MAFUBIRA PULAYIMALE
MAFUBIRA PULAYIMALE
Abaana ba Mafubira Pulayimale nga basomeramu abaakakiiko mu lulimi Olusoga bwe baabadde batongoza ekibiina. Abasomesa bennyamidde olw'obutaba na bitabo bimala.
SPIRE ROAD PULAYIMALE
SPIRE ROAD PULAYIMALE
Abaana ba Spire Road nga basomeramu abaakakiiko mu lulimi Olusoga bwe baabadde batongoza ekibiina.
MAFUBIRA PULAYIMALE
MAFUBIRA PULAYIMALE
Munnakakiiko akola ku by'ensimbi Muky. Pamela Batenga ng'annyonnyola abasomesa ebibiina bino bwe birina okuddukanyizibwa.

AGAAKAGWAWO

June 25, 2015

BYA Muwandiisi Waffe

OMULAMBUZI w’amasomero mu avunaanyizibwa ku kitundu ky’e Butembe mu disitulikiti yaJinja Lydia Namuwaya, alaze obweraliikirivu olw’abasomesa obutaba na busobozi kusomesa baana nnimi zaabwe ennansi kubanga baasomesebwa mu Lungereza era lwe bakozesa ne kivaako abaana okukula nga tebamanyi nnimi zaabwe nnansi.
Bino yabyogedde ng’akakiiko ka Luganda, Lusoga, Lugwere Cross boarder language Commission katongoza ebibiina ebisomi by’ebitabo mu nnimi ennansi biyite Readers Clubs mu masomero ag’omu disitulikiti y’e Jinja. Yasabye abazadde okusomesa abaana baabwe ennimi ennansi okuva mu buto ne bwe batandiika okusoma kibayambe okuzinyweza.
Ebibiina bino eby’abayizi byatongozeddwa Pulezidenti w’akakiiko ka Luganda, Lusoga, Lugwere cross boarder language commission, Margaret Nankinga, ku Lwokuna nga yasoose kutongozza ekibiina ku ssomero lya Mafubira P/S n’azzaako eky’essomero lya Spire Road P/S.
Namuwaya yasabye akakiiko ka Luganda, Lusoga, Lugwere okuvaayo bakwatize wamu okutegeka emisomo egy’okubangula abasomesa mu kusomesa ennimi ennansi.
Bwe yabadde atongoza ebibiina bino, Nankinga yategeezeza nti abakulembezze b’amawanga ag’enjawulo mu Afrika baatuula mu lukiiko lw’omukago gwa Afrika ( African Union) ne bakkiriziganya okutumbula ennimi ennansi mu mawanga gaabwe nga bayita mu kakiiko ke bassaawo aka African Academy of Languages (ACALAN).
Mu Uganda akakiiko ka Luganda, Lusoga, Lugwere Cross boarder Language Commission k’atondebwawo ACALAN okutumbula ennimi ennansi eza Uganda.
Nankinga yategeezeza nti ennimi ennansi ze zikwese amagezi g’Abaddugavu ag’ekikugu, ag’obuzaaliranwa, empisa zaabwe ennungi n’ebirala bye tutasaanye kufiirwa era nti omwana yenna bw’ayiga olulimi lwe kimwanguyira okusoma, okuwandiika n’okuyiga ennimi endala mu bwangu.
Akakiiko kaatonedde amasomero gano ebitabo eby’okusoma ebiri mu nnimi ennansi. Munnakakiiko, Mw. Fred Lukabwe Kisirikko naye yalambuludde obukulu bw’okuyigiriza abaana ennimi zaabwe n’ategeeza nti kyongera ne ku mikisa gy’abaana okufuna emirimu.
Omuwi w’amagezi ku kakiiko ka Luganda, Lusoga, Lugwere Cross boarder Language commission, Muky. Pamela Batenga, yategeezezza nti okunoonyereza kwakoleddwa mu Uganda ne kizuulibwa ng’abayizi 70 ku buli 100 ab’ekibiina ekyomusanvu tebasobola kusoma mu nnimi zaabwe ennansi. “Twebuuza nti abayizi bano baayita wa okutuuka mu kibiina ekyomusanvu nga tebamanyi kusoma nnimi zaabwe ennansi”, bwe yeewuunyizza.
Yayongeddeko nti ebigendererwa by’okuggulawo ebibiina ebisomi mulimu okutumbula ennimi zino n'okuzikulaakulanya ng’abakulu b’amassomero beenyigira mu bintu ebitumbula ennimi zino omuli okutegeka empaka mu kuwandiika n'okusoma.
Ebirala mulimu okuyamba okutondawo ebigambo ebipya mu ngeri ekkirizaganya n'amateeka g'olulimi naddala okugunjaawo ebigambo ebinnyonnyola ssaayansi ne tekinologiya abantu basobole okumutegeera mu nnimi zino.
Okuyamba ennimi Olusoga n'Olugwere okufuna empandiika entongole nga bagatta abategeera ennimi zino ne bateesa n'okukkaanya ku mpandiika.
Okwongera ku bungi bw'ebitabo ebiwandiikiddwa mu nnimi zino n’okuyamba abaagala okuyiga ennimi zino okuzitegeera n'okuzikozesa nga babafunira ebitabo ebibanguyiza okuzisoma n'okuzoogera.

AMAWULIRE KU BIBIINA EBISOMI BY'EBITABO (READERS CLUBS)

Nov. 7, 2014

AKAKIIKO ka Luganda, Lusoga Lugwere Vehicular Cross- border Language Commission katonedde essomero lya Nansana C/U Pulayimale ebitabo ku mukolo kwe katongolezza ekibiina ky'abayizi ekisomi ky'ebitabo mu ssomero lino. Bw'abadde aggulawo ekibiina kino, kaminsona w'ebyobuwangwa mu minisitule y'Ekikula ky'abantu, Muky. Pamela Batenga asabye abasomesa okujjumbiza abayizi okuyiga okusoma ebiwandiike naddala mu nnimi ennansi kubanga mu nnimi zino mwe mukwekeddwa amagezi, empisa n'obugunjufu obutwawula nga Abaddugavu. Yasabye abayizi okukendeeza ku budde bwe bamala nga balaba tivvi, babuzze mu kusoma ebitabo. Yeebazizza Bukedde ne kkampuni ya Vision Group okufaayo ku nnimi ennansi bwe baatonedde ekibiina kya Nansana C/U ekisomi ky'ebitabo amawulire ga Bukedde n'amalala ag'ennimi ennansi omuli Orumuri ne Etop. Pulezidenti w'akakiiko Muky. Margaret Nankinga, bwe yabadde tannakwasa mumyuka wa mukulu wa ssomero, Muky. Ester Araka, ebiitabo ebyabatoneddwa akakiiko yalaze obulwa obwolekedde eggwanga okuba nti abaana bangi tebasobola kusoma biwandiike ate n'abo ababa basobodde okubisoma, bw'obabuuza mu bye basomye, ogenda okukizuula nga tebabitegedde. Yagambye nti omwana bw'asooka okuyiga okusoma mu lulimi lwe, kimwanguyira okuyiga ennimi endala. Munnakakiiko, Fred Lukabwe Kisirikko yategeezezza nti omwana okuyiga okusoma mu lulimi lwe kimwogiya obwongo n'aba ng'asobola okulowooza amangu n'okwefumiitiriza. Ku mukolo guno abayizi baasomeddemu bannakakiiko ebitundu okuva mu bitabo ebitali bimu. Kalabaalaba w'omukolo, Mw. Mutale Ttendo obwedda abuuza abayizi abalala obwedda abawuliriza bannaabwe nga basoma ebibuuzo okuzuula oba ddala obwedda bawuliriza n'okutegeera ebisomebwa. Munnakakiiko, Muky. Joyce Tomusange naye yasomeddemu abayizi ne banyumirwa. Akakiiko kaasiimye omusomesa, Florence Nabacwa okuteekateeka obulungi abayizi, ne kasiima n'abatwala essomero lino okulaba obukulu bw'okuyigiriza abaana okusoma ne bakkiriza ekibiina kino okutandikibwa mu ssomero lyabwe.

Omuyizi wa Nansana C/U Pulayimale ng'asomera banne ekitundu okuva mu katabo k'Oluganda, akakiiko ka Luganda, Lusoga, Lugwere bwe kaabadde kaggulawo ekibiina ekisomi ky'ebitabo mu ssomero lino ku Lwokutaano nga 7 mu mwezi gwa Museenene (November) 2014

Omuyizi wa Nansana C/U Pulayimale ng'asomera banne ekitundu okuva mu katabo k'Oluganda, akakiiko ka Luganda, Lusoga, Lugwere bwe kaabadde kaggulawo ekibiina ekisomi ky'ebitabo mu ssomero lino ku Lwokutaano nga 7 mu mwezi gwa Museenene (November) 2014

EKIBIINA EKISOMI KY'EBITABO E NANSANA C/U PULAYIMALE
EKIBIINA EKISOMI KY'EBITABO E NANSANA C/U PULAYIMALE
Abaakakiiko nga bayimba Ekitiibwa Kya Buganda mu kutongoza ekibiina ekisomi ky'ebitabo mu Nansana C/U Pulayimale ku Lwokutaano nga 7 mu Museenene (November) 2014.
Omuyizi ng'asomeramu banne ku mukolo gw'okutongoza ekibiina kyabwe.
Omuyizi ng'asomera banne amawulire ga Orumuri agali mu lulimi Olunyankole.

Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page