Okutondebwawo kw'akakiiko

Dr Dampha Fafa Lang addukanya ACALAN leero.

Dr Dampha Fafa Lang addukanya ACALAN leero.

Akakiiko ka Luganda-Lusoga-Lugwere Vehicular Cross-border Language Commission kakiiko ka African Academy of Languages (ACALAN).  Kaatongozebwa mu lukung'aana olwali e Kigali mu Rwanda okuva nga 12 okutuuka nga 13 March 2014.  

Okussibwawo kw'akakiiko kano kuva mu lukung'aana olwatuuzibwa mu Addis Ababa ekya Ethiopia mwe kyasalibwawo ACALAN etondewo obukiiko bw'ennimi ennansi mu Afrika naddala ezo ennimi ezisala ensalo n'ezo ezikozesebwa nga ennimi  z'amawanga nga mu bukiiko buno ACALAN mw'eneeyita okutumbula ennimi ennansi mu Afrika n'okwegatta kwa Afrika okutwaliza awamu.

Oluganda lwalondebwa nga olumu ku nnimi ezisala ensalo mu Uganda.

Ebigendererwa by'akakiiko

Margaret Nankinga, pulezidenti wa Luganda, Lusoga Lugwere crossborder Vehicular language commission.

Margaret Nankinga, pulezidenti wa Luganda, Lusoga Lugwere crossborder Vehicular language commission.

Ebigendererwa by'akakiiko mulimu:

1- Okutumbula ennimi zino n'okuzikulaakulanya nga twenyigira mu bintu ebitumbula ennimi zino nga okutegeka empaka mu kuwandiika okwogera n'okusoma, okutuuza bannannimi okuteesa n'okukkaanya ku mpandiika entongole.

2- Okutondawo ebibiina ebijjumbiza abantu okusoma mu nnimi zaabwe

3- Okuyamba okutondawo ebigambo ebipya mu ngeri ekkirizaganya n'amateeka g'olulimi naddala okugunjaawo ebigambo ebinnyonnyola sayansi ne tekinologiya abantu basobole okumutegeera mu nnimi zino.

4- Okuyamba ennimi Olusoga n'Olugwere okufuna empandiika entongole nga tukung'aanya abategeera ennimi zino ne tubayamba okuteesa n'okukkaanya ku mpandiika.

5- Okwongera ku bungi bw'ebitabo ebiwandiikiddwa mu nnimi zino.

6- Okuyamba aboogezi b'ennimi zino nga si ze baazaalirwamu okuzitegeera n'okuzikozesa nga tubafunira ebitabo ebibanguyiza okuzisoma n'okuzoogera.

Bammemba b'akakiiko

Muky. Pamela Batenga, omukwasi w'ensawo y'akakiiko (muwanika).

Muky. Pamela Batenga, omukwasi w'ensawo y'akakiiko (muwanika).

Muky.  Margaret Nankinga- Pulezidenti

Omulongo Andrew Kaggwa - Omuwandiisi

Mw. Aloys  Mihigo  - Omumyuka wa Pulezidenti

Muky. Florence Nabacwa - Omumyuka w'omuwandiisi

Muky. Batenga Pamela Irene - Muwi w'amagezi

Muky. Joyce Naluggya Tomusange

Mw. Fred Lukabwe Kisirikko

Muky. Namakula K. Peggy

Mw. Mutale Ttendo

Muky. Ruth Muguta y'akwanaganya akakiiko ne minisitule y'Ekikula ky'abantu, ebyobuwangwa n'enkulaakulana .

Munnakakiiko
Munnakakiiko
Muky. Joyce Naluggya Tomusange.
Mw. Mutale Ttendo
Mw. Mutale Ttendo
Munnakakiiko
Munnakakiiko
Munnakakiiko
Mw. Fred Lukabwe Kisirikko
Amyuka omuwandiisi
Amyuka omuwandiisi
Muky. Florence Nabacwa

Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page