Amakulu g'amannya agatuumibwa abantu


Kasakkya : kano kabeera kasana akaaka mu biseera eby’enkuba. Kaaka kabaaluuka kyokka wayita akaseera katono nga kazikira,  enkuba ng’etandika okutonnya, kye baava bakagerako n’olugero nto “ Kasakkya  n’ataayanike abuuza omusana". 


Kakande ne Nakakande: Baba boogera ku kasuku akali mu muddo oba akajjudde omuddo. Baakagerako n’olugero nti “ Kakande ka nnyoko kakira olubikke olwa mukakitaawo”.


Kigobero: Ekiyiggiro oba ekifo w’oggya ekyokulya nga baakigerako n’olugero nti “Kigobero kikira obugenyi” amakulu nti ggwe wennyini okweyiggira oba okwekolerera n’ofuna ekyokulya, kisinga okugenda ng’okyalakyala bakuwe obugenyi oba kisinga okuweebwa


Kitatta: Liva mu lugero olugamba nti “Ekitatta muyima; tekimumalako nte ze”.


Kyagaba ne Nakyagaba: Waliwo ssebintu eyabeeranga e Bulemeezi eyo nga mugagga muvundu ng’agaba nga bw’ayagadde b’agabidde ne balowooza nti aba abasaagisa naye baagendanga okukizuula ng’abaweereddala olwo ne batandika okumwogerako nti “ Ky’agaba tasaaga : mwana w'e Kasagga”, mwe mwava amannya Kyagaba ne Nakyagaba agatuumibwa Aboobutiko


Kyaligamba:  lya lugero olugamba nti “Ky’aligamba ndikikola".


Kyazze ne Nakyazze : Liva mu lugero olugamba nti “Kyazze tekizzikaayo”.


Ssebadduka: Liva mu lugero olugamba nti “Ssebaddukanya musibe nga naawe oweevuuma”.


Muwambi: Ono ye muntu eyeekwata oba eyeesooka ekintu naddala nga kitundwa. Baamugerako n’olugero nti “Omuwambi si muguzi”. Bwe weekwata ekintu tekitegeeza nti okiguze era bwe wajjawo akisasula tebalema kukimuwa.


Luyindi : liva mu kayindiyindi nga kano kafaananamu ekijanjaalo naye kabeera n’olukagga lugumu olulanda nga bwe luleeta amatabi ne lukwata ekitooke oba omuti. Baalugerako olugero nti “ Luyindi; nnantaliibwa nkagga. Akayindiyindi kizibu okukalya nga kabisi kubanga tekasusika bwe kamala okwengera oba okukala olwo kanguwa okususa.


Nkonge: eno y’enduli esigala mu ttaka nga batemye omuti, ekitundu ekisigalawo ekyekutte mu ttaka y’enkonge. Baakigerako n’olugero nti “Nkonge ya muvule; nnantagwira kyeya kimu”. N’olulala nti “ Kaabulindiridde nga enkonge y’oku kkubo, bw'etekukuba magenda, ekukuba amadda”.

 

Walukagga : luno lutabi lw’empindi olulanda empindi kwe zibala. Baalugerako n’olugero nti “olukagga olunaabala terulanda”. Walukagga era linnya lya muweesa wa Kabaka.


Waggumbulizi: kino kisaanyi, kiba kitono nnyo kyokka nga kiriko obwoya bungi obujjudde amagimbi era olukikwatako ng’amagimbi gakuyingira mu nnyama. Kye baava bakigerako olugero nti “Waggumbulizi  ky'aba nakyo; ky'awa munywanyi we” kubanga ekisaanyi kino bw’okukwatako nga kikuwa amagimbi.


Ssebamala: lino nalyo lya lugero eriggwaayo nti “ Ssebamala kwetta; nti lubaale y'atutta”.


Ssebaana : Liggwaayo nti “Ssebaana bannemye; nti ani alibakugambirako?”

Oba nti  Ssebaana bangi; tekubula alya ŋŋoma”.


Ssebanenya lino linnya lya lugero eriggwaayo nti “ Ssebanenya akyadde : nti y'atuleetedde olumbe”.


Ssebuguzi : Liva mu kugula agula n’atunda bwe bakkaanya ne bawaanyisiganya ssente n’ekyamaguzi obwo bwe buyitibwa obuguzi era baabugerako n’olugero nti “ Ssebuguzi bwe nnume; tebubulako nteera".


Ssebwato : Eryato bwe liba ttono, kayitibwa kaato obungi  bwe buyitibwa obwato nga baabugerako n’olugero nti “Ssebwato bumanywa mugolomozi”.


Ssekkadde: Omukadde ayinza okwogerwako nga ekkadde bw’aba munene oba nga mubi era ekkadde baaligerako n’olugero nti “ Ssekkadde lya munno; nti "ekkadde lya gundi likulukumba".


Ssekamwa: akayita ku kibi ne koogera ekirungi.


Ssekikubo: Ekkubo eritali ddungi nga liringa ekisinde ky’ente. Baaligerako n’olugero nti “Ssekikubo (e)kitutte ente; n'omulunda”.


Ssemyano:  gino giba minwe gya mbidde oba amatooke amato nga baabigerako n’olugero nti “Ssemyano gitaakule : giggweera ku kambe”.

Overview - AMAKULU AGALI MU MANNYA AG'EBIKA

Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page