Okunoonyereza kwali kwagala okuzuula obungi bw'ebitabo ebiwandiikiddwa, ennimi ze biwandiikiddwaamu, omutindo gwabyo, ebiti mwe bigwa, abaabikuba, bbeeyi yaabyo n'ebirala ntoko ng'ekigendererwa kwe kulaba oba biri ku mutindo ogwetaagisa era n'okumanya n'ennimi za Afrika ezirina ebitabo mu nnimi ennansi ebiri ku mutindo ogwetaagisa okusomebwa abaana bano abato.
Wano mu Uganda akakiiko ka Luganda Lusoga Lugwere ke kaakulembera okunoonyereza kuno nga Muky. Pamela Batenga ne Margaret Nankinga be baali abakwanaganya b'okunoonyereza ate nga munnakakiiko omulala Mw. Mutale Ttendo ne Dr. Sam Andema okuva mu yunivasite y'e Kyambogo be baakola okunoonyereza.
Abakugu bagamba nti omwana ayanguyirwa nnyo okuyiga okusoma n’okuwandiika ssinga abeera n’obutabo bw’asoma, awaka w’abeera ne ku ssomero gy’asoma.
Ebyavudde mu kunoonyereza okwakolebwa ku bitabo mu nnimi ennansi biraga nti Uganda erina obuzibu kubanga omuwendo gw’ebitabo bino mu nnimi ennansi gukyali wansi ate nga bo abaana aba nassale kumpi tebalina bitabo bya nnimi ennansi ebibayigiriza okusoma.
Okunoonyereza kuno (Survey of Children’s Reading Materials in African Languages in 11 Countries) kwazuula ebitabo ebiri mu nnimi ennansi 33 eza Uganda. Ennimi ezaasinze okuba n’ebisomebwa abaana abato mwabaddemu Oluganda, Olulugwala (Lugbara) n’Olulahho (Langi).
Uganda yatandika enkola esomesa abaana mu nnimi ennansi okuva mu kibiina ekisooka okutuuka mu Kyokusatu, mu mwaka 2007 ng’egenderera okwagazisa n’okwanguyiza omuyizi okuyiga okusoma ng’atandikira mu lulimi lwe olukozesebwa awaka n’abantu mu kitundu mw’abeera. Kyokka ekimu ku bikyalemesezza enkola eno okuvaamu ebibala eby’omuzinzi ebyali bisuubirwa kwe kuba nti ebitabo by’ennimi ennansi ebyetaagisa okukozesebwa abaana bano abato ebiriwo tebimala.
Okunoonyereza kwazudde nti ebitabo ebiyigiriza abaana okusoma mu nnimi ennansi bikyali bitono ng’ebitabo ebyazuuliddwa mu kiti kino byabadde 786 mu nnimi 33 eza Uganda. Oluganda lwe lwabadde lusinza ebitabo nga lwabadde na 182 ng’ebisinga byebyo ebikozesebwa mu kusomesa mu kibiina.
Ebitabo ebiriwo tebimala kutuukiriza ekigendererwa ky’abaana okuyiga okusoma n’okuwandiika mu nnimi zaabwe. N’ebyo ebitabo ebitono ebiriwo si kyangu kubibunyisa eri abandibisomye kubanga bbeeyi y’okubikuba mu kyapa eri waggulu ate nga ne bannyinibyo tebabissa mu nkola ey’olukale (creative commons) esobozesa abalina obusobozi okubizaaza ne byeyongera okwala.
Lipoota eno eraga nti emu ku nsonga ezivuddeko ebitabo by’ennimi ennansi ebisomebwa abaana bano abato okuba ebitono be bazadde abataagala nnimi zaabwe nga bagamba nti zireeta enjawukana, bbeeyi y’okukuba ebitabo okuba waggulu nayo eremesa okukuba ebitabo naddala mu nnimi ezoogerwa abantu abatono.
(Soma lipoota eno mu bujjuvu mu Lungereza)
DERP SURVEY FULL REPORT
Lipoota eraga ebyava mu kunoonyereza mu Uganda.
DERP SURVEY FULL REPORT1
Lipoota yonna mu bujjuvu
Omumyuka w'omukulu w'essomero lya Nansana C/U pulayimale, Muky. Ester Araka Oluoch (ku kkono) ng'ali ne bannakakiiko ka Luganda Lusoga Lugwere oluvannyuma lw'okutandikawo ekibiina ky'abasomi (readers club), abayizi mwe banaayigira okusoma ebiwandiiko by'Oluganda n'ennimi endala ennansi mu ssomero lino. Abalala ye Muky. Margaret Nankinga pulezidenti w'akakiiko (addiridde Ester), Mw. Mutale Ttendo, Muky Joyce Naluggya Tomusange, Muky. Pamela Batenga ng'ono ye muwi w'amagezi ne Mw. Fred Lukabwe Kisirikko.
Nkwanirizza ku mukutu gwaffe guno ogwa Luganda Lusoga Lugwere cross border language commission.
Weegazaanye
Sep. 11, 2014
Jul. 06, 2014
May. 3, 2014
Ebyanjula
Apr. 26, 2014
Bafunye omukutu
Apr. 26, 2014
Akakiiko kasazeewo ku nkuluze
Apr. 29, 2014
Asabye Gavt. ku kukulaakulanya olulimi
Apr. 8, 2014
Kaminsona yeeyamye ku nnimi
May. 3, 2014
News in brief
May. 3, 2014
ENGERO ZA BAJJAJJA
Abamu ku bakontanyi abaabadde mu pulogulaamu ya Wakulennume ebeera ku WBSTV. Wakulennume pulogulaamu y'olulimi Oluganda ku WBSTV ng'ekigendererwa kyayo ekikulu kwe kukuuma n'okuzimba olulimi Oluganda. Mu pulogulaamu eno bagezaako n'okuzimba ebigambo ebipya mu lulimi Oluganda naddala ebyo ebibadde tebinnakyusibwa mu Luganda.
Omuwanguzi wolunaku , asuumusibwa n'atwalibwa ku mutendera oguddako olwo omuwanguzi ne yeefunira ekirabo ssemalabo.
Barnabus Iga
09.12.2016 08:59
Mwebale omulimu gw'okukulaakulanya ennimi zaffe ennansi.
Barnabus Iga
09.12.2016 09:16
Weewaawo. Nja kuweereza bye nsobodde. Waliwo obutabo bungi obwa bakadde baffe nga Kawere, Mpalanyi, n'abalala obwabula nga ne bw'obunoonya mu matundiro g'ebitabo, tobufuna. Nsaba akakiiko kabulwaneko.
Nankinga Margaret
09.12.2016 09:05
Weebale kusiima Barnabus. Naawe twegatteko, bw'oba olina ekiwandiiko kyonna ekikwata ku lulimi ky'oyagala abalala basomeko, oyinza okukimpeereza ne nkissa ku mukutu gwaffe guno.
Sowate Samson
10.11.2015 07:04
Banaange bakagwa mwasyenyiwa kuba nga mbagotereku olwisi kiba tikyewalika. Naya amazima galinti ibataka ino era isanyurira ebyelikukolela ngwnga no lulimi lwaiswe. nolwekyo nasigala nga impulisisha
Tomusange Joyce .
19.05.2015 08:10
Mukaagwa Sowate Samson, weebale okwegaita oku Lugandalusogaljgweere commission. Naye ng'osiriikiriire ino? Watwiiriryeemu amaani okuwaandiika tate n'omala n'ogota ?
Tomusange Joyce N
11.05.2015 04:30
Munaisu weena eyeegayitire oku website eno omu Lugwere twakusanyukiire .Weebale ino okutwegaitako.Atyano ekyetukusaba,oyongereremu l
kimo amaani oweereryenga buli kiwono ekisa eky'omayite okumukut
Tomusange Joyce N.
11.05.2015 03:56
Wali okitegedde nti OBUWANGWA kitegeeza ggwe wennyini? Kale bukuume osobole oku beerawo.
Sowate Samson
31.03.2015 14:49
Mwemale okwiiza banange. tubaaniriza era tusiimire omulama gwe muliku. twabawagira
Henry Nsubuga
17.07.2014 07:25
Muky. Nankinga Margaret ne banno tusiima obuweereza bwammwe, mugende mu maaso n'okutema empenda ez'okuyitamu okutumbula ennimi ennansi.
Margaret Nankinga
17.07.2014 07:57
Ssebo weebale kusiima naye ffe tetulina kye tusobola kukola nga temutwegasseeko. Tulina entegeka ze tugenda okubanjulira mu kiseera ekitali ky'ewala nga tusaba mwenna mutwegatteko tutumbule ennimi ennansi.
Lipoota eraga ebyazuulwa mu kunoonyereza okwakolebwa ku bitabo ebisomebwa abaana abato, okuva mu nassale okutuuka ku kyokusatu nga biwandiikiddwa mu nnimi ennansi efulumye. Okunoonyereza kuno kwakolebwa mu 2014 mu mawanga 11 aga Afrika nga kwali kukulirwa ekibiina kya Research Triangle International (RTI) nga kiyambibwako aba blue Tree Group (bTG) ne African Academy Of Languages (ACALAN).