Abeetabye mu musomo ku kugunja ebigambo by'amagezi ag'ekikugu ogwategekeddwa akakiiko ka Luganda/ Lusoga/ Lugwere ku Bulange e Mengo. Mu musomo guno akakiiko mwe kaayanjulidde ebigambo by'amagezi ag'ekikugu bye kaanoonyerezzaako era bye kawandiiseemu ekitabo kye kagenda okufulumiza ku mutimbagano. Kaminsona w'ebyenjigiriza ebisookerwako, Dr. Tony Mukasa Lusambu (ku kkono) naye yalambuludde obukulu bw'ennimi ennansi mu byenjigiriza ebisookerwako ne yeeyama ku lwa minisitule y'ebyenjigiriza okugenda mu maaso n'okutandisa abayizi okusoma nga basomesebwa mu nnimi zaabwe ennansi. Abalala ye munnakakiiko Lukabwe Fred Kisirikko ne munnannimi Andrew Kirabira.
Oluvannyuma abeetabye mu musomo beeyawuddemu mu bibinja ne baweebwa ebigambo bino eby'amagezi g'ekikugu babikubagenyeeko ebirowoozo. Bwe binaamala okutereezebwa, n'okuyingizaamu ebyavudde mu kukubaganya ebirowoozo kuno, ebigambo bino bigenda kukolebwamu ekitabo kifulumire ku mutimbagano guno. Abeetabye mu musomo guno kwabaddeko abayizi okuva mu yunivasite e Makerere, bannakibiina ky'Olulimi Oluganda, abasomesa. bannaddiini bannamawulire n'abakgu mu mirimu egitali gimu.
Laba ebifaananyi by'abamu ku beetabye mu musomo guno wansi (Ebifaananyi byonna bya Vivien Nakitende)
MINISITA DAVID KYEWALABYE MALE: Tulina okunyweza obuwangwa bwaffe kubanga tosobola kuzimba ggwanga, nga tosoose kunyweza lulimi luzaaliranwa. Eky’obutanyweza nnimi zaffe nzaaliranwa, kibadde kizibu kinene mu byenjigiriza ng’abayizi tebategeera bulungi bibasomesebwa, ne kivaako okukwata obukusu okusobola okuyita ebibuuzo.
Obuzibu buli nti abantu bwe boogera ku lulimi oluzaaliranwa, bangi balowooza nti bategeeza Luganda lwokka ekintu ekikyamu, kitegeeza buli lulimi lwa muntu mu ggwanga lye gy’azaalwa.
Omuntu ayagala okukusaanyawo, asooka kusaanyawo lulimi lwo, tusaanye okunywerera ku nnimi zaffe, abasomesa okubonereza abayizi aboogera ennimi ennansi ku masomero kikyamu, kuba kizibakyaya ate nga ly’ekkubo lye tutunuulidde okuyigiriza n’okutumbula eggwanga lyaffe. Teri nsi eyinza kukulaakulana nga tekozesa nnimi zaayo nzaaliranwa, n’ezo ze twegomba ezaakulaakulana edda zikozesa nnimi zaazo, kale nsaba omumuli gwe mukoleezezza temuguzikiza tuzimbe olulimi lwaffe n’eggwanga lyaffe.
DR TONY MUKASA LUSAMBU, kaminsona w’ebyenjigiriza ebisookerwako mu ggwanga: Ffe mu gavumenti eya wakati ensonga y’ennimi ennansi twagizuula nga nkulu , tulemeddeko nti abayizi bonna okuva mu nassale okutuuka ekibiina ekyokusatu balina kusoma mu nnimi zaabwe ennansi. Bukya nkola eno etandika ebyenjigiriza byaffe bikyuse kinene, abaana bakola bulungi.
Eggwanga lirina obuzibu, teririna lulimi lwa ggwanga, tukyali ku nnimi ngwira, ssinga tukuza ennimi zaffe ennansi ne zoogerebwa nnyo kuno n’ebweru w’eggwanga kijja kuba kyangu okulondako olulimi lw’eggwnaga oluba lukozesebwa.
Mathias Mulumba Bwanika (Associate Proffessor), musomesa mu ttendekero ly’abasomesa mu yunivasite e Makerere:
Okugunja kwe kuteekawo ekintu ekitabaddeewo, ebigambo bya ssaayansi ne tekinologiya ebisinga tugenda kubigunja kuba bingi tubadde tetubirina ate tubiyingize mu ebyo ebibaddewo.
Obwetaavu bw’okugunjaawo ebigambo bulaga nkulaakulana y’abantu mu ntegeera yaabwe.
Eggwanga gye lyolekedde lyetaaga abantu abayiiya abasobola okutondawo emirimu naddala nga beeyambisa tekinologiya, obuyiiya buno tetusobola kubuggyayo nga tukozesa nnimi ngwira.
Twagala tukozese ebigambo bino tukongojje amasomo ga ssaayansi ne tekinologiya abaana baffe bagategeere bulungi basobole okuggyayo obuyiiya bwabwe.
Margaret Nankinga , Omukwanaganya w’akakiiko ka Luganda/ Lusoga/ Lugwere: Tulina ebintu bibiri bye twetaaga okutegeera obulungi tuleme kuwaba. Waliwo ennimi ezikusobozesa okwogerezaganya n’abantu abawerako (Languages of wider communication) ne wabaawo n’ennimi ezisumulula obuyiiya n’obusobozi bwaffe (unlocking potential). Eggwanga okutuuka ku nkulaakulana eya nnamaddala, abantu baffe beetaaga okusooka okutaggulula, okusumulula obusobozi bwabwe n’obuyiiya nga bayita mu nnimi zaabwe enzaaliranwa ze basinga okutegeera era mwe basobola okuyiiyiza olwo bwe banaamala okuyiiya ebikulaakulanya eggwanga babitunde ebweru w’eggwanga nga bakozesa ennimi ezibasobozesa okwogerezaganya n’abantu abawerako. Ennimi zaffe enzaaliranwa zitaggulula era zisumulula obuyiiya ate ennimi endala nga Oluswayiri, Olungereza, Olufalansa n’endala ne zikosobozesa okwogerezaganya n’abantu abawerako
Fred Lukabwe, Ssentebe w’Ekibiina ky’Olulimi Oluganda : Olulimi lwonna okukulaakulana luteekwa okufuna ebigambo ebinnyonnyola ebintu ebipya, okuwandiika n’okunoonyereza, ne tuvaayo n’ebigambo ebinnyonyola obulungi ssaayansi ne tekinologiya, tulaba nga ly’ekkubo ettuufu okukulaakulanya eggwanga lyaffe kuba kijja kuggyayo obuyiiya bw’abantu baffe nga bategedde bulungi amagezi ag’ekikugu gano.
Mar. 30, 2019
KAWEEFUBE W'OKUMALAWO OBUTAMANYA KUSOMA NA KUWANDIIKA AKAKIIKO KAMUTUTTE MU AMERIKA
Akakiiko ka Luganda/ Lusoga/ Lugwere Vehicular Cross-border Language Commission kataddewo enkolagana n’ebibiina mu nsi yonna ebitakabana okumalawo obutamanya kusoma na kuwandiika mu bantu naddala mu baana.
Enkolagana eno yatongozeddwa mu lukung'aana olwamaze ennaku ebbiri 28 ne 29 March 2019, mu Washington DC mu Amerika nga lwatuumiddwa ‘Literacy Partners Summit’ olwategekeddwa era ne lutuula ku kitebe ky’ekibiina kya Results For Development (R4D) abaawomye omutwe mu nkolagana eno.
Ebibiina ebiri mu nkolagana eno bimaze emyezi 11 nga bitegeka ebintu eby’enjawulo ebineeyambisibwa mu kaweefube w’okumalawo obutamanya kusoma na kuwandiika nga mu bino mulimu enkola eyinza okukozesebwa okusikiriza n’okuyamba abazadde okufaayo, okulondoola n’okwagazisa abaana okuyiga okusoma n’okuwandiika nga batandikira awaka, bagende okutuuka okugenda ku masomero nga baliko we batuuse.
Ebirala mulimu enkola eneeyamba ebibiina bino okumanyisa abantu abatali bamu bye bikola, enkola eyamba abasomesa okwekenneenya bye beeyambisa okusomesa abaana okuyiga okusoma n’okuwang'ana amagezi, enkola eneeyamba okuyingiza tekinologiya mu kuyigiriza okusoma n’okuwandiika n’ebirala.
Akulira akakiiko ka Luganda/ Lusoga/Lugwere Margaret Nankinga bwe yabadde ayogera mu lukungaana luno mu Washington DC, yalaze obukulu bw’okutandikawo mu masomero ebibiina abayizi mwe beegattira ne basoma ebitabo ebibanyumira era ne bavuganya ne mu kuwandiika obugero n’obuboozi obuyiiye nga bali mu bibiina bino ebimanyiddwa nga ‘readers/ writers’ clubs. Nankinga yagambye nti kino kyakunyweza okuyiga okusoma naddala mu nnimi ennansi ezeeyambisibwa mu kusomesa okuva mu P.1 okutuuka mu P.3 olwo ne bwe bagenda mu bibiina ebirala nga ne basigala nga bakaza okuzisoma n’okuziwandiika nga bayita mu bibiina bino. Ebibiina tebikoma ku kuyamba kunyweza n’okukaza ennimi ennansi naye era biyambako mu kuyiga Olungereza abaana lwe baba bakozesa mu kusoma.
Nankinga yategeezezza abaabaddewo obukulu bw’ennimi ennansi mu kuyigiriza okusoma n’okuwandiika bwe yabagambye nti abaana bakaluubirirwa nnyo bwe batandika okuyiga okusoma mu nnimi ze batamanyi era ze batakozesa waka. Abantu 100 okuva mu bibiina 20 eby’enjawulo be bali mu kaweefube ono era olukung'aana luno olwabadde mu Washington DC lwetabiddwaamu ebibiina eby’enjawulo ebyegasse mu nkolagana eno, okwabadde abategesi Results For Development, Beyond The Classroom, World Reader, Oneness Family Montessori school, Aga Khan University, Open Learning Exchange Ghana, USAID, World Vision, ReadABookNigeria Initiative, Cell-ED, Literacy4All n’ebibiina ebirala.
Abeetabye mu lukung'aana baayanjudde enkola ez’enjawulo ze babadde bakolako okumala emyezi 11 era ne beeyama bwe bagenda okwegatta mu nkola y’okuzimanyisa abantu n’okuzibunyisa zibe nga zikozesebwa okumalawo obutamanya kusoma na kuwandiika.
Leero mu nsi yonna, abantu abakulu obukadde 750 tebamanyi kusoma na kuwandiika ate ng’ekiruubirirwa ky’Amawanga Amagatte eky’okussaawo enkulaakulana eya nnamaddala omwaka 2030 we gunaatuukira eruubirira okulaba ng’abavubuka n’abantu abakulu abawerako bafuna obumanyi obwetaagisa mu kusoma n’okuwandiika awamu n’okubala.
Ebyayogeddwa bisange ku:
https://drive.google.com/drive/u/0/folders/13M26Qyc_vkfYfN10HeoC9lFHlI0qZ_UZ
Akakiiko ka Luganda/ Lusoga/ Lugwere kalaze ebintu ebikulu 17 ebyetaaga okugobererwa mu mpandiika y’olulimi Oluganda. Bino bibadde mu musomo ogukwata ku mpandiika y’ennimi za Afirika ttaano ogwategekeddwa akakiiko ka African Union ak’ennimi akayitibwa African Academy of Languages (ACALAN). Akakiiko kaalaze nti okuva empandiika y’Oluganda entongole bwe yakkaanyizibwako mu mwaka gwa 1947, kati gy’emyaka 71, ebintu bingi ebizze biyingizibwa mu mpandiika y’Oluganda ng’ebimu biva mu bigambo ebigenda biyingizibwa mu lulimi olw’amagezi ag’ekikugu agayingizibwa mu bulamu bw’omuntu n’ebirala nga biva ku bayigirize abamu abalowooza nti empandiika entongole yandibaddemu ebikyusibwamu.
Mu musomo ogwategekeddwa ACALAN ku kukkaanya ku mpandiika y'ennimi; Oluganda, Kiswahili, Kinyarwanda/Kirundi, Malagasy ne Somali, bannakakiiko ka Luganda/ Lusoga/ Lugwere nga beegwattiddwaako Mw. Bakaye Lubega ow’ebyobuwangwa mu mukago gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Afirika ne Muky. Ruth Muguta okuva mu Minisitule y’Ekikula ky’abantu, eyabadde omutunuulizi. Baavuddeyo n’ebintu ebikulu 17 ebirina okugobererwa mu mpandiika y’Oluganda entongole.
Ku lw’akakiiko, omuwandiisi waako Ssaalongo Andrew Kaggwa yategeezezza abeetabye mu musomo guno nti nga tuleeta enkyukakyuka mu mpandiika y’ennimi tulina okwegendereza obutazza nnimi zino mabega mu biwandiike bye zirina ne mu muweondo gw’abantu abasobola okuzisoma n’okuziwandiika kubanga enkyukakyuka ezimu zifuula ebiwanddike ebyawandiikibwa edda okuba nti tebikyakola n’eyali asobola okusoma olulimi olwo ate n’alemwa okulusoma.
Mu bintu 17 akakiiko bye kanokoddeyo mulimu ensengeka y’ennukuta za walifu, empandiika y’ennukuta ebbiri ezifaanagana n’ezitafaanagana, okulaga enzika n’ennyambuka y’amaloboozi, empandiika y’ebigambo ebiggyiddwa mu nnimi endala n’ebirala ntoko.
Lipoota ku bintu bino 17 yaweereddwa abakulu mu ACALAN nga n’oluvannyuma akakiiko kagenda kuyita abakugu b’Olulimi Oluganda babyogereko nga tebinnabunyisibwa mu bakozesa olulimi luno bonna. Ebyatuukiddwaako byesigamiziddwa ku mpandiika y’Oluganda entongole eya 1947.
AU etaddewo wiiki y'ennimi za Afirika
Ng’afundikira omusomo guno ogwamaze ennaku essatu ku wooteeri ya Speke Resort e Munyonyo, Ssaabawandiisi wa ACALAN, Dr. Dampha Fafa Lang yagambye nti ennimi za Afirika zeetaaga okugunja ebigambo by’amagezi ag’ekikugu aga ssaayansi ne tekinologiya, Abafirika basobole okugakozesa okweggya mu bwavu. Yagambye nti omukago gw’amawanga ga Afirika (AU) gutaddewo wiiki okuva nga January 24- 31 okuba wiiki y’ennimi za Afirika nga yaakweyambisibwa okunyweza ebyakkaanyizibwako African Union okutumbula ennimi za Afirika n’ebyobuwangwa.
Minisita w'eggwanga o'wEkikula ky'abantu, Muky. Peace Mutuuzo alangiridde ennimi nnya Uganda z'egenda okukulaakulanya zibe ennimi z'eggwanga (National languages). Ennimi z'alangiridde kuliko Oluganda, Runyakitara, Luo, ne Kiswahili. Bino Minisita abirangiridde bw'abadde aggulawo omusomo ogukwata ku mpandiika y'ennimi ennansi ttaano omuli Oluganda, Olusomaali, Kinyarwanda/Kirundi, Malagasy ne Kiswahili.
Minisita ategeezezza wadde nga twagala enkolagana ennungi n'abantu abalala naye ate tetuyinza kwebalama kukkiriza kye tuli. Yategeezezza nti ebyobuwangwa bwe buwonero bwa Afirika. Yagambye kyennyamiza okukulaakulanya ennimi z'abalala ne tusuulirira ezaffe. Yategeezezza nti tulina amawanga 65 mu Uganda n'ennimi ez'enjawulo naye eggwanga lisazeewo likulaakulanye ennimi nnya okusooka n'endala zigoberere. Yagambye nti ennimi endala nnyingi eziyingira mu nnimi zino ennya ezaalondeddwa. Yalaze obwetaavu bw'okukola etteeka erifuga ennimi (National Language Policy) ng'ekyetaagisa z'ensimbi okukola kino.
Yagambye nti alina essuubi nti Afirika erituuka n'esalawo okukozesa olulimi lumu.
Minisita yayaniriziddwa akulira akakiiko k'ebyennimi aka African Union akayitibwa African Academy Of Languages (ACALAN), Dr. Dampha Fafa Lang amutegeezezza obukulu bw'okutumbula ennimi za Afirika ennansi kubanga Afirika teyinza kukulaakulana okuggyako ng'eyita mu nnimi zaayo. Yategeezezza nti ennimi zino okukola omulimu guno obulungi zeetaaga okuzimba ebigambo by'amagezi ag'ekikugu aga ssaayansi tekinologiya namalala.
Eyakiikiridde omukago gw'amawanga g'obuvanjuba bwa Afirika, Mw. Bakaye Lubega yayogedde ku bukulu bw'olulimi Oluswayiri nga olulimi olugatta omukago gw'obuvanjuba bwa Afirika n'asaba Gavumenti mu kitundu kino zifube okulukulaakulanya wamu n'ennimi endala ennansi nga Oluganda olw'okutumbula enkulaakulana mu kitundu.
Ye akulira akakiiko ak'ebyekikugu mu ACALAN aka Assembly of Academicians, Polofeesa Sammy Chumbow yategeezezza nti okukkaanya ku mpandiika y'ennimi ekigendererwa kuwa nnimi zino busobozi zibe nga zisobola okukozesebwa mu byenkulaakulana ate n'okwongera okukendeeza enjawukana mu by'ennimi zibe nga zikozesebwa okugatta abantu mu Afirika.
Omusomo guno ogw'okumala ennaku essatu guli ku Speke Resort Munyonyo. Gwakuggalwawo ku Lwomukaaga.
LEARNING LUGANDA FOR ENGLISH AND KISWAHILI SPEAKERS
Luganda - English- Kiswahili Lexicon
AKAKIIKO ka Luganda/Lusoga/Lugwere kanjulidde bannannimi n'abakugu abatali bamu ebigambo by'obujjanjabi, obuzimbi, obwamakanika n'obuweesi bye kaanoonyerezzaako, bibeere omubumbirano abakugu kwe basinziira okugunja ebigambo by'amagezi g'ekikugu ebirala ebitannafunika mu lulimi Oluganda. Bino byabadde mu musomo ku kugunja ebigambo ogwategekeddwa akakiiko kano mu kaweefube w'okwagazisa abantu ssaayansi n'amagezi ag'ekikugu amalala batandike okugafumiitirizaako era n'okugayiyiizaamu ebintu ebizimba eggwanga.
Omosomo guno ogwakubiriziddwa omusomessa ku yunivasite ya Uganda Martyrs, Mw. Andrew Kirabira, gwagguddwaawo Minisita w'olulimi, ennono, ebyobuwangwa n'ebyokwerinda e Mengo Oweekitiibwa Kyewalabye Male olwo omwogezi omukulu okuva ku yunivasite e Makerere, Dr. Mulumba Bwanika n'asomesa ku bukulu bw'okugunja ebigambo by'amagezi ag'ekikugu, emitendera egiyitibwamu mu lulimi Oluganda okugunja ebigambo n'akasengejja mw'obiyisa okupima oba ddala bisaanidde.
BANNAKAKIIKO k'ebyekikugu aka ACALAN bali mu Addis Ababa okuteesa ku nkulaakulana y'ennimi ennansi eza Afrika. Oluteesa lwagguddwaawo Kaminsona w'ekitongole ky'embeera z'abantu mu African Union, Oweekitiibwa Amira El Fadir eyakiikiriddwa omubaka Olawale Majyegun. Kaminsona yakubirizza Abafirika okussa ku mwanjo ennimi zaabwe kubanga mwe bajja okuyita okuleetawo enkulaakulana ey'omuggundu mu Afrika. "Tuteekwa okukozesa ennimi zaffe okutondawo emirimu n'okuleeta enkulaakulana mu Afrika", bwe yagambye. Omuganyulo oguli mu lulimi gutondebwawo butondebwa era okuggyako kino nga kikolebwa tewali mateeka ganaayisibwa gajja kuwa bukakafu bwa nkomeredde nti zijja kukozesebwa.
Yawadde obweyamu ku lw'ekitongole ky'akulembera nga bwe kigenda okukola kyonna okuwagira ACALAN mu kaweefube w'okukulaakulanya ennimi za Afrika.
Oluvannyuma abantu abatali bamu okuva mu mawanga ga Afrika ag'enjawulo baayogedde kyokka nga bonna balina bye bafaananya omuli eky'okuba nti amawanga mangi mu Afrika tegalina nkola za ssimba ezassibwawo, okwesigamizibwa enkozesa y'ennimi (National language policy), buli lukya Abafirika abakozesa ennimi zaabwe ennansi beeyongera kukendeera, obwetaavu bw'ebiwandiike naddala ebyo ebikozesebwa mu masomero ebiri mu nnimi ennansi bweyongera ate ng'ebbula ly'ensimbi n'abantu abalina obusobozi okukulaakulanya ennimi zino nalyo ddene. Olutuula luno olwakubiriziddwa Pulof. Sammy Beban Chumbow okuva e Cameroon lufundikira nkya olwo waddewo olulala olw'akakiiko akafuzi aka ACALAN nalwo olujja okumala ennaku ebbiri.
Feb. 21, 2017
Abazadde basabiddwa okuyigiriza abaana ennimi zaabwe enzaaliranwa, bagende okutuuka okutandika okusoma nga bawezezza waakiri ebigambo 500 bye bamanyi mu nnimi zaabwe kubanga bino bye bagenda okweyambisa mu kuyiga. Amagezi gano gaabaweereddwa amyuka kaminsona w'ebyenjigiriza Dr Tonny Lusambu ku mikolo gy'okukuza olunaku lw'ennimi ennansi ku Lwokubiri nga 21 February 2017.
Emikolo gino gyagguddwaawo minisita ow'ebyenjigiriza ebisookerwako, Muky. Rosemary Sseninde n'akubiriza abazadde n'abasomesa okunnyikiza ennimi enzaaliranwa kubanga gwe musingi abaana mwe batandikira okuyiga.
Emikolo gino egyabadde ku National Theatre gyetabiddwaako ne Minisita owa guno na guli Hajji Abdul Nadduli eyategeezezza nti Katonda yatutonda n'ennimi ez'enjawulo kubanga yali akimanyi bulungi nti y'entandikwa y'okumanya, era n'ategeeza nti omwana bw'ayiga olulimi lwe oluzaaliranwa kimuyamba okutegeera obulungi ebintu ebirala bingi mu nsi.
Emikolo gyaggaddwaawo Minisita avunaanyizibwa ku byobuwangwa mu Minisitule y'Ekikula ky'abantu, abakozi n'okutumbula embeera z'abantu, Mukyala Peace Mutuuzo naye n'anyweza obukulu bw'ennimi ennansi era n'akuutira abasomesa obutabonereza baana olw'okwogera ennimi zaabwe. Emikolo gyabadde gitambulira ku mulamwa ogugamba nti: Okutumbula okukozesa ennimi enzaaliranwa mu byenjigiriza olw'enkulaakulana y'eggwanga". (Laba ebirala ku muko gw'emikolo gyaffe).
Margaret
20.07.2020 08:08
London
Wasike Azizi
25.08.2019 15:38
Bannange mbeebaza omulimu gwemukola ogwaamanyi. Im doing my master of computer science research and have found this website very resourceful. Keep up the good work.
Nzogi
09.02.2016 08:58
Nsagaire zena okweyunga oku mukutu gunu. Enu ngibona ng'entandiika. Egibwizaku, twayaba nga tugabana ebikiraku ebinayezyanga okusaka aanu n'aadi, okugezya, ekideero ky'ebibono by'oLugwere, ebifumo...
Margaret Nankinga
09.02.2016 12:45
Nzena Nsagaire.
Thanks Mr. Nzogi Please encourage other Lugwere users to take advantage of the website. If you have a piece you would like to share mail it to me for posting on the Lugwere page
Margaret Nankinga
Osobola okutuwandiikira ku Email@lugandalusogalugwerecommission.com
Tunaasanyuka okukuwuliza.
02.01.2015 15:20