kyokka ye yalemera ku luyimba lwe olwa maama abuuza… era n’abayitako ng’agenda ayimba okutuusa lwe yatuuka ku bbajjiro lya kitaawe n’amubuuza oba oluddo luli oluli emmanju balulya naye n’amuddamu nti yee balulya

 

Yakyusa okudda eka n’agenda ng’ayimba nti:

 

Taata agambye nti luli oluli emmanju balulya

 

Taata agambye nti luli oluli emmanju balulya

 

Bakulu be era yabayitako buyisi n’agenda ategeeza nnyina nti oluddo luli oluli emmanju balulya era n’aloopa ne bakulu be abaali mu kibira nga bayimba jjogoli n’ebinyonyi.

 

Naleka maama alumbye abaana mu kibira ababonereze olw’okumutenguwa ng’abatumye ne badda mu muzannyo, nange ne nkomawo kuno. Awo we nalabira.

 

(Ebigambo luli oluli bye byagattibwa  olwo oluddo olulanda luli oluli emmanju, lwe balya ne batandika okuluyita ‘olulyo’ nga muno mwe mwava erinnya ‘ekiryo’ eriyitibwa ekimera ekissa ensujju).  

 

 

 

ENGERI WAMBUZI, WAMBWA NE WANTE GYE BAASENGA MU MAKA G’OMUNTU

EDDA ennyo, Wango, Wambwa, Wambuzi ne Wante baali baagalana okukamala era nga gubasaza mu kabu, enswa nnene. Baasulanga mu nnyumba emu, nga buli kimu babikola bonna.

Ekizibu kyokka kye baalina kyali nti Wango yalina omululu n’amaddu era  nga ne bw’alya takkuta. Olwali olwo nga Wambuzi azaala abaana be babiri nga bombi ba bitanga era nga banyirira okukamala. Waayita ennaku ntono ne muka Wango naye n’akubawo ebyana bye bibiri naye nga nabyo birungi bizibu. Wamma amaka gaabuguumirira era ne gajjula essanyu.

Wango buli lwe yatunuuliranga abaana ba Wambuzi ng’amaddu gamukwata era nga n’amalusu gamuyiika kubanga yali ayagala kubalya.

Kye yava akola olukwe okubalya.

Yategeeza mikwano gye nga bw’ategeka okugenda okukyala ku buko gye bazaala mukaziwe era n’asaba mikwano gye bamuwerekereko.

Yategeeza banne nga bw’agenda okutwalira abako ettu ly’enswa. Kyokka yali ayisizza olukwe mu mukaziwe eyagenda n’ategeeza abeewaabwe nti omuko bw’aleetanga ettu temusumululanga  wabula mussanga bussa mu ntamu ne mufumba.

Olunaku mulindwa bwe lwatuuka, olwo aboomukwano ne banekera mu byambalo byabwe. Wango yalabiriza Wambuzi ng’agenze okwambala n’akwata abaana be n’abasiba mu ttu lye yali atwala ku buko n’alissa wabbali, naye n’agenda okwetegeka. Mpozzi Wambwa amulabye era Wambuzi bwe yakomawo, Wambwa kwe kumubbirako ku biri mu ttu. Baateesa era ne basala amagezi ne basumulula ettu ne baggyamu abaana ba Wambuzi ne babakweka olwo ne basibamu aba Wango. Bwe baamala ne beesaanya.

Wango bwe yakomawo ne basitukiramu okugenda nga tategedde nti abaana be be basibye mu ttu. Bwe baali bagenda, baasimba lwa kasota ng’omuko (Wango) y’akulembedde n’addirirwa Wambuzi era ono ye yali yeetisse n’ettu eryali litwalibwa ku buko.

Ku Wambuzi kwaddako Wambwa olwo Wante nga y’akoobedde olunyiriri.

Abantu be baayitangako nga bagenda baabuuzanga gye balaga olwo Wango akulembedde ng’addamu nti:

Buuza oyo Wambuzi eyeetisse by’atamanyi!

Abantu bwe baabuuzanga Wambuzi ng’addamu nti:

Amagezi tegaba g’omu!

Bwe baabuuzanga Wambwa ng’addamu nti:

Wanabaawo vvaawompitewo!

Ate bwe baatuukanga ku Wante ye ng’addamu nti:

Emisinde ginadding’ana.

Abantu baabalekanga bawuniikiridde nga beewuunya ebigambo ebibaddiddwaamu era baagenda bwe batyo, okutuusa lwe baatuuka ku buko.

Eno baabaniriza n’essanyu era olwali okutikkula ekitereke ne bakola nga bwe baabagamba, ne bassa mu ntamu ne bafumba.

Abako bwe baayingizibwa mu nju, ye Wante yasigala bweru ng’agamba nti mu nju tagyamu ate Wambwa ne Wambuzi baatuula kumpi ddala n’omulyango nga Wambwa agamba nti aguddemu ekidumusi yeetaaga okweteewuluza buli kiseera ate Wambuzi n’ategeeza nga bw’alimu kissennyiga ekimukubya emyasi egy’okumukumu.

Baali bakyanyumya abako ne baleeta emmere okwali n’akatuuso k’ettu eryali livudde ku buko. Tebaalwa nga basoosootola naye baagenda okusumulula ettu nga ku bazzukulu kwe balaba!  Baakuba enduulu nga bwe babuuza omuko lwaki aleese bazzukulu baabwe ne babafumba nga tebamanyi! Wango yasembera yeetegereze ebyali ku lujjuliro era gye yakuba amaaso nga ku baana be, n’amanya nti mikwano gye gimuliddemu olukwe.

 Yakyuka abambalire olwo nabo ne bafubutuka emisinde nga bw’abagoba, ekiwejjowejjo nga beesozze amaka g’omuntu. Wango yatya okuyingira mu maka gano kyokka n’asigala ng’abalagiriza nti “Mmwee..  Mmwee” n’asalawo abalinde lwe balifuluma abambalire. Okuva olwo Wambuzi, Wambwa ne Wante babeera mu maka g’abantu era ne Wango abalinze okubambalira nga n’olumu omuwulira ng’abalagiriza nti “Mmwee… Mmwee..”

Munnange nno nga nkulabira!

ABAABUULIRIRA BUWALA BAABUULIRIRA

  AWO olwatuuka ne wabaawo omusajja n’awasa mukaziwe  ne bazaala omwana waabwe nga muwala ne bamukuza bulungi era bwe yatuuka okufumbirwa  ne bamuwaayo ew’omusajja n’amuwasa.

Omugole bwe yatuuka mu ddya n’atandika okufumbira  bba kyokka olwali olwo enjala n’egwa ku kyalo kyabwe ng’ebyokulya bya kkekwa.

Olw’okuba enjala yali nnyingi omugole bwe yafumbanga emmere nga temala bulungi era yalinga yaakugaba kale bwe yafumbanga lumonde ng’atoola gw’awaako bba  n’amumussa mu maaso ge ku lujjuliro naye n’atoolako owuwe gw’anaalya n’amussa mu maaso ge.

Olwokuba bba teyakkutanga, yatandikanga okugenda ku binywero eri basajja banne  era bwe yanywanga omwenge n’atamiira olwo n’atandika okuyimba nti:

Abaabuulirira buwala baabulirira,

Abaabuulirira buwala baabuulirira!

N’addira obujenjegere n’assa gyendi,

N’addira ssekimpanika n’azza gy’ali,

Abaabuulirira buwala baabulirira!

Olwo bba yali yeemulugunya nti mukyalawe bw’ajjula emmere addira bulumonde obutono bw’amuwa, ye omukazi ne yeewa agammonde aganene.

Luno yalufuula luyimba buli lwe yagendanga ku binywero. Naye lwali olwo,  omukulu omusajja  kazaala muwala n’awulira mutabani, bba wa muwala we bye yali ayimba era ne bitamuyisa bulungi.

Bwe yaddayo eka ne beegeyaamu ne mukyalawe era ne basalawo okuyita muwala waabwe bongere okumubuulirira.

Omuwala bwe yaddayo ewaabwe  ssengaawe ne nnyina ne bamutuuza ne bamubuulirira obutaliiriranga bba n’okumuwa obulungi emmere akkute.

Omuwala bwe yali adda mu ddya baamusibirira  enkoko n’addayo wamma ng’anywedde.

Yatandika okufumbanga emmere naye nga bba gw’awa agammonde aganene ye ne yeewa obutono.

Bba kino kyamusanyusa nnyo era n’oluyimba lwe yayimbanga ku mwenge olwo n’alukyusa nti:

Abaabuulirira buwala baabuulirira,

Abaabuulirira buwala baabuulirira!

N’addira ssekimpanika n’assa gyendi,

N’addira obujenjegere n’azza gy’ali,

Abaabuulirira buwala baabuulirira!

Embeera yakyuka mu maka kubanga omwami yali musanyufu era baagenda bwe batyo okutuusa ebiseera by’enjala bwe baabimalako ne bafuna ekyengera ng’olwo emmere balya ne basindisa bigere si yaakugereka.

Naleka baggyeeyo embuutu nga n’amazina batyabula nga bwe beekulisa enjala musasa maka ne nkomawo ewaffe. Nange awo we nalabira.

NKALABANDA N'AKALIBA AK'EMMONDO

EDDA ennyo waaliwo omusajja n'awasa mukaziwe ne bazaala omwana waabwe omu yekka naye nga si mulungi mulwadde. Omwana ono baamutuuma Nkalabanda era baali bamwagala okufa. Bwe yakulamu yatambulanga ne nnyina buli we yalaganga. Bwe yabanga agenda okulima nga bagenda bonna, mu kutyaba enku nga bagenda babiri ne bwe yabanga agenda ku luzzi era nga tamuleka mabega.

Lumu kitaawe wa Nkalabanda yagendako ku mulubaale amulagule ku bulamu bw'omwana waabwe ono omu yekka bwe buliba. Omulubaale yamuwa eddagala lye yassa mu kaliba ak'emmondo n'amulagira akawe omwana ono Nkalabanda nti era tekamuvanga ku lusegere nti lw'alisobola okuwangaala.

Taata yakomawo awaka n'akola nga omuganga bwe yamulagula, Nkalabanda ne bamukwasa akaliba era n'atandika okutambulanga nako buli we yaddanga. Kyokka lumu baagenda ne nnyina okukima amazzi naye Nkalabanda bwe yassa wansi akaliba okututubika ensuwa, akaliba n'akeerabira ku luzzi.

Baali baakatuuka awaka, nnyina n'amulaba nga talina kaliba era bwe yamubuuza kwe kumutegeeza nga bw'akeerabidde ku luzzi. Nnyina yamulagira adduke mangu addeyo ku luzzi akakime.

Nkalabanda yadduka za mbwa n'ayolekera oluzzi kyokka aba asitulawo akaliba, ekizike ekyali kyekwese okumpi awo kwe kumukwakkula ne kimusuula mu kkutiya gye kyalina olwo ne kisitula ne kigenda.

Maama wa Nkalabanda yalaba muwalawe takomawo kwe kwesitula n'agenda ku luzzi kyokka agenda okutuukayo nga nayo taliiyo, wamma n'azikubamu ne zaaka.

Yalaya enduulu eyasomboola abantu nga ne bba mw'omutwalidde. Baanoonya omwana okumala ennaku eziwerako kyokka n'ababula, ne batandika n'okulowooza nti osanga yagwa mu  luzzi n'afiiramu. Baalugogola naye era ng'omulambo gw'omwana waabwe teguliimu.

Mu kiseera ekyo ekizike ekyatwala Nkalabanda kyali mu ssanyu eritagambika anti bwe kyatuukanga we bafumbye emmere ate nga kiwulira enjala ekiruma nga kyewaana nga bwe kirina ensawo y'ekkutiya eyimba era nga kisuubiza okugibayimbisizaamu singa bakiwa emmere. Abantu okwagala okuwulira ku kkutiya eyimba baakiwanga mangu emmere olwo nakyo ne kiragira ekkutiya nti

Kisawo vuga,

Kisawo vuga,

Bw'otoovuge nja kkulya.

Omwana Nkalabanda eyali mu kisawo, olw'okutya okuliibwa ng'atandika okuyimba nti:

Twagenda ne nnyabo emugga eyo, Nkalabanda,

Eyo, Nkalabanda mwana wange ayimba nga ennyonza,

Ne nneerabirayo akaliba ak'emmondo, Nkalabanda,

Eyo, Nkalabanda mwana wange ayimba nga ennyonza,

Ng'enda okukakima ekizike kintutte, Nkalabanda,

Eyo, Nkalabanda mwana wange ayimba nga ennyonza

Ekizike bwe kyayagalanga omwenge era nga kiragira bulagizi ekisawo nga kiyimba olwo nga kifuna omwenge nga kinywa nga kigangayira.

Lumu kyali kitambula bwe kityo ne kituuka mu maka gye bazaala Nkalabanda. Kyasaba emmere nga bwe kitegeeza nga bwe kirina ekisawo ekiyimba. Kyalagira ekkutiya okuyimba bwatyo Nkalabanda mukazi wattu n'atandika okuyimba ng'atya okumulya. Abazadde bwe baawuliriza eddoboozi eriyimba n'ebigambo ebiyimbibwa nga bikwata ku muwala waabwe eyabula ne beewuunya! Baasalawo okuzuula ekiyimbira mu kkutiya bwe batyo ne bawa ekizike emmere nnyingi n'omwenge ne kinywa ne kigangayira era ne kigwa eri ne kifuluuta.

Baasooba ne batuuka awali ensawo era ne basala akaguwa. Baagenda okukebera nga ye mwana waabwe eyababulako wamma essanyu ne lijula okubaabya!. Ekyalo kyaggwaayo okwerolera ku mwana mazuuku era ne basalawo okutta ekizike ekyali kyamuwamba. Baaleeta enku ne bakuma ekyoto kinene nnyo. Kyokka baali basuulamu ekizike ekyali kizuukuse nga n'omwenge gukiweddeko kyo kwe kulaajana nti basooke bakisaleko akagalo aka nnasswi nga tebannakitta. Baakasalako abantu bonna be kyali kyalya ne bavaamu nga balamu, olwo ne bakikasuka mu kyoto ne kisiriira.

Naleka eng'oma zivuga ku kyalo nga bayozaayoza Nkalabanda n'abantu abaali baaliibwa ekizike abaali bakomyewo, nange ne nsomoka okudda emitala.

Nannyonga ku muti ogw'ennongo

AWO olwatuuka nga wabaawo  omusajja ng'awasa mukaziwe nga bazaala omwana waabwe omu bw'ati, nga bamutuuma Nannyonga kubanga yali muwala ate nga balli beddira Nnyonyi.

Nannyonga yali muwala mubalagavu era yakuzibwa  nga wa kyejo ekitagambika. Omuwala bwe yatuuka mu myaka egifumbirwa bazadde be ne bagaana okumufunira omusajja nga tebaagala abaveeko kubanga baali bamwagala nnyo. Kyokka lumu, baagenda okuzuula ng'omwana afunidde olubuto ku luggya, ekintu ekyabanakuwaza ennyo.  Baasalawo ne bagoba Nannyonga awaka nga tebakyayinza kubeera naye awaka kubanga yali aleese amawemukirano.

Mukaziwattu yatambula kyokka nga tamanyi gy'alaga kwe kuyingira mu kibira eyo ewala n'afuna omuti ogw'ennongo n'ayala obugoye bwe wansi ne yeebaka. Ng'ali wansi w'omuti awo enjala yatandika okumuluma kyokka nga talina kyakulya. Yali akyakaaba ne wajja ekinyonyi ne kigwa ku muti guno ogw'ennongo ne kimutunuulira okumala ebbanga n'oluvannyuma ne kibuuka ne kigenda.

Ekinyonyi bwe kyabuuka kyaggukira mu maka ga bazadde ba Nannyonga ne kigwa ku muti ogwali mu luggya olwo ne kitandika okuyimba nti:

'Bampe ku ttooke,

ntwalire ku Nannnyonga,

Gy'ali Nannyonga,

Mu muti ogw'ennongo.

 Bazadde ba Nannyonga baawuniikirira era baba bakyasiriikiridde ekinyonyi ne kiddamu ne kiyimba. Maama kye yakola kwe kusitula eminwe gy'amatooke n'agiteeka mu luggya. Ekinyonyi kyatandika okusomba munwe ku munwe okutuusa lwe gaggwaawo nga kigatwalira Nannyonga. Nannyonga bwe yalaba amatooke n'asanyuka nnyo era yali yeejaga awaate n'akizuula nti talina kambe ate n'addamu n'agakaaba buto.

Maama yakwata akambe ka Nannyonga nako n'akateeka mu luggya, ekinyonyi ne kikatwala.

Share this page

Bampe ku kambe,

ntwalire ku Nannyonga,

Gy'ali Nannyonga,

Mu muti ogw'ennongo.

Ntwalire ku nannyonga,

Nannyonga aba amaze okuwaata ate n'akizuula nti talina muliro era ekinyonyi ne kiddayo ne kiyimba nti:

Bampe ku muliro,

Ekinyonyi kyabuuka ne kiddayo mu bazadde ba Nannyonga ne kiyimba nti:

Gy'ali Nannyonga,

Mu muti ogw'ennongo.

Maama yafuna akasiki k'omuliro akaliko eryanda n'akassa mu luggya ekinyonyi ne kikatwalira Nannyonga, era bwe kityo bwe kyakola ne kimusabira n'ekibya, Nannyonga n'atandika okwefumbiranga emmere mu kibira ekinyonyi gye kyamuleeteranga.

Nannyonga bwe yatuusa okuzaala n'akubawo omwana muwala kyokka omwana yasulanga akaaba olw'empewo. Lumu abazadde baba bali awo ng'ekinyonyi kikomyewo nti:

Bampe ekikunta,

Ntwalire ku Nannyonga,

Gy'ali Nannyonga,

N'omuto ow'ekyejo.

Hoo abazadde olwawulira kino ne bamanya nti omwana waabwe yazaala. Baaleeta akakunta ne bakafunya bulungine bakawa ekinyonyi ate nabo ne bakigoberera, bwe baatuuka mu muti ogw'ennongo kwe kusanga muwala waabwe nga yabazaalira n'omuzzukulu.

Naleka Nannyonga bamukomezzaawo awaka batandise ne ku mikolo egy'okumala amawemukirano, nga nno nkulabira!

ENTE KALIBUGONDO

EDDA ennyo waaliwo omusajja ng'alina bakazi be basatu nga bali mu maka ageegombesa kubanga ssemaka yali mugagga muvundu ng'alina n'ebiraalo by'ente. Kyokka mu nte zonna ze yalina mwalimu emu gye yayaygala okukira awava erinnyo anti yali nnene nzibu ate nga buli lw'ezaala ekubawo babiri.

Gwaka nga musana, kaakirotabulamu, n'omwami ono wadde yalina amaka ageeyagaza naye ng'alina ekizibu anti teyalina mwana mulenzi kale muyite omusika. Bakyala be buli lwe baazaalanga nga bakubawo gannemeredde.

Kino kyali kimusuza akukunadde okukira lumonde mu ttaka era yatambula mu balubaale bangi ng'ayagala afuneyo ku mwana omulenzi naye nga buteerere. Yalaba biri bityo kwe kulangirira nti 'Omukazi alinzaalira omwana omulenzi ndimuwa ente yange kalibugondo.

Hoo bakyala be olwawulira okuweebwa ente kalibugondo ne bafuba naye nga teri kalungi kavaayo. Kyokka lumu mukyalamukulu yafuna olubuto. Bwe yatuuka okuzaala kwe kugenda mu lusuku nga bulijjo ng'ayambibwako mulerwa n'akwata ekitooke asindike omwana. Omwana agenda okugwa wansi nga mulenzi hoo essanyu ne limutta. Kyokka aba tannava mu zzaaliro agenda okuwulira nga mu lubuto mulimu ekyekyusa era amangu ago n'akubawo omwana omulala nga muwala!

Eryali essanyu lyamufuukira amaziga kubanga yali azadde balongo ate ng'omulongo tasika. Kye yakola kwe kwegayirira mulerwa omwana omuwala amuleke mu kitooke batwaleko omulenzi gwe baba balaga bba.

Mulerwa yakkiriza bwe batyo ne batwalira ssemaka omulenzi nga bwe bamuyozaayoza okufuna omusika. Embuutu, amazina, ebyokulya n'ebyokunywa ebyali wali nga n'owemmindi asena.

Kyokka mulerwa ennaku yali emuluma olw'omwana gwe baali balese mu kitooke era yalaba tasobola kukigumiikiriza kwe kuddayo n'amunonayo n'amutwala ewuwe n'amukweka mu kisenge kye gye yamukuliza nga tamukkiriza kulaba bweru.

Ye kaddulubaale baamuwa ente kalibugondo wamma n'asagambiza nga akimezezza okw'enjala. Ekiseera kyayitawo n'abaana ne bakula olwo mulerwa n'akkirizanga muwalawe oli gwe yalonda okufulumanga ebweru akime amazzi n'okutyaba enku.

Lumu omuwala yali agenda ku luzzi n'asisinkana  omulenzi gwe baamuzaala naye (muyite Wasswa) ng'alunda ente. Omulenzi olwalaba ku muwala n'amwagala ebitagambika era n'asigala ng'omutima gwe agututte. Yatandika okumuliimisanga buli lwe yabanga agenda ku luzzi ne banyumyamu. terwali olwo n'amwatulira nga bwe yali ayagala okumuwasa.

Oo Wasswa nga olimba Wasswa,

Omuwala mu kifo ky'okumuddamu yatandika kuyimba nti:

Oo Wasswa nga olimba Wasswa!

Baatuzaala babiri nga balongo Wasswa,

Maama n'andeka mu kitooke Wasswa,

Ng'aluubirira ente ya ssebo kalibugondo Wasswa,

Oo Wasswa nga olimba Wasswa

Oo Wasswa nga olimba Wasswa!

Omulenzi yawulira ng'atabuddwa kubanga omuwala bye yali ayimba yali tabitegeera. Yabuulira ku kitaawe nga bw'alina omuwala gw'ayagala okuwasa naye nti buli lw'amugamba ayimba ebitetegeerekeka. Taata olw'omukwano gwe yalina eri mutabaniwe yamugamba nti bagende bombi ku ttale taata yeekweke mu kasiko awulire omuwala by'ayimba. Lyali teriri busa ng'omuwala ajja era omulenzi n'amubuuza nga bulijjo. Bwe yamugamba ku by'okumuwasa era omuwala n'ayimba akayimba kali n'atambula n'agenda.

Taata olwabiwulira ne bimutabula era kwe kulumba mulerwa omuwala we yali abeera n'abimubuuza. Mulerwa yamutottolera kaddulubaale bwe yaleka omuwala mu kitooke n'atwalako omulenzi asobole okufuna ente so nga yali azadde balongo.

Ssaalongo yanyiiga ebitagambika n'alumba Kaddulubaale n'amunenya nnyo olw'okumusubya ekitiibwa kya ssaalongo ebbanga eryo lyonna. Naleka ente kalibugondo agimuggyeeko nga bategeka na mikolo gya kumala balongo. Nga nkulabira!

Kiyiri omulangira

Olwali olwo nga wabaawo omusajja ng'awasa mukaziwe nga bazaala abaana baabwe okwali n'omuggalanda gwe baali baagala nga awavudde erinnyo. Omwana omuggalanda yalina ekyejo kingi kyokka ng'abazadde tebakkiriza bakulu be kumugambako.

Abaana bano baali babakuutira bulijjo nti enkuba ne bw'etonnyanga etya tebeggamanga kubanga bayinza okweggama ew'omusezi. Lumu baali  bava mu nku ze baali batyabye mu kibira ekiri ewala ddala, ebyalo bibiri okuva n'ewaabwe  enkuba kwe kubazingiriza mu kkubo n'etandika okutonnya nga gye baali bagobye mu bire. Abaana baalaba esusse kwe kusalawo okweggama ku lubalaza lw'enju era ne bakkaanya nti tebajja kuyingira munda. Baali bakyali ku lubalaza kwe kuwulira eddoboozi eribagamba bayingire munda beeriire ku nnyama. Omwana oli ow'ekyejo teyawuliriza baganda be n'ayingira mangu mu nju. Banne tebaalina kyakukola nabo ne bayingira munda mwe baasanga ekiyiri ne kibalagira okutuula era buli omu ne kimukwasa ekifi ky'ennyama. Olw'entiisa abakulu gye baalimu baagaana okulya ennyama era buli gwe baakwasanga ennyama nga yeefuula alya, ng'agikweka. Baakuba muto waabwe akaama naye akole ky'ekimu naye n'agaana ennyama n'agirya.

Enkuba bwe yakya, baali basituka okugenda ekiyiri ne kibeesooka, ne kiyimirira ku mulyango era buli eyasemberanga okuyitawo nga kimugamba nti 'mpa akanyama kange'. Bwe yakawangayo oyo nga kimuleka ng'ayitawo. Bwe baatuuka ku muggalanda ow'ekyejo, ng'ekiyiri kimusaba akanyama nga takalina. Ekiyiri kyamugamba nti nga bwe yalidde akanyama kaakyo tajja kugenda wabula ajja kusigala akifumbire. Abaana bonna beegayirira ekiyiri kimusonyiwe kyokka ne kyerema ate ne kibagamba batere bagende nga nabo tekinnabawamba kubazzaayo mu nju. Kalikyejo yagenda okulaba  nga baganda be bagenda kwe kutandika okukaaba nga bw'ayimba nti:

'Mundabiranga taata, kiyiri omulangira,

Awamu ne maama, kiyiri omulangira,

Nti omwanawe gw'asuuta, kiyiri omulangira,

Nti omwanawe gw'abiita, kiyiri omulangira,

Ekiyiri kimulidde, kiyiri omulangira,

Ekiyiri kimulidde, kiyiri omulangira,

Kiyiri vvaawo mpite, kiyiri omulangira,

Kiyiri vvaawo mpite, kiyiri omulangira.

Abaana baagenda bakaaba okutuuka mu bazadde baabwe ne babategeeza nga  muto waabwe ekiyiri bwe kumulemedde kubanga yalidde akanyama kaakyo.

Abazadde baakubaakuba ku kyalo era abasajja bakirimaanyi ne boolekera mu kibira eri ekiyiri bakitte basobole okununula omwana kalikyejo.

Kyokka baagenda okutuukayo ng'akiyiri kivuddemu omulangira omulungi eyawasa muwala waabwe. Naleka embuutu zivuga nange ne nzikirira ekibira. Awo we nalabira.

NSINGOBISEERA

AWO olwatuuka ne wabaawo omusajja Alufayiri n'awasa mukaziwe Tolofayina. Abafumbo bano baayagalana ebitagambika kyokka ekiseera kyatuuka Alufayiri n'awasa omukazi owookubiri. Abakyala bombi baazaala abaana abawerako kyokka lumu Tolofayina yagenda n'akubawo akaana akawala akalungi okuzaama nga konna ensingo yaako yasibagana ebiseera. Abantu bonna abajjanga okulaba ku nnakawere n'omuwere nga bavaawo batenda obulungi bw'ebbujje. Okuva obuto omwana baamukazaako erinnya lya Nsingobiseera era buli omu ku kyalo lye yamuyitanga. Ye kitaawe yamweyitiranga 'maama' ng'agamba nti yafaanana nguli nnyina n'amumalayo. Mukyala muto yafuna obujja ku mwana ono eyasuutibwanga n'abayise. Lumu Tolofayina ng'afiirwa ewaabwe era bombi ne bba ne bessa mu ddene okugenda okuziika. Abaana bonna omuli ne Nsingobiseera   baabalekera mukyalamuto abalabirire. Olw'okuba olugendo lwali luwanvu baamalirayo ddala wiiki eziwera essatu. Mukyalamuto bwe yalaba nga bagenze ko ye nti ke kaseera okweggyako omwana Nsingobiseera eyali omuganzi nga ne kitaawe amweyitira lya maama. Yakwata omwana eyali aweza emyaka omukaaga mu kiseera ekyo n'amutuuza mu kisero ekiwanvu era n'amusibiramu n'emigiwa emirange mu byayi n'amutwala  ku mugga ogw'ewalako okuva ku kyalo kyabwe n'alaba gye gukulukutira olwo n'addira ekisero n'akinnyikamu. Bazadde ba Nsingobiseera bwe baakomawo mukyalamuto n'abategeeza nga empologoma bwe yabayingirira n'esika omwana eyali yeebase ku mugguukiriro. Abazadde baanyolwa nnyo era ne bamala ebbanga nga bakungubaga. Baali bakyakungubaga ekyeya ne kigwa mu kitundu oluzzi lwabwe ne lukalira ng'amazzi balina kugakima ku luzzi luli olw'ebunaayira  mukyalamuto gye yasuula omwana Nsingobiseera. Baliraanwa baabwe be baasooka okugenda ku luzzi olwo naye baba batutubika ensuwa  zaabwe okusena amazzi ne bawulira eddoboozi nga liva mu kisaalu omugga gye gwali gukulukutira nga liyimba nti:

Abatutubika abatutubika bwe tutu,

Mundabiranga Tolofayina bwe tutu,

Nti Nsingobiseera ali emugga bwe tutu,

Obulungi bwe bwamussa bwe tutu.

Abatutubika abatutubika bwe tutu,

Mundabira ne Alufayiri bwe tutu,

Nti Nsingobiseera ali emugga bwe tutu,

Obulungi bwe bwamussa bwe tutu.

Ho Ho baliraanwa baatya ebitagambika n'ensuwa tezajjula, baasenamu luzunzo ne badduka okutuuka ku kyalo ky'ewaabwe era ne banyumiza buli omu ekyali kibaguddeko.

Bino bwe byagwa mu matu ga Tolofayina ne Alufayiri nabo ne basalawo bagende beewulirireko. Baakwata ensuwa era n'abantu bangi ku kyalo ne babawerekera nga baagala bawulire ekyeneena. Bwe baatuuka ku luzzi ne batutubika ensuwa mu  luzzi okusena. Baagenda okuwulira ng'eddoboozi litandika okuyimba:

Abatutubika abatutubika bwe tutu,

Mundabiranga Tolofayina bwe tutu,

Nti Nsingobiseera ali emugga bwe tutu,

Obulungi bwe bwamussa bwe tutu!

Tebaalinda ddoboozi kuddamu ne basamba olusaalu era gye baagwira ku mwana Nsingobiseera ng'ali mu kisero kye bannyika mu mazzi nga n'okuvunda avunzeeko ekitundu eky'obutuuliro. Baamuggya mu kisero ne bamuzza eka kyokka bagenda okutuukayo nga mukyalamuto yasibyemu dda ebyanguwa n'adduka era tebaddayo kumulaba wadde okumuwuliza. Naleka bajjanjaba muwala waabwe nga n'ekyalo bwe kijaganya olw'okumuzuula, munnange nga nkulabira.

OMUGOLE N'ENSUMBI

EDDA ennyo waaliwo omusajja eyalina bakyala be babiri ne wambwa. Lumu yalaba omuwala omubalagavu ku kyalo ekiriraanye ekikye bw'atyo n'asalawo amuwase amuleete awaka abe n'abakyala basatu.  Omugole yaleetebwa awaka mu ssanyu eritagambika. Ennaku ezaddirira omugole ng'akyali mu kisenge, ssemaka ne bakyalabe bali ababiri baamulekanga waka ne wambwa eyali amukuuma bo ne bagenda okulima. Lumu omugole yalaba akasumbi ke baali bawanise ku mulabba. Yasalawo akawanuleyo alabe ekirimu agenda okukebera nga mulimu omubisi, amaddu ne gamukwata n'ayagala yebbirire anyweko. Yassa akasumbi ku mumwa ne yeekatankira kyokka bwe yatuuka okukaggyako ne kalemerako. Yakanda kulwana kuggya kasuwa ku mumwa nga kalemeddeko. Yagezaako okuyita wambwa ajje amuyambe okukaggyako nga naye tawuuna atuzza liiso.

Wambwa yalaba biri bityo n'asituka n'alumba mukamaawe mu nnimiro gye yali alima era bwe yabatuukako kwe kutandika okuyimba nti:

Abalima bano, abalima bano,

Omugole gwe mwalese eka,

Ku mumwa kuliko akasumbi

Maguja ssu, Maguja ssu,

Nga nze nneesirikidde!

Ssemaka yasooka n'asiriikirira nga yeewuunya ebigambo bya wambwa. Yali akyawuniikiridde wambwa kwe kuddamu okuyimba. Bakyalabe baamugamba baddeyo eka balabe ogubadde era bagenda okutuukayo ng'omugole ali mu maziga, akasumbi kamulemedde ku mimwa. Ssemaka yeewuunya nnalulungiwe okuba omubbi. Yamuggyako akasumbi ku mumwa era naleka amutwala kumuzza mu bakadde be nga teyeeteekere mubbi nange kwe kudda gye nava.

BALINDA N'ETTUNGULU

EDDA ennyo waaliwo omusajja n'awasa mukaziwe ne bazaala abaana baabwe okwali n'omuwala gwe baatuuma Balinda. Abaana baabakuza bulungi nga bakola emirimu era baateranga okugenda mu kibira ekibaliraanye ne batyaba enku. Kyokka baali baabakuutira nti bwe babanga bagenze okutyaba enku ne balaba ekintu kyonna mu kibira tebabangako kye boogera.

Lumu abaana bano beegatta n'aba baliraanwa ne boolekera ekibira okutyaba enku. Bazadde baabwe baabakuutira nga bulijjo obutabaako kye boogera nga balina kye balabye. Bwe batyo bakkirira ekibira   ne batyaba enku era ne basiba ensekese ne boolekera eridda eka. Baba bakomawo, omuwala Balinda kwe kulaba ettungulu eryali lirabika obulungi bwatyo kwe kuyita banne nti abange mulabe ettungulu eddungi! Mpozzi abizadde! Bwe baatambula ettungulu nalyo kwe kutandika okubagoberera nga bwe liyimba nti:

Balinda nninda

Balinda olw'ettungulu.

Ettungulu lyamugoberera era bwe baatuuka awaka ne babawa amazzi banaabe ettungulu kwe kuyimba nti:

Balinda nnaaza

Balinda olw'ettungulu

Abazadde baawuniikirira ne babuuza Balinda oba yayogeredde mu kibira, kye baamugaana. Ng'abategeezezza byonna ebyabaddewo baamugamba anaaze ekyetere ky'ettungulu kubanga ye yali akyereetedde ate nga baali baamulabula. Bwe baatuuka okulya era ettungulu ne liyimba nti:

Balinda ndiisa

Balinda olw'ettungulu

Balinda yaliisa ettungulu ng'eno amaziga bwe gamuyitamu. Bwe yatuuka okwebaka ettungulu ne limugoberera nalyo ne lyebaka mu buliri bwe nga bwe liyimba nti:

Balinda mbikka

Balinda olw'ettungulu.

Bwagenda okukya mu ttungulu muvuddemu omusajja omulungi ennyo n'awasa Balinda.

Naleka bali ku ntujjo ya mbaga ne nkomawo kuno.

FFE TETWALI BAANA TWALI NTULA

AWO olwatuuka nga wabaawo omusajja ng'awasa mukaziwe. Abafumbo bano baamala emyaka mingi nga bali bombi kyokka nga tebalina mwana. Obugumba bwabaluma ne batambula buli wamu okutuusa bwe baafuna omusawo eyabawonya. Yabagamba nti okuwona obugumba yalina okubawa eddagala kyokka ng'alibaweera mu ntula. Baalitwala ne balikozesa era waayita akaseera katono omukazi n'afuna olubuto. Bwe yatuuka okuzaala yakubawo abaana bana, abalenzi babiri n'abawala babiri. Baasanyuka ebitagambika nga bafunye ezzadde n'abeekyalo abaabayisangamu emimwa ne batandika okubawa ekitiibwa.

Abaana  baakula n'eryejo nga balalu ebitagambika era nga tebawulira. Lumu bazadde baabwe baali bagenda mu lumbe olwali ku nkomerero y'ekyalo kwe kuleka nga baanise emyali (ensuwa ezitannayokebwa) kubanga baali babumbi era ne bakuutira abaana nti bwe balaba enkuba ejja nga baggyayo emyali gireme kutoba. Abaana baasuubiza okukola ng'abazadde bwe baali balagidde era olwalaba ng'abazadde babuliddeyo ne batandika okuzannya. Omuzannyo gwabanyumira era tebaalaba ng'enkuba ebindbinda ate bwe yatandika okutonnya abaana badduka buddusi ne bayingira enju, emyali tebaagifaako. Eyo otulo gye twabatwalira ne beebaka. Abazadde bagenda okukomawo awaka kyababuukako ng'emyali gye baalese mu luggya gyatobye n'okubumbulukuka ne gibumbulukuka. Wano abazadde kwe kunyiiga ebitagambika era ne bazuukusa abaana ne batandika okubayombesa . Taata ye yasooka n'abuuza nti: ''Muli baana ki mmwe abalese emyali gyange gye nzigyamu ejjamba mu nkuba ne gibumbulukuka. Kozzi temwali baana mwali ntula!''

Maama naye yayongereza okwo nga bw'akkaatiriza nti ddala bano tebaali baana zaali ntula kye bava batawuliriza bazadde baabwe.

Abaana baawuniikirira kubanga baali tebakiwulirangako nti baava mu ntula okufuuka abaana. Mu nnaku ey'ekitalo baatambula ne bagenda mu lusuku awaali omutula olwo ne batandika okuyimba nga bwe bagwetooloola nti:

Kitaffe agambye atya?

Nti tetwali baana twali ntula 

Ne maama agambye atya?

Nti tetwali baana twali ntula

Bwe batyo bwe baagenda bayimba nga bwe beetooloola omutula okutuusa lwe gwabamira ne babuliramu. Abazadde obusungu bwe bwabaggwaako kwe kufuluma enju banoonye abaana baabwe nga tebabalabako! Baanoonya buli wamu naye abaana ne bababula, bwe batyo ne baddamu okuba nga tebalina baana. Mu nnaku ey'ekitalo baatambulanga ku kyalo nga tebayala n'abantu ne baddamu akubayisaamu amaaso. Nange nabaleka bali mu maziga ag'ekitalo bejjusa obusungu obwabaleetera okwasanguza ekyama kyabwe eri abaana ku ngeri gye baabazaalamu ne nkomawo kuno mbatendere.

Nange awo we nalabira.

MAGULU N'EMBWA ZE

EDDA ennyo waaliwo omusajja nga bamuyita Magulu. Yalina embwa ze bbiri era awaka yabeerangawo ne nnyina, eyali nnamwandu. Magulu yali muyizzi nnyo nga buli lw'agenda okuyigga aleka ensaka bakolokota. Kyokka yalina ekisa era  emitego gye bwe gyakwasanga obuslo obuto wamu n'ensolo ez'amawako ng'azisonyiwa n'atazitta, n'azireka ne zigenda. Lumu yatuuka ku mutego gwe ng'akwasizza kinyonyi ekirungi ennyo nakyo n'akireka ne kigenda.

Ku kyalo okwo kwaliko ezzike eryakula ne liwola era lyatandika okuyiiya amagezi bwe linatta Magulu akomye okuyigga ensolo ate nalyo ze lyayigganga. Lyamwegezaamu enfunda nnyingi kyokka ng'alisimattuka.

Lumu lyefuula akati akalungi ennyo era magulu bwe yakalaba kwe kukalonda n'akatwala eka mu kisenge kye. Bwe bwaziba nga yeebase akati ne kafuuka ezzike kyokka olwokuba Magulu yasulanga n'embwa ze, zaagoba ezzike ne liremwa okumulya. Magulu buli we yatambulanga ng'agenda n'embwa ze bwatyo n'asimattukanga okuliibwa ezzike enfunda eziwera.

Olwali olwo ezzike linonga lisalawo kwefuula omuwala omulungi lwondo gwe bayiwako amazzi n'oganywa. Magulu bwe yali atambula n'alaba nnalulungi ono nga tamanyi nti zzike. Yamwegomba bwatyo n'amukwana era n'amutwala ewuwe. Bwe bwatuukanga ekiro omukazi n'ayagala okufuuka ezzike alye Magulu kyokka nga talina w'akikolera kubanga embwa ze zaali zimukuuma butiribiri. Lumu yalagira Magulu embwa ze azigobere ebweru ng'omukazi agamba nti azitya kyokka Magulu yagaana.

Bwatyo omukazi ono n'akola olukwe n'agamba Magulu nti bagende mu ttale bateme omuti ogw'okussa mu kibanyi.  Kyokka yamugaana okugenda n'omuntu yenna wadde okutwala mbwa ze kubanga ye omugole yali azitya.

Magulu yaleka embwa ze kyokka yasooka kukuba nnyina kaama nti bw'olaba ekintu kyonna ekitali kya bulijjo ng'oyimbula embwa zange ng'ozita nga zijja.

Baagenda n'omugole mu ttale kyokka buli muti Magulu gwe yayagalanga okutema nti gwe gunaakola ekibanyi ng'omugole agugaana nti si mulungi bwe batyo ne bagenda nga beeyongerayo mu kibira. Bwe baatuuka ku muti munda eyo, omugole n'alagira Magulu alinnye waggulu ku muti gy'aba atema ettabi. Teyali mubi nga naye alinnya. Olwatuuka waggulu ddala ng'omukazi afuukamu ezzike era nga likwata embazzi gye yali alese wansi nga litandika okutema omuti nga bwe ligamba Magulu nti 'Leero nkulidde'.

Kyokka omuti gwali gunaatera okugwa ekinyonyi kiri ekirungi Magulu kye yakwata ku mutego n'akisaasira n'akita kwe kujja ne kigwa ku muti guno nga bwe kigamba nti:

'Omuti oguliko Magulu teguyinza kugwa kubanga Magulu musajja wa kisa nnyo'.

Amangu ago omuti gwaddawo nga gwe batannatemako. Ezzike lyalaba bwe gutyo kwe kugoba ekinyonyi ne kibuuka olwo ne liddamu buto okutema omuti.

Guba gunaatera okugwa ekinyonyi ne kikomawo era ne kiamba nti: 'Omuti oguliko Magulu teguyinza kugwa kubanga Magulu musajja wa kisa nnyo'.  Omuti ne guddawo.

Ezzike lyaddamu buto okutema oluvannyuma lw'okugoba ekinyonyi. Magulu yalaba likaaye kwe kunoga akakoola ku muti n'akakasuka ne kagenda ne kagwa ku bbeere lya nnyina erya kkono. Nnyina olwakalaba kwe kuyimbula embwa ezajja emisinde nga bwe ziwunyiriza n'okuboggola. Ezzike bwe lyalaba zinaatera okulituukako kwe kuddamu ne lyefuula omukazi nga bwe liwoza nti  'Magulu goba embwa zo nze nzitya'. kyokka Magulu yalagira bulagizi mbwa kuluma ne ziriruma okutuusa bwe lyafa.

Naleka abatuuze basomba miwumbo gya mmere okugabula Magulu nga bamukulisa ezzike nange ne nkomawo okwaffe.

AKASAKA AKAAYIMBA OMUGOLE

 Awo olwatuuka nga wabaawo omusajja ng'awasa mukaziwe. Omugole ono yali mulungi lwondo nga bamufukako amazzi n'oganywa naye nga bwe bagamba nti omulungi tabulako kamogo, n'omugole yalina omuze gw'okukomba ensaka efumbye enva n'ayisaamu n'olulimi.

 

Wadde nnyina ne ssengaawe baamubuulirira naye omuze guno omugole gwamulemeramu. Bwe yatuuka mu ddya, yagenda mu maaso n'omuze gwe ogw'okukomba ensaka.

 

Lumu bajja ne bakyaza abagenyi era omugole n'afumba oluvuutu nga bulijjo n'assaako n'enva ez'ebinyeebwa ze baakazaako erya nsanyuse. Bwe yajjula emmere olw'okuba waaliwo abagenyi, yatya okukomba ensaka nga bulijo. Akasaka kaakanda kulinda bakakombe ng'omugole tafaayo. Ekyavaamu akasaka ne katandika okuyimba nti:

 

      Mugolewe mugolewe 

      Jj'onkombe nga bwe wankomba jjuuzi 

      Jj'onkombe nga bwe wankomba olulala

 

Omugole yaswala n'aswaluka bwatyo n'afubutuka ku mmere n'abulira mu kibira. Naleka omusajja azzeeyo mu bakadde ababuulire ekibaddewo nange ne nzira okwaffe. Nange awo we nalabira.

 

 

 

 

KATULA N'AMAZIKE

Edda ennyo waaliwo omuvubuka nga bamuyita Katula. Katula yali muyizzi era nga muvubuka wa kiwago ddaala eyatiisanga ensolo n'abantu. Yalina nnyina nga mukazi mukadde nnyo gwe bakululira ku kaliba.

Lumu ekyalo ekyo kyajja ne kirumbibwa amazike ne galya abantu bonna okuggyako Katula ne nnyina. Bwe gaalaba abantu abalala gabamazeeko ne gayiiya bwe gayinza okulya nnyina wa Katula kubanga ye Katula gaali gamutya. Buli ku makya Katula bwe yabanga agenda okuyigga nga nnyina aleka amukwese waggulu ku kibanyi amazike galeme kumulya.

Lumu, amazike gaalaba Katula agenze okuyigga ne gajja ewuwe ne gayita  nnyina wa Katula. Olwokuba yali mukadde nnyo ng'awusse, kwe kugaddamu nti: 'Wangi ndi eno waggulu ku kibanyi Katula gye yankwese nti muleme kundya.

Amazike gaawalampa ne gaggyayo nnyina wa Katula kyokka gaba gamutwala, omukadde n'atandika okukaaba nga bw'ayimba nti:

         Katula wuu tebannandya bankulubeesa

         Katula wuu tebannandya bankulubeesa

Katula eyali ayizze okumpi yajja mangu n'agoba amazike n'azzaayo nnyina. Omukazi yakolanga bwatyo buli lunaku nga Katula amutaasa.

Kyokka lumu ensolo awo okumpi zaggwaawo, olwo Katula n'agenda okuyigga ewala.

Amazike gajja ne gayita nnyina era n'ayitaba nga bulijjo ne gamuggyayo. Ku luno wadde yakaaba naye mutabaniwe teyawulira bwatyo amazike ne gamulya. Katula yakaaba nnyo ng'asanze nnyina amazike gamulidde era kwe kuyiiya amagezi ag'okuwoolera eggwannga. Yagenda ew'omulubaale eyamugamba nti ayiise omwenge agusse mu kasiko yeekweke okumpi awo. Kino yakikola era aba ali awo nga teriri busa ng'amazike gazze. Bwe gaatunula nga tegalaba muntu ne gakka ku mwenge ne gagunywa. Bwe gaatamiira ne gatandika okuyimba nti:

        Nnyina wa Katula tetwamulya twamuleega mu ndongo

       Twaddira enkobakoba ne tuzireega mu ndongo

       n'obukono n'obugulu tetwabulya twabuleega mu ndongo

       Twaddira enkobakoba ne tuzireega mu ndongo.

Nga gamaze okugangayira gaagwa eri ne geebaka olwo Katula n'aggyayo effumu n'agafumita gonna n'agatta. Oluvannyuma yagendanga asala nasswi ya buli zzike abantu bonna be lyalya ne bavaamu nga balamu.

Naleka ku kyalo embuutu zivuga n'amazina babiibya ne nkomawo ewaffe. Nange awo we nalabira.

KALEEBA

Awo olwatuuka nga wabaawo omusajja ng'awasa mukaziwe nga bazaala omwana waabwe eyali omulungi kkaalaala. Ku kyalo okwo kwaliko omusambwa nga guli mu kinyonyi ekyasenga ku luzzi nga tekikkiriza bantu kuggya mazzi ku luzzi olwo anti buli eyagendangayo okugakima ng'ensuwa emwatikako bwe yakyukanga okulaba ekinyonyi ekyo.

Omusajja ono ow'omwana omulungi kye yavanga agamba  abasajja abajjanga okuwasa muwalawe nti bamale kuleeta mazzi okuva ku luzzi olwo nti anaagatuusa y'ajja okutwala muwalawe.

Buli musajja eyajjanga bwe baamutumanga ku luzzi ng'agenda n'okuseka aseka kyokka bwe yatuukanga n'asena amazzi yabanga yaakageetikka ng'awulira ekinyonyi ekiyimba nti:

     Ssemusajja agenda kaleeba,

    ndabira abali eka eyo kaleeba,

    nti ekinyonyi kiri ku luzzi kaleeba,

    kyambadde ensimbi kaleeba

     ensimbi n'obutiiti kaleeba

    Coo co ki kaleeba,

     kyuka n'ondeeba kaleeba.

Bwe yakyukanga okulaba ayimba ng'ensuwa egwa ng'eyatika, eka yazzangayo bibajjo. Kino kyatuuka ku basajja bangi omuwala omubalagavu n'abalema.

Lumu wajjawo akakookolo nako nga kazze kwewangulira muwala ono omubalagavu. Abaali awaka bonna olwawulira kino ne batumbuka ne baseka, kyokka ng'akakookolo kamalirivu, kaagala kuwasa muwala. Baakawa ensuwa ne bakagamba kagende kakime amazzi.

Bwe kaatuuka ku luzzi ne katutubika ensuwa era bwe yajjula ne kagyetikka naye kaba katandika okutambula ekinyonyi ekyali ku muti ne kitandika okuyimba nti:

     Ssekakookolo kagenda kaleeba,

    ndabira abali eka eyo kaleeba,

     nti ekinyonyi kiri ku luzzi kaleeba,

     kyambadde ensimbi kaleeba,

      ensimbi n'obutiiti kaleeba.

     Coo co ki kaleeba

    kyuka n'ondeeba kaleeba.

Akakookolo wadde kaawulira naye tekaatunula mabega wabula kaatambula mukungujjo. Ekinyonyi kyakanda kuyimba ng'akakookolo katambula butambuzi bwe katyo ne katuusa amazzi ne bakawa omuwala. Naleka katwala omugole waako eyagenda akaaba nange ne nkomawo kuno. Nange awo we nalabira.

OMUSOTA GW'E KALUNGU

Awo olwatuuka, edda ennyo ku kyalo ky’e Kalungu nga kubaako ttimba eyakula n’awola.

Okumanya ttimba ono yali munene ng’asobola okumira ente 10. Ttimba ono yamira ensolo  zonna ku kitundu n’azimalako. Bwe yalaba ziweddewo kwe kutandika okumira abantu. Yasookera ku byalo byonna ebyetooloddewo n’abamira era Kabaka yalaba atandise okumira abantu be kwe kuyita oyo yenna asobola okutta ttimba ono lumalabantu aveeyo.

Lumu omu ku baddu be yeeyala awali kabaka n’amutegeeza nga bw’asobola okutta ttimba ono singa Kabaka amuwa ensuwa ng’erimu embira, ebikomo n’amasanga era n’amuweerako n’omuwala embeerera anaagisitula.

Bino Kabaka yabimuwa olwo omuddu n’alumba ttimba e Kalungu . Bwe yatuuka e kalungu teyasangayo muntu kubanga bonna omusota gwali gwabamira olwo n’atandika okuyimba nti:

Omusota, ogw’e Kalungu
Gwasse mmange ne kitange
Olwaleero ng’enda kuwoolera eggwanga.

Omusota bwe gwamuwulira  nagwo ne guvaayo nga bwe guyimba nti:

Mmm..  mwendi

Mmmm..  mwendi lumalabantu.

Omuddu bwe yagulaba kwe kulagira omuwala okussa  wansi ensuwa n’alamusa ttimba era n’amutegeeza nga Kabaka bw’aweerezza ttimba ebirabo omuli amasanga n’ebikomo.. Ttimba mu ssanyu eringi yayingira ensuwa alabe ebyobugagga  Kabaka by’amutonedde olwo omuddu n’asaanikira ensuwa n’agitwalira Kabaka n’abantu be ne batyaba enku nnyingi ne bakuma ekyoto kinene ne bassaako ensuwa omwali ttimba. Ttimba bwe yawulira ng’omuliro gumutta kwe kulagira basale akakira ke  bantu bonna be yali amize n’ebisolo biveemu. Bwe yafa ne basala akakira byonna bye yamira ne bivaamu nga biramu. N’okutuusa leero Abaganda balina ekisoko ekya ogw’e Kalungu ekitegeeza omusota.

Nange awo we nalabira.

(Lugereddwa John Bosco Mihigo okuva e Tanzania). 

Engero endala zigereddwa Margaret Nankinga.

Comments

Kayango

19.10.2022 20:14

Kyayi mu luganda

Kayango

19.10.2022 20:16

Bamuyita batya

Nabawanuka Christine

01.09.2022 14:11

Thank u so much for these stories my Nankinga has enjoyed them.

Nabachwa

27.08.2022 03:56

Thank you for This. Been looking for some of these stories to read to my Children

Nickson

Wow I was looking for this. Thanks for promoting our culture Big up.

Ssenyonga Emmanuel

10.07.2022 10:40

15.03.2022 18:34

Great work....how can I get in touch with you?

Kimuli

24.01.2022 17:32

So good stories for poets

Ssekiwunga Peter

30.08.2020 09:54

Olugero lwa Wakayima ne Waggulu ddene ate dwo?

ssenono simon

17.05.2020 20:05

waawo mwebale nnyo kale nolulara mukola nga bwemutyo mugende mwebake nemitwe mujibike

Huzaifa

03.11.2019 18:16

Ate luno olugelo lwa
Jangu onnyambe gwe wankuza ng'ekyeejo, *2
Buli kyenkola omusajja ankuba bukubi...

Atiibwa mariam

31.08.2019 08:37

Olugero lwa Sanji na'mazike