There is no video clip yet

ENGERI EBINYONYI GYE BYAFUNA ENKAABA YAABYO

GENDA NE KU MUKO GUNO:  ENGERO ZA BAJJAJJA

EDDA  ennyo ku kyalo Kiringente, kwaliko omusajja Ssonko ng’alina ne mukyalawe Zibanja. Baalina muwala waabwe Bukirwa naye nga si mulungi mulwadde era nga bamufukako amazzi n’oganywa. Abasajja bangi abajjanga okumwogereza naye mu bo abaasinga okusimba akaggo  yali Sseggwanga, Ssewajjuba,  mwanamulenzi Waffulungu  n’omulala Wakkookootezi.

Ssonko ne mukyalawe baasoberwa ku bano bonna gwe baba bawa muwala waabwe eyalungiwa okuzaama. Kyokka baali bakyali mu kusala entotto, laba ate Ssonko bw’agwirwa ekimbe mu kiro, yaaye yaaye n’adda ku mimwa era buba bukya n’akutuka!

Ho,  Kiringente yasannyalala era ng’ekibi bwe kikira eoma okulawa, ebigambo by’okufa kwa Ssonko byabuubuuka nga oluyiira olw’ekyanda ne bituuka ne ku basajja bonna abaali beeyagaliza muwala wa Ssonko.

Bano olwabiwulira buli omu n’asalawo  okukungubaga n’amaanyi ge gonna amatize abasigaddewo nti anyoleddwa nnyo era y’asaana okutwala nnalulungi Bukirwa.

Sseggwanga ye yasooka okutuuka mu maka g’omugenzi Ssonko ng’alina ne banne abamuwerekkeddeko. Olwali okutuuka kwe kuvaamu omulanga nti :

Ssonko afuddee…  ooo…!      

Ssonko afuddee… ooo…!

Abaaliwo bonna baasooka ne basiriikirira nga beewuunya omulanga oguvudde mu musajja ayogereza Bukirwa. Baamuwa akatebe n’atuula.

Yali yaakakkalira Wakkookootezi naye n’atuuka naye ng’aliko abamuwerekeddeko. Bwe yatuuka mu luggya n’atandika okwesaasaabanga nga bw’akungiriza nti:

Ssonko gwe twabadde naye eggulo, y’afudde?

Ssonko gwe twabadde naye eggulo, y’afudde!

Abakungubazi abalala naye baamuwa akatebe nga bwe boogera obutono n’okwewuunya enkungubaga y’omusajja ono ayogereza muwala w’awaka.

Kino kyali kituuza kubanga baba bali awo ate Wattutuma n'ajja ng'aliko n'obumansuka era abaali bamuwerekedde bajja basaayirira kubanga obwangu bwe yaliko nga ddala bwa muntu afunye ekyekango. Olwali okutuuka n'alyoka avaamu omulanga nti:

Tututututututtutututu...

Ogututubika bulungi toguntamiiza,

Nawuliridde ku maanyi nga ganterebuka,

Mpozzi omukoddomi lwatutte

Ggulo ggulo ggulo ggulo ggulo ggulo...!

Abaaliwo buli omu yatunula ku munne n'abamu ne boogera obwama nti " Ono omuko anaasoboka? Mutamiivu akaaba bya mwenge?" 

Liba teriri busa nga lireese  mwanamulenzi Waffulungu era ye yajja yeesaasaabaga nga bw’abuukabuuka ng’akaaba nti:

O.. O Ssonko afudde,

O.. O Ssonko afudde!

Wamma oweerimu yatemya ku waabiri gy’oli nti y’amusinga okulaba! Abantu baatandika okwewuunaganya ku basajja bano asinze okukaabira Ssonko n’okulaga okulumwa nga bagamba nti asinze gwe baba bawa omuwala. Abamu nti mwanamulenzi Sseggwanga, abalala nti  Waffulungu n’abandi nti Wakkookootezi teri amuwunyamu n'abalala nt Wattutuma.

Baali bakyawakana eza wattuuyo ate ne zireeta Ssewajjuba era ono omulanga yagutandika tannatuuk na mu luggya, n’ajja ng’ayaziirana nti:

Ndaaga, olwa mukoddomi,

Ndaaga olwa ssewamuko!

Hoo bonna abaalaba Ssewajjuba ng’ayaziirana nga n’omukulu amutaddemu ekitiibwa tayatuukiriza linnya lye bassa kimu nti ddala y’asinze banne okukaaba era n’omuwala ne bamumuwa!.

N’okutuusa leero abasajja abo bakyakaaba nga bakaabira Ssonko mu nkaaba y’emu nga gye baakaaba kw’olwo ng’afudde.

N’okutuusa leero ku buko bw’ebaayo okufiirwa abako bafuba okulaba nti enkungubaga yaabwe eba ya njawulo, amabugo baweereza agawera ate buli omu n’afuba okulaba nti ky’akoze kimanyibwa era kirangibwa buli omu akimanye sikulwa ng’enkungubaga yaabwe enyoomwa!

Nange awo we nalabira.

Enkwale ne Nambooze

Wangobanga mu bulo bwo ne kaakati jjangu ongobe

EDDA ennyo waaliwo omukazi Nambooze eyabeeranga yekka ku kyalo Manyagalya. Nambooze yali talima bulo ng’aleruka era mu kibanja kye temwaggwanga bulo.

Kyokka enkwale zaamutawaanyanga nnyo nga zirya obulo bwe era ennaku ezisinga yasiibanga mu nnimiro ng’agoba enkwale zireme kumuliira bulo bwe.

Olwali olwo ng’olumbe lugwira Nambooze mu kiro era bugenda okukya ng’akkiridde ennyindo gye zirembekera mukoka. Nambooze baamuziika mu kibanja kye mwe yalimanga obulo.

Lumu, enkwale nga zijja okulya obulo bwa Nambooze. Zaagenda okulaba nga tewali azikuba ku mukono ne zirya ne zibwegera. Kyokka zaali  ziyitaayita mu nnimiro ne zigwa ku malaalo ga Nambooze emu kwe kugalinnyako nga bw’egamba nti:

Wangobanga mu bulo bwo ne kaakati jjangu ongobe.

Wangobanga mu bulo bwo ne kaakati jjangu ongobe.

Teyakoma awo n’ebuuza zinnaazo nti:

Yafa lukuku?

Ttoomi?

Lukuku?

Ttoomi?

Olwo zonna ne zibuuka nga bwe zigenda zisaakaanya nti

Ttoomi…  ttoomi… ttoomi ….

Ne leero enkwale zikyakudaalira Nambooze era bwe zibuuka zigenda zisaakaanya nti yafa ttoomi…ttoomi.. ttoomi…

Nange awo we nalabira.

WAKAYIMA, WANGO NE SSEWAJJUBA

ENGERO ZA BAJJAJJA

AWO olwatuuka, nga wabaawo abeemikwano basatu; Wakayima, Wango ne Ssewajjuba. Omukwano gwali gubasaza mu kabu era nga batambula bonna.

Olwali olwo  nga Wakayima anyiiza Wango era olwamala ng’adduka nga yeekukuma. Mu busungu obungi Wango kwe kusalawo alye Wakayima.

Kyokka olw’okuba yali amumanyi nti mugezi nnyo, yasalawo amukolere olukwe amugweko  amulye nga tategedde. Yatuukirira mukwano gwabwe Ssewajjuba  n’amutegeeza ku ntegeka ze yalina okwesasuza  ku Wakayima era n’amusaba amukette w’ali amubuulire mu ngeri Wakayima gy’atasobola kutegeera. Ssewajjuba yamusuubiza nti bw’anaalaba Wakayima we yeekukumye, ajja kuyimba ng’ayogera we yeekukumye, Wango agende amukwate.

Kyokka ne Wakayima  yali tatuulidde awo. Bwe yamala okunyiiza mukwano gwe n’amanya nti kati omukwano guweddewo era essaawa yonna amulya. Naye yatuukirira mukwano gwabwe Ssewajjuba n’amubbirako nga Wango bw’ayagala okumulya era n’amusaba  amukettere era amubbireko ng’alabye Wango, asobole okudduka okwetaasa.

Ssewajjuba  yasuubiza Wakayima nga bw’ajja okumukettera era ayimbe oluyimba olunaamulabula okudduka bw’anaalaba ku Wango. Kyokka jjukira ne Wango era naye yali amusuubiza okumutemyako ng’amubuulira Wakayima we yeekwese, agende amulye!

Munnange siikulwiseeyo, olunaku olw’okuliirako Wakayima nga lutuuka. Ssewajjuba bwe yalaba Wakayima nga yeekukumye mu kasonda kwe kuyimba ng’atemya ku Wango agende amulye. Yayimba nti:

Kiri mu nsonda,

Kiri mu nsonda.

Olwo Wango naye kwe kutandika okusooba ng’ayolekera ensonda gye bamugambye Wakayima gye yeekwese. Bwe yatandika okusooba ate Ssewajjuba n’akyusa oluyimba n’atandika okuyimba nti:

Wuuyo Ssekimwakimpi,

Wuuyo ajja asooba!

Wuuyo Ssekimwakimpi,

Wuuyo ajjja asooba!

 

Hoo Wakayima olwawulira oluyimba luno n’amanya nti Wango ajja kumulya era n’afubutuka n’awenyuka nga akaweewo! Wango yalumba mukwano gwe Ssewajjuba n’amutegeeza nga Wakayima bw’amuwulidde ng’ajja bwatyo n’adduka era n’amusaba addemu amulabule.

N’okutuusa leero Wango takwatanga Wakayima era Ssewajjuba naye omuwulira ng’ayimba ng’atemya ku Wango nti: Kiri mu nsonda,   kiri mu nsonda. Ate oluva awo n’omuwulira ng’alabula Wakayimanti: Wuuyo Ssekimwakimpi, wuuyo ajja asooba!

Nange awo we nalabira.

 

 

SSOSSOLYE NE NKONKONAMUTI

EDDA ennyo, waaliwo aboomukwano babiri, Ssossolye ne Nkonkonamuti  nga baagalana okuzaama era buli kimu nga bakikola bombi.

Olwali olwo nga bafuna bombi embuto era bwe baamanya nti bazito ne batandika okutetenkanya bwe banaakuuma abaana baabwe nga babazadde, baleme kuliibwa balabe baabwe abaabayigganyanga buli kiseera nga baagala okubalya.

Nkonkonamuti yagamba munne nti: “Nze abange nja kubazimbira ekisu waggulu eyo mu muti era ndabe anaabaggyayo okubalya.

Ko munywanyi we Ssossolye nti nze kye nja okukola nja kunoonya awali enjazi n’agayinja agaakula ne gawola abaana bange mbakweke wakati w’agayinja ago era ndabe aneetantala okubaggyayo okubalya.

Munnange  olwali olwo ng’aboomukwano bombi batuusa nnaku zaabwe ez’okuzaala nga bazaala abaana baabwe.

Aba Ssossolye yafuna wakati mu njazi we yabassa ate aba Nkonkonamuti n’abakolera ekisu eyo waggulu mu muti n’abassa omwo.

Bamaama bombi baatandika okunoonyezanga abaana baabwe ebyokulya nga bwe babireeta okubagabirira.

Kyokka lwali lumu, bombi ne bagenda okunoonya ebyokulya nga bulijjo. Bwe badda buli omu n’agenda atwalire abaana be ebyokulya. Nkonkonamuti agenda okutuuka we yalese abaana be nga tebaliiwo, nga Kamunye yabakwakkudde dda, n’abatwala n’abalya. Mukaziwattu yagwawo ekigwo, yatandika okumala gapaala era bwe yatuuka ku mukwano gwe Ssossolye, yamusanga ali ku baana be abagabirira byakulya wamma ennaku n’emweyongera.

Nkonkonamuti yadduka n’agenda ng’anoonya ku buli muti alabe oba anaazuula abaana be. Bwe yagutuukangako ng’agezaako okugubojja, okugwasa n’omumwa gwe ng’alowooza nti abaana be babakwese omwo munda mu muti, bw’anaagwasa anaabazuula. Bwe yabanga agubojja nga buli ky’asanga mu muti akibojja n’akirya ng’alowooza nti kye kyatwala abaana be. Yanoonya abaana n'abula okugwa kawansazi kyokka nga tabalabako.

Buli muti gwe yatuukangako ng’agubojja bw’ayimba nti:

Ssossolye omukulu   kko.

Ggwe wali omugezi  kko.

N’oddira abaana  kko.

N’ossa mu jjinja  kko.

Kaakonkonera  kko.

N’omutwe guluma kko.

N’omumwa guluma  kko.

Njagala ggenda  kko  kko kko kko kko kko kko ….

Njagala ggenda kko kko kko kko kko kko kko….

N’okutuusa leero, Nkonkonamuti akyatabaala mu miti  ng’anoonya  abaana be era abanoonya bw’ayimba akayimba ako waggulu ng’eno bw’atendereza amagezi ga munywanyi we Ssossolye eyakweka abaana be mu jjinja ne bataliibwa.

Nga nno nkulabira!

 (Zigereddwa Margaret Nankinga)

WANKOFU NE KAWALAATA

OLWALI olwo nga wabaawo omusajja Ssebijjano eyalina oluboobooya lw’ekibanja nga kisimbira ddala wansi ku kibira era nga kiriko n’olusaalu olunene ddala.

Ssebijjano banne baali baamukazaako lya Kawalaata kubanga yalina ekiwalaata nga kyalya enkoona yonna ne kigyera n’ekirako ekyenyi.

Lumu yalima omusiri gwa lumonde nga gukwata kuno ne gye nava. Lumonde bwe yakula Bawankofu  abaabeeranga mu lusaalu olwali ku kibanja kye ne basagambiza nga akimezezza okw’enjala era be baasooka okumusima okumulya nga Ssebijjano eyamusimba tannamulyamu!

Ssebijjano aba ayitaayita mu lumonde we kwe kulaba nga Bawankofu batandise okumusima, obusungu ne bumukwata era n’asuukiira nga omwenge omusu.  Yasalawo okubeekwekerera abatte nga yeesasuza olwa lumonde we.

Olwali olwo, aba yeekukumye, Bawankofu ne bajja okwetyotyoggola nga balya lumonde wa Ssebijjano.

Yasooba mpola n’akwatako Wankofu omu n’amunyweza era n’amulaalika nga bw’agenda okumulya yeesasuze  lumonde we Wankofu gw’abadde alya.

Bawankofu abalala beekanga nnyo nga balaba munnaabwe bamukutte, awanjaga. Baagenda okutunuulira omusajja akutte munnaabwe ng’alina ebyenyi  bibiri,  eri amaaso ate n’emabega ku nkoona (ekiwalaata) ne batya era ne badduka nga bwe bagenda balabula bannaabwe nti:

Kikekenkee…

 Kikekenke!

Simanyi agenda?

Simanyi akomawo?

Kikekenkee..

Kikekenke!

Olwo  nga beewuunya omusajja ow’ebyenyi ebibiri nti bw’omutunuulira tomanya oba agenda oba akomawo gy’oli!.

Okumanya Bawankofu baatya nnyo Ssebijjano ow’ekiwalaata  ekyalya enkoona yonna, ne leero okyabawulira nga balabula bannaabwe nti:

Kikekenkee…

Kikekenke!

Nange awo we nalabira.

 (Zigereddwa Margaret Nankinga)

Comments

Laura Alina

05.10.2020 15:41

keep up the good work. Nkonkonamuti song brought back childhood memories

Flavia Nampala

27.06.2020 22:16

This is great, it helps to build the phonetic skill in early readers.
mwebale era lino lye taffali lye twetaga.

Gyagenda Steven

23.05.2020 17:32

Mwebale nyo.nsobode okubulira abaana bange engero zino

ssenono simon

17.05.2020 17:59

waawo

David

30.04.2020 20:39

Banange tweyanziza nyonyini

Aminah

27.04.2020 17:50

Nice

Nalwoga Caroline

09.10.2018 08:00

Battu balaba obutalya ngoma olwo engoma nefuuka kya mumi nga olugero lwabaganda nti okilira kumwana. Bebaani abo??

Bisaso

27.08.2018 08:43

Kisuffu

Edson Ssekimpi

18.08.2018 18:44

ABAGANDA MWEBALE KWAGALA BUWANGWA BWAMWE SSABASAJJA KABAKA'WANGALE BANANGE NANGE KANEKUBIRE OMULANGA GWANGE
NJAGALA KUMANYA Erinya lyange SSEKIMPI LYERITEGEZA KUBA NANGE SIMANYI NSABA YENA'MANYIKO

sengendo

15.06.2018 16:28

Banange nga mwebale nyo ezisinga nali nazeelabila daaa era nfunye ekyokunyumiza muwala wange

Aj Kaggwa

09.06.2018 02:10

Lwe nnasooka okulaba engero zino nnasanyuka n'amziga ne gajja. Kumpi zonna nnali nziwuliddeko edda ennyo. Mu buto nawandiika nga emizannyo egiva mu nfumo z'ekiganda. Na kati nkyabijjumbira.

sendawula trevor

03.04.2018 09:15

i love the work you guys are doing. thank you very much. i am doing some research work on wakayima tales and i would so grateful if you guys would help me out with a few tales or info on wakayima

Mutumba Jesse Paul

10.01.2018 01:03

Tusiimye bwongerwa ssebo. Weebale nnyo omulimo gw'okoze gwa ttendo okutumbula ennimi ennansi.

nabuule ruth

08.10.2017 12:30

thank you so much for bringing back these stories. they create a bondage between the parents and the children

Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page