OLULIMI Oluganda luzze lukula kubanga lwaniriza ebintu ebiggya ebiyingira mu bulamu bw’omuntu era ne biyingira mu lulimi nga bituumwa amannya, ekiyamba olulimi okukula.
Kyokka wadde kino kikolebwa, olulimi mu kuyingiza ebigambo bino ebipya terusuula mateeka ga mpandiika yaalwo wadde ago kwe lwesigama nga luzimba ebigambo ebiggya.
Ebintu ebipya bwe biba biyingizibwa mu Luganda, tugoberera enkola ezizze zigobererwa ebbanga lyonna okugunja ebigambo by’Oluganda. Ezimu ku zo ze zino wammanga:
(i) Okubifunira ebigambo eby’Oluganda ebitegeeza ebintu ebyo nga tusinziira ku mulimu gwe bikola, embeera yaabyo oba envuga yaabyo.
(ii) Okubigandawaza nga tubireeta butereevu mu lulimi naye nga tugoberera empandiika y’Oluganda entongole.
Okufuna ebigambo by’Oluganda okusinziira ku mulimu:
Enkola eno egoberera bino wammanga, okugunja ebigambo ebipya.
(a) Enkozesa y’obuwakatirwa
Nga tufuna erinnya ly’ekintu ekipya emu ku nkola ekozesa obuwakatirwa obugattibwa ku bigambo ebiriwo ne tuzimba ekigambo ekipya kye tukozesa ku kintu kino ekipya.
Obuwakatirwa buno oluusi tubussa ku ntandikwa y’ekigambo (prefixes) olulala tubussa ku nkomerero y’ekigambo (suffixes)
Obujja ku ntandikwa
Akawakatirwa: ‘Kali’
Kano kazze kakozesebwa mu Luganda okuzimba amannya okugaggya mu mannya amalala.
Okugeza: Kalirugambo
Kali (kawakatirwa) + lugambo (linnya)
Kali + lugambo = kalirugambo
Ekigambo lugambo nga weekiri akawakatirwa kali kaakozesebwa okuzimba erinnya eddala Kalirugambo eritegeeza omuntu alina olugambo. (Wekkaanye nti l efuuka r bw’eba eddirira i mu kigambo).
Kalibutemu- Kali + butemu
Enkola eno y’emu ogikozesa okuzimba ebigambo by’ebintu ebipya naddala ebya ssaayansi ne tekinologiya ng’obituuma amannya.
Eno y’enkola eyakozesebwa okuyiiya ekigambo
Kalimagezi – computer
Kali + magezi = Kalimagezi
(b) Enkozesa y’embu z’amannya okuzimba amannya amapya
Enkola endala naddala nga tuzimba amannya g’ebintu ebipya ebibadde tebimanyiddwa mu lulimi erimu okusooka okufuna olubu mw’ogenda okussa erinnya eryo ly’ozimba. Fuba okulaba ng’erinnya eppya ly’ozimba ligya mu mbu z’amannya (noun classes) 23 ze tulina mu lulimi Oluganda.
Mu nkola eno, tuddira ennyingo eraga olubu ne tugigatta ku kikolwa, olwo ekibadde ekikolwa ne kifuuuka erinnya.
Okugeza Olubu olusooka: MU
Mutaputa- Interpreter
Mu + taputa= Mutaputa
Tuyinza n’okuddira olubu ne tulugatta ku kikolwa ate ne tugattako n’erinnya eddala olwo ne tukola erinnya eddala eririna amakulu ageetengeredde
Musigansimbi- investor
Mu + siga + nsimbi = Musigansimbi
Oluusi tugatta olubu lw’erinnya n’akawakatirwa ne tuzimba ekigambo ekirina amakulu amapya
Okugeza:
Kkakkalabizo- ofiisi (w’okolera)
Kkakkalabya = kola
Kkakkalabiza = Kolera
kkakkalabiza + o (akawakatirwa akalaga ekifo)
= kkakkalabizo (a +o, o etta a n’osigaza o)
Mweyubulo – Evolution
Kiva mu kikolwa kweyubula.
Kino bwe kibaamu okwekolako (self inficting) tukozesa ee okulaga okwekolako kuno olwo n’ofuna
eeyubula
Mu (lubu) gattako eeyubula + o (akawakatirwa) = Mu+eeeyubula+o
Mu Luganda u +e = w (ate a +o, o etta a n’osigaza o)
= Mweyubulo.
Mutimbagano- Internet
Mu (ya lubu lwakusatu) + timba (kikolwa) +gana (akawakatirwa akalaga okwekolako) + o (kawakatirwa)
Ekikolwa kiri Timba olwo mu n’eba ennyingo y’olubu. Ebintu bwe biba nga buli kimu kikola ku kinnaakyo olwo tukozesa gana okulaga okwekolako kuno, olwo n’ofuna ekikolwa timbagana. Kati akawakatirwa O ne kagattibwako okukola erinnya eriva mu kikolwa.
Mu + timba + gana +o = Mutimbagano
Enkola eno y’emu bajjajjaffe gye baakozesa okuzimba amannya nga: Ffumbiro, kkuumiro, Ssinzizo n’ebirala.
Kikaliriro- mass killings by burning
Ki (nnyingo ya lubu lwa musanvu) + kalirira (kikolwa) +o (kawakatirwa akakozi k’erinnya) = Kikaliriro
Ki + kalirira + o = Kikaliriro
© Oluusi tuzimba ebigambo nga tugatta ebigambo bibiri (2) oba okusingawo ne tubigatta ku lubu lw’erinnya okukola ekigambo kimu ekirina amakulu ageetengeredde.
Ennyingo y’olubu | + ekikolwa | + erinnya | = erinnya eppya |
Mu | Va | Bulaaya | Muvabulaaya (Locals of a non-European country who have been to Europe) |
Mu | Siba | ttaayi | Musibattaayi (Cookies shaped like ties) |
Mu | Kubya (kiva mu kuba) | byayi | Mukubyabyayi (Weakling, ineffectual) |
Mu | sala | nkwawa | Musalankwawa ( sleeveless shirt) |
Mu | nuuna | ntuuyo | Munuunantuuyo (T-shirt) |
Mu | tega | nsowera | Mutegansowera (kkanzu) |
Oluusi mu kifo ky’olubu lw’erinnya tukozesa nnakasigirwa ey’obuntu ( personal pronoun) gye tugatta n’ekikolwa wamu n’erinnya ne tuzimba ekigambo ekipya.
Okugeza:
Nkubakyeyo- migrant worker
N (nnakasigirwa ey’omuntu asooka) + Kuba (kikolwa) + kyeyo (linnya).
N + kuba + kyeyo = Nkubakyeyo
(d) Oluusi tuddira akawakatirwa ‘Lu’ ne tukagatta n’ekikolwa ne tuzimba erinnya.
Lukululana- Trailer
Lu (kawakatirwa) + kulula (kikolwa) + na (kawakatirwa ka kwekolako)
Lu + kulula + na = Lukululana
Lubbira – Diver
Lu (kawakatirwa) + bbira (kikolwa)
Lu + bbira = Lubbira
Oluusi tukozesa akawakatirwa ‘Lu’ ne tukagatta n’ebigambo ebiwerako; bibiri oba okusingawo ebyetengeredde ne tubigatta okukola ekigambo ekimu ekirina amakulu agaawuka ku makulu g’ebigambo biri bye twagasse.
Lumiramwoyo- suicide bombers
Lu (kawakatirwa) + mira (kikolwa) + mwoyo (linnya)
Lu + mira + mwoyo = Lumiramwoyo
Lumalabantu- serial killer
Lu + mala+ bantu
Enkola y’emu ye yakozesebwa okuzimba amannya agamanyiddwa mu Luganda omuli luliiramunnyana, lusiriizantamu n’amalala.
Akawakatirwa ‘Ki’
Akawakatirwa ‘Ki’ nako kakozesebwa mu ngeri y’emu nga ‘lu’ ne tukagatta ku kikolwa n’erinnya ne tuzimba ekigambo ekipya
Okugeza:
Kittabantu- Genocide
Ki (kawakatirwa) + tta (kikolwa) + bantu (linnya)
Ki + tta + bantu = Kittabantu
Kizaalaggumba- women who take very long to conceive after giving birth. (ekigambo kino oluusi kikozesebwa mu nsobi okutegeeza ‘Family planning’ ate nga kino kitegeeza entegeka y’ezzadde)
Ki (kawakatirwa) + zaala (kikolwa) + ggumba(nakongeza kikolwa) (ekkazi eddene bwe liba terizaala olyogerako nti ggumba)
Ki + zaala + ggumba = Kizaalaggumba.
Kisalamitwe- mass beheadings
Ki + sala + mitwe
Okugandawaza ebigambo:
Ebigambo byonna ebiva mu nnimi engwira, bwe biba biyingizibwa butereevu mu Luganda biteekwa okugoberera empandiika y’Olulimi Oluganda entongole. Ebyo ebigandawazibwa bwe biba biyingizibwa mu lulimi tufuba okukulaba nti tusigaza envuga yaabyo nga bwe biwulirwa mu lulimi mwe biva.
Okugeza essaati eva mu shirt eky’Olungereza era envuga yaakyo yakuumibwa
Ekkooti- Coat
Ettaayi- tie
Keeki- cake
Caayi- chai
Cceeke – cheque
Waya- wire
Kkabada- cupboard
Taputa- interpret
Kale tugende tuzimbe ebigambo bya ssaayansi ne tekinologiya tubiyingize mu lulimi lwaffe tulugaggawaze naye mu kaweefube waffe ono tulina okufuba okugoberera amateeka g’empandiika y’olulimi era n’ago olulimi ge luzze lugoberera okuzimba ebigambo ebipya omuli gano ge mbalaze n’amalala ge tujja okulaba gye bujja.
(Margaret Nankinga).
MUTALE TTENDO:
OKUGUNJAAWO ebigambo ebipya nakitandika emyaka 6 egiyise era ebigambo bino nsaba abantu babikubaganyeeko ebirowoozo oba bisaana okuyingiza mu lulimi.
Ofiisi: Kkakkalabizo
President: Kafugansi
Fork: Ntoozo
Sideboard : Engabuliro
Thermos flask : Embugumu
Printer : Enviisi
Monitor : Endazi
Tractor : Nnimyo
Fridge : Embuutiti
Investor : Musigansimbi
Engeri enkozesa y’ensirifu emu oba eza nnabansasaana gy’ekyusa amakulu g’ebigambo
Kigambibwa nti olumu omuntu yattibwa ng’entabwe eva ku mpandiika n’enjogera y’ebigambo. Kigambibwa nti mu myaka egy’edda omunene omu baamutegeeza ku muntu eyali akwatiddwa. Omunene kwe kukwata olupapula n’awandiikako ekigambo nti “Mumute”, n’aluwa omubaka alutwalire abaali bakutte omuntu ayogerwako. Obubaka bwe bwatuuka, gwe baabuwa okubusoma olw’obutamanya bulungi mpandiika na kusoma lulimi Luganda, yasoma nti “Mumutte”. Bwe batyo ne bakwata omusibe ne bamutta, so nga baali babalagidde bamute.
Empandiika y’Oluganda wamu n’ensoma ddala bisaana okwegendereza kubanga bw’owandiika ensirifu emu mu kifo ky’ebbiri oba bbiri mu kifo ky’emu amakulu gayinza okukyukira ddala ky’obadde otegeeza ne kibula.
Wekkaanye ebigambo bino wammanga:
1- Okuta: Kwe kuddira ky’obadde okutte n’okireka
Okutta: Kwe kuggyawo obulamu bw’ekintu oba omuntu.
2- Okuba: Kikolwa kiyambi.
Okubba: Kwe kutwala ekitali kikyo.
3- Okusa: Kwe kunyiga ekintu nga bw’okuuta okutuusa ky’okuuta bwe kifuuka buwunga.
Okussa: Kwe kuyingiza omukka mu mubiri nga bw’ogufulumya.
4- Kata: Kumpi
Katta: Akantu akaggyawo obulamu bw’omuntu.
5- Kaga: Oluga olutono
Kagga: Omugga omutono.
6- Kaza: Kwe kuddira ekintu ekibadde ekibisi n’okimalamu amazzi ne kikala.
Kazza: Akantu akakomyawo.
7- Kabi: Bulwa
Kabbi: Akantu akatwala ebitali byako.
8- Kagi: Eggi ettono.
Kaggi: Oluggi olutono.
9- Kaba: Eggumba ly’oluba.
Kabba: Akantu akaatwala ebitali byako
10- Kuza: Kwe kusobozesa ekintu okukula
Kuzza: Kwe kukomyawo ekintu.
11- Kuma: Fuuwa omukka ku muliro.
Kumma: Kwe kugaana okuwa omuntu ekintu.
12- Siga: Ssa ensigo mu ttaka zimere.
Sigga: Ekyewalula ekirina amagulu amangi ekiruma.
Ssiga: Erimu ku mayinja asatu agakola ekyoto, kwe bateeka sseppiki nga bafumba.
13- Sasa: Kwe kusaasaanya ebintu buli kimu waakyo.
Ssasa: We bookera ebyuma n’okuweesa.
14- Saba: Kwe kwogera ne Katonda mu buwombeefu.
Sabba: Nze saatwala bintu bitali byange.
15- Muka: Okulunga ekintu ekisusse obungi.
Mukka: Empewo etambula eva mu kintu nga kyaka.
16- Muto: Si mukulu.
Mutto: Akantu akagonda akatuulwako.
17- Mubi: Si mulungi.
Mubbi: Atwala ebitali bibye.
18- Kibo: Kiku
Kibbo: Ekiruke mu bukeedo n’obuso mwe basitulira ebintu.
19- Kisa: Kwe kukolera omuntu obulungi
Kissa: Kivaako okufa.
20- Toma: Tomatira.
Tomma: Togaana kumuwa.
21- Endagu: Omuntu alagula.
Endaggu: Kika kya mmere ya mu ttaka.
22- Bula : Nga tewali akulaba
Bbula: Ebintu nga tebiriiwo
23- Manya: Ekintu si kipya gy’oli.
Mannya: Kye bakutuuma nga kikwawula ku balala era nga kye bakuyita.
24- Yeba: Nafuwa
Yebba: Okwemulula oba okutwala ekintu kyo ate n’olowoozesa abalala nti waliwo akibbye
25- Gula: Okuwaayo ssente ofune ekintu
Ggula: Okusumulula oluggi omuntu n’aba ng’asobola okuyingira.
26- Kula: Weeyongerako mu myaka ne mu nneeyisa.
Kkula: Ekintu ekirungi era ekisanyusa okulaba.
27- Lugo: Olukomera
Luggo: Omuti omuteme, omutono ddala ate nga muwanvu.
28- Tuza: Okuleetera ekintu okutuga omuntu.
Tuzza: Okukuba mu mpolampla ky’okuba nga kivuga.
29- Tuga: Okunyiga obulago omuntu oba ekisolo ne kiremwa okussa
Tugga: Ekintu ekibadde kidduka okwesiba omulundi gumu
30- Tama: Ekintu nga okikkuse tokyakyetaaga
Tamma- Tagaana kuwa muntu kintu.
31- Bala: Okuzuula omuwendo gw’ekintu.
Bbala: Ettondo erigwa ku kintu ne liremerako
32- Fuba: Nyiikira
Ffuba: Ekifuba ekinene ennyo
33- Yaza: Kwe kuwenja ekifo oba ekintu ng’oliko ky’onoonya.
Yazza: Yali akitutte n’akikomyawo.
34- Baka: Kwe kukwata ekintu ekibeera kikukanyugiddwa.
Bakka: Baava waggulu ne badda wansi.
35- Okusa: Kwe kukuutira ekintu wakati w’amayinja okutuusa nga kifuuse buwunga.
Okussa: Okusika omukka ng’oguyingiza n’okugufulumya mu mubiri.
36- Ka: Ewammwe oba w’obeera.
Kka: Va waggulu odde wansi.
37- Okugula: Okuwaayo ssente bakuweemu ekintu.
Okuggula: Kwe kuta awayingirirwa awabadde awaggale.
38- Bikka: Okufuna ekintu n’okissa ku kintu ekirala ky’okitaddeko nga tekirabika.
Bbika: Kwe kusindika ekintu munda naddala mu mazzi.
Bika: Okulangirira okufa
39- Toba: Omuntu/ ekintu okuyiirwa amazzi.
Tobba: Totwala kintu kye batakuwadde.
40- Sajja: Saagenda gy’oli.
Ssajja: Omusajja omunene ennyo.
41- Kuba: Funa ekintu okikoonye ku muntu oba ekintu n’amaanyi ng’ogenderera okulumya.
Kubba: Okutwala ekintu kye batakuwadde.
42- Siba: Okunyweza ekintu ng’okozesa ekyayi, omuguwa oba ekirala.
Sibba: Sitwala kintu kye batampadde.
Engeri ebigambo gye bikyusa amakulu okusinziira ku muwendo gw’empeerezi
Mu Luganda empandiika kikulu nnyo kubanga osobola okukyusa amakulu g’ekigambo ng’oyongeddemu bwongezi oba okutoolamu empeerezi emu.
Tunuulira ebigambo bino wammanga:
1- Okusesa Okuseesa
Okusesa: kwe kuleetera omuntu okuseka
Okuseesa: Kwe kusindika enku (oba ekintu ekitalina bulamu) mu kyoto (oba mu maaso) nga zibadde ziggweeredde.
2- Okusaka Okusaaka
Okusaka: Okukola omulimu ne bakusasulamu mmere.
Okusaaka: Kwe kukubaakuba ekikuta ky’omutuba n’okigaziya ng’okola olubugo
3- Okusona Okusoona
Okusona: Kwe kugatta ebitundu by’omukeeka awamu ng’okozesa empiso n’obuso oba ebyayi
Okusoona: Okusooka omuntu omulala ku kintu naye ky’abadde ayagala okufuna.
4- Ayola Ayoola
Ayola: Omuntu okukuza omwana mu mubiri omwoyo n’obwongo.
Ayoola: Omuntu okukuhhaanya ebintu n’abiggya we bibadde.
5- Okusenya Okuseenya
Okusenya: Kwe kukwata omuswaki n’olongoosa amannyo okugaggyako obucaafu
Okuseenya: Ze nviiri okugenda nga ziggwaamu langi yaazo enzirugavu ey’obutonde kyokka ate nga tezinnafuukira ddala nvi.
6- Okusiga Okusiiga
Okusiga: Kwe kukwata ensigo n’ozissa mu ttaka ng’oyagala zimere.
Okusiiga: Kwe kuddira omuntu oba ekintu n’okissaako ekintu ekirala ekikyusa langi yaakyo.
7- Okusiba Okusiiba
Okusiba: Kwe kunyweza ekintu ng’okozesa omuguwa ekyayi oba ekintu ekirala ekikikuumira awamu.
Okusiiba: Kwe kumala ebbanga nga tolya n’oyitibwako ebijjulo byonna ebiriibwa mu lunaku nga terunnaziba.
8- Okusula Okusuula
Okusula: Obudde okuziba ne bukusanga mu kifo era ne weebaka eyo okutuusa nga Bukedde.
Okusuula- Kwe kikwata ekintu n’okikanyuga.
9- Okukola Okukoola
Okukola: Kwe kubaako omulimu gwe weenyigiramu.
Okukoola: Kwe kuggya omuddo mu bimera byo bye wasimba.
10- Okusoba Okusooba
Okusoba: Ebintu okwonooneka oba okusukkamu.
Okusooba: Kwe kutambula empola
11- Okupika Okupiika
Okupika: Kwe kukozesa ebbomba oba ekyuma ekirala okussa omukka mu kintu; okugeza okussa omukka mu mupiira nga weeyambisa ebbomba.
Okupiika: Kwe kuwa omuntu ebintu ebisukkiridde naddala ebyokulya n’okunywa.
12- Okuseera Okusera
Okuseera: Kwe kussa ku kintu ky’otunda bbeeyi esukkiridde eyo gye kigwana.
Okusera: Ye muntu okutembebwa ekitambo n’adduka ekiro naddala ng’ali bukunya.
13- Okuleega Okulega
Okuleega: Kwe kusika ekintu ne kiwanvuwa okusinga bwe kibeera nga tokisise.
Okulega: Kwe kuloza ku kintu naddala ekyokunywa owulire obuwoomi bwakyo.
14- Okukoona Okukona
Okukoona: Kwe kuddira ekintu ekimu n’okikuba ku kintu ekirala.
Okukona: Y’emmere okugaana okuggya n’eddugaalirira
15- Okuboza Okubooza
Okuboza- Kwe kweringalinga n’ekintu n’omala nakyo ebbanga nga tolina ky’okikozesa.
Okubooza- Okujjuza ennyo ekintu, by’otaddemu ne bitandika n’okuyiika nga tokyalina w’ossa birala.
16- Okuwera Okuweera
Okuwera: Kwe kugaana ekintu ekibadde kikolebwa okuddamu okukolebwa.
Okuweera: Okuwummula/ okukkakkana
17- Okuwola Okuwoola
Okuwola: Ekintu okuggwaamu ebbugumu oba omuntu okukuwa ekintu eky’ebbanja.
Okuwoola: Kwe kugenda ng’osala ku kiti n’akambe oba ekiso, okukendeeza obunene bwakyo
18- Okuwuba Okuwuuba
Okuwuba: Ekintu okusoba.
Okuwuuba: Ouwanika omukono oba ekintu nga bw’okiggya eno okukizza eri.
19- Okuwoma Okuwooma
Okuwoma (omutwe): kwe kukulembera oba kwenyigira mu kukolebwa kw’ekintu.
Okuwooma: Ekintu ekinyuma oba ekyo ky’olya ne weenuguuna.
20- Okusika Okusiika
Okusika: Kwe kukwata ekintu n’okizza gy’oli ng’okozesa amaanyi
Okusiika: Kwe kussa butto mu ssefuluya n’ossa ku muliro olwo n’ossaamu ekintu n’ofumba nga totaddeem mazza oba okussa ekintu mu sseppiki enkalu etaliimu kintu kyonna n’ossa ku muliro n’ofumba nga bw’otabulamu
21- Okusala Okusaala
Okusala: Kwe kuddira ekintu eky’obwogi nga akambe oba akagirita n’okikozesa okukutula mu kintu ekirala oba okukireetako olubale.
Okusaala: Kwe kusinza kw’Abasiraamu
22- Okusaba Okusaaba
Okusaba: Kwe kugamba omuntu akuwe ekintu.
Okusaaba: Kwe kwesiiga ekintu ekigonda ku mubiri gwo.
23- Okulama Okulaama
Okulama: Kwe kusimattuka embeera y’okufa ng’obadde tosuubirwa.
Okulaama: Kwe kulaga b’oyagala basigaze ebintu byo ng’ofudde.
24- Okumala Okumaala
Okumala: Okukomekkereza ekintu ky’obadde okola.
Okumaala: Okusiiga ekintu kyonna n'okimetta.
25- Okusuba Okusuuba
Okusuba: Kye kintu okukuyitako ng’ate obadde oyagala okukyetabako oba ng’obadde okyakyagala.
Okusuuba: Kwe kuwuuba ekintu mu bbanga kyokka nga kiriko ekitundu ekimu ekirina ekikikutte
26- Okutuma Okutuuma
Okutuma- Kwe kuwa omuntu ekiragiro akole ekintu.
Okutuuma- Kwe kussa ebintu awamu ne bikola akaswa oba okuwa ekintu erinnya.
27- Okutama Okutaama
Okutama- Kye kintu okukunyiwa n’oba nga tokyakyagala.
Okutaama: Kwe kukambuwala nga tokyawuliriza nsonga, busungu bwe bukukozesa.
28- Okutega Okuteega
Okutega: Kwe kussaawo omutego okwase omuntu oba ekintu
Okuteega: Kwe kuzinduukiriza omuntu nga tategedde oluvannyuma lw’okumulindira mu kafo w’omanyi nti ajja kuyitawo.
29- Okuvuma Okuvuuma
Okuvuma: Kwe kugamba omuntu ebigambo ebimutyoboola, okumulengezza n’okumunyiiza.
Okuvuuma: Eddoboozi erikolebwa emmotoka oba ensolo.
30- Okuwoza Okuwooza
Okuwoza: Kwe kumalamu ekintu ebbugumu ne kinnyogoga
Okuwooza: Kwe kulobola ekintu.
31- Okubuza Okubuuza
Okubuza: Kwe kuggyawo ekintu ne kiba nga tewali amanyi gye kiri
Okubuuza: Kwe kulamusa omuntu oba okubaako by’omusaba akutegeeze.
32- Okukula Okukuula
Okukula: Kye kintu oba omuntu okweyongerako mu myaka oba ekiseera ky’amaze
Okukuula: Kwe kusigula ekintu ekyamera mu ttalka n’okiggyamu bukolokolo.
33- Wema Weema
Wema: kwe kukozesa olulimi okusitula obusigo obutono nga obw’entungo okubussa mu kamwa ng’ogenda kubulya.
Weema: Akayumba akakole mu ttundubaali oba olugoye olukaluba mw’osobola okusula oba okweggama enkuba n’omusana.
34- Bana Baana
Bana: Guno muwendo gwa bantu; abasajja, abakazi oba abaana nga bali 4.
Baana: Abantu abatannaweza myaka 18
35- Bina Biina
Bina: Kitegeeza 400.
Biina (ensige): Kwe kusitula ebisige okubyambusa n’okubissa mu ngeri evuma n’okulengezza.
36- Kama Kaama
Kama: Kwe kukamula amabeere g’ekisolo ekiyonsa okuggyamu amata.
Kaama: Kino kika kya mmere ya mu ttaka kimera mu bibira.
37- Okukaka Okukaaka
Okukaka: Kwe kukozesa omuntu ekintu nga teyeeyagalidde oba olw’empaka.
Okukaaka- Kye kintu okuba nga ekimenyeka ne kivaako mu kifo we kyandibadde
38- Okukiina Okukina
Okukiina- Kwe kwogera ekintu nga taokitegeeza oba okuteeka omuntu mu kifo ky’omanyi nti takigyamu
Okukina: Kwe kuzingako abantu n’obatuulako ng’obayitiriddeko oba obasukkulumyeko.
39- Akaaba Akaba
Akaaba: Ye muntu okuba mu maziga
Akaba: ly’eggumba ly’oluba.
Mwanje John Bosco
28.08.2019 11:24
1. Flask = Eccupa Kakuumabbugumu.
2. Calculator = Embaziso, Ssekabalira.
3. Printer = Enfulumyamirimu
4. Scanner = Enyingizamirimu
5. Steppler = Kagattampapula
6. Puncher = Empummulabiwandiiko.
Federiko
19.04.2017 22:30
Mbalamusiza nyo nange nsomesa kompyuta muluganda naye nze mouse nagituuma Ebojjo olwokuboja ela keyboard ne ngituuma Lunyigo. Mwebale omulimu
Mutale
12.08.2014 20:24
Yoogaayoga.
Abaganda tugamba nti engabo gy'otakuteemu ... Omulimu mulungi, banaffe kabatuwe endowooza zaabwe tulabe.
Mutale
09.08.2014 21:07
Computer = Enviisirizo
Mouse = Akatazakalazi
Monitor = Endazi
Printer = Enviisi
Margaret Nankinga
08.08.2014 11:49
Naawe obadde osirise. Nze ekinsirisizza ngezaako kuwa bitundu bya kompyuta mannya ga Luganda era amangu ddala nga mbimaze ojja kubiraba ku muko guno.
Mutale
08.08.2014 11:44
Bannange nga musirise nnyo ?
Ssentanda Medadi
22.07.2014 06:54
Mw Mutale weebale omulimu; kye nteesa mu kaseera kano kwe kuwandiika ebigambo ebyo mu bujjuvu, e.g., office ebeere ekkakkalabizo; fork Entoozo. Ku ebyo ekigambo kya sideboard ndaba ng'ekitatuuka, tuky
Margaret Nankinga
19.07.2014 12:56
Mw. Mutale weebale okuyiiya. Nze ndowooza nti omuyiiya era yandirowoozezza ne ku ky'okuba nti ekigambo ky'oyiiyizza kiyamba omuntu okukuba ekifaananyi ku ky'oyogerako asobole okukikwata.
Margaret Nankinga
19.07.2014 13:02
Ate bwe tuba tulina ebigambo by'Oluganda bye tuludde nga tukozesa era nga bisimbye amakanda lwaki ate tuyiiyaayo ebirala? Wano njogera ku kafugansi. Omukulembeze w'eggwanga bulijjo kye tukozesa kirina kabi ki? Endazi, musigansimbi n'entoozo mbyagadde era