NAKAYIWA yali muwala mugezi, omulungi, omusanyufu era ayagalwa banne bwe baasomanga mu ssomero lya Kyabakadde Pulayimale.  Kyokka bino byonna byakyuka mu lunaku lumu lwokka lw’atalyerabira obulamu bwe bwonna.
Olunaku olwo lwakya nga endala zonna era nga bulijjo, Nakayiwa yazuukuka tebunnalaba n’anaaba mu maaso n’okusenya olwo n’ayolekera ekiyungu okwoza ebintu n’okussaako caayi ku ssigiri alyoke agende anaabe yeetegekere essomero.

Yali akimanyi nti eby’okwetegeka w’anaabimalira nga ne caayi ayidde amusse mu ffulasika bakadde be mwe banaamusanga nga bazuukuse, n’okuwozaawoza owuwe gw'anywa ng'akutula bukutuzi nga bw’avuunyuula akagaati akeekulungulivu, buno bwe bayita mwanaakaaba, atere ayolekere essomero.
Omusomesa eyakazibwako erya Mukungu olw’okweyisa ekikungu, ng’ayambala ssuuti ye enzirugavu ttibitibi era nga tayisikamu maaso ne ku luno ye yasooka mu kibiina okubasomesa essomo ly’embeera z’abantu lye baakazaako ‘SST’.
Mukungu musajja munyumya, anyumya n’asuula n’enjuba ne ku luno nga tannatandika kubasomesa ku byafaayo by’Abachwezi, yasooka kubanyumiza nga Abamerika bwe baali bazudde abantu aba kiragala abalina amaaso agaakulira waggulu mu kyenyi n’emitwe egifaanana ssejjembe n’obutu obulinga obw’obumyu, ababeera mu bwengula ku mmunyeenye ennene .....

KANAATERA OKUFULUMA!


KAAKANO akatabo k'olugero lw'omwana omuwala eyeesanga ng'agenze mu nsi y'ebimenke era nga yeetooloddwa bimenke. Engeri gy'alwana okubyetakkuluzaako ng'akozesa bwongo si byakulwanyisa kye kirufuula olugero era akatabo ak'enjawulo akajjudde ebyokuyiga. Lugero lwa kutaasa bulamu, kutaasa butonde.

Nakayiwa Mu Nsi Y'ebimenke

Tosubwa!

  • MAAMA YANTUMA EMMINDI


Maama yantuma emmindi ,                                                                                                                                       Taata n'antuma omuliro.                                                                                                                                        Butassa mukka , butassa mwoyo ,

butassa mukka, butassa mwoyo ,

butassa mukka , butassa mwoyo,

Butassa mukka, butassa mwoyo ....



(Bw'oba ozannya akazannyo kano ,  bw'otuuka ku bigambo "butassa mukka...", obyogerera kumu kumu ng'osise omukka ogubase togufulumya , n'oyogera ebigambo ebyo okutuusa lw'owulira nga tokyasobola kumira mukka , olina okugufulumya . Asinga okubyogerera ebbanga eddene nga tannafulumya mukka y'aba awangudde .)


    Ebibuuzo

    Omuzannyo guno gutuyigiriza ki?

    Menya ebintu bisatu bye guyigiriza.

    Munywanyinywanyi kitegeeza ki?

    • AKANYONYI AKO

    Akanyonyi ako kalina munywanyinywanyi  waako.                                                            Akanyonyi ako kalina munywanyinywanyi  waako,

    Aka maama,

    Kalina munywanyinywanyi waako.

    Aka taata,

    Kalina munywanyinywanyi waako.                                                                                              Aka ssenga,

    Kalina munywanyinywanyi waako.

    Aka kojja,

    Kalina munywanyinywanyi waako,

    Akanyonyi  ako kalina munywanyinywanyi waako.



    (Akazannyo kali mu kwogera  bigambo ‘munywanyinywanyi  waako’.Gezaako okubyogera ng'oyanguyiriza nga bw'ogenda oyongeza ku bwangu bw'okozesa onoogenda okumaliriza ng'oluba olubadde lukakanyadde nga luteredde . Munywanyinywanyi he mukwano gwo ennyo.)

    • NABBUBI YAZIMBA



    Nabbubi yazimba ku muti omuwanvu,

    Enkuba yatonnya nabbubi yagwa .

    Tuzze okulamusa Ssaabasajja Kabaka.

    E Mmengo mu Kampala kumpi ne Nakivubo,

    Emmotoka zisimbye  ennyiriri zaazo .

    Musajja Mugoowa simbula ekiziyiza,

    Be vvu , be vvu,

    Nga tweggyawo !



    (Mu guno omuzannyo abantu babiri babiri bayimirira nga bakwatidde emikono gyabwe emabega nga bayisihhanyizza engalo z'emikono gyombi . Owookusatu alinnya mu bibatu bya bombi olwo bombi ne badduka nga bamusitudde nga bwe bayimba . Bwe batuuka ku  "nabbubi yagwa " gwe babadde basitudde n'abuuka n'agwa mangu ne baba nga bakoze olunyiriri nga olw'abasirikale olwo ne batambulira wamu nga bakumba  bwe bayimba nti " tuzze okulamusa..." Bwe batuuka ku" musajja mugoowa " bonna bayimirira lumu mu lunyiriri ate bwe batuuka ku ne tweggyawo olwo buli omu n'afubutuka emisinde ng'afuba okusooka banne ku kaguwa .)


    (Omuzannyo guno guyigiriza bukulu bwa ssaawa n'obutamala budde . Muyimba bwe mukola obugalo bubiri kamu ku buli mukono ( obugalo obuddirira kyala kisajja nga mubuwuuba okulaga essaawa bw'etambula.)


    Ebibuuzo

    'Tiiki to' kitegeeza ki?

    Lwaki essaawa temanyi bantu ba kitalo?

    Omuzannyo gutuyigiriza ki?

    n text.


    Ebibuuzo

    Omugoowa y'ani?

    Mmengo kisangibwa wa oksinziira ku muzanyo guno?

    Kabaka asangibwa wa okusinziira ku muzannyo guno?

    Omugoowa akola nga ani?

    • TIIKI TO


    Tiiki to tiiki to,

    Abakyala n'abaami,

    Tiiki to tiiki to,

    Kambabuulire essaawa,

    Tiiki to tiiki to,

    Essaawa ya kitalo,

    Tiiki too tiiki too

    Terinda n'omu !

    Tiiki to tiiki to,

    Ne bw'oba wa kitiibwa,

    Tiiki to tiiki to,

    Teyinza kukulinda,

    Tiiki to tiiki to,

    Etambula butambuzi,

    Tiiki too tiiki too,

    Ne yeegendera !


    • TUKUBA EMISINDE


    Wanu tu , wanu tu,

    Tukuba emisinde,

    Wanu tu , wanu tu,

    Nga abasirikale .

    Ffe tuli baana bato,

    Ffe tuli baana bato,

    Twajja kuyiga,

    Twajja kuyiga ,

    Amagezi amangi ennyo,

    Amagezi amangi ennyo,

    Ag'essanyu,

    Ag'essanyu.

    (Guno omuzannyo gwa kukumba nga bw'olaba abasirikale bwe bakumba kyokka nga mukumbira mu kifo kimu mu lusirikale kye bayita "okucapa omugu" nga mukozesa amaanyi okukuba ebigere wansi kkono ,ddyo , kkono , ddyo .)



    Ebibuuzo

    Wandiika 'wanu, tu' mu Lungereza

    Abaana bakola ki mu muzannyo guno

    Wa gye baagenda okuyiga?

    Lwaki amagezi bagayita ag'ezzanyu?

    (5) EKIKIRA EKY'ENDIGA



    Ekikira kino, eky'endiga.                                                                                                   Kirimbuza we ntuula .Ntuule wano , nga bangoba,

    Ntuule wali , nga bangoba,

    Enduulu waalaalaala,

    Amasavu cca cca cca cca .



    (Kazannyo kalungi kubanga kazannyisa kiwato ne kayamba ne ku mugongo . Bw'ogamba nti 'ekikira kino'  ng'osindika ekiwato ng'okizza ku kkono , bw'odda ku  'eky'endiga'  ng'osindika ekiwato ng'okizza ku ddyo nga bwotyo bw'ogenda okola ku buli lunyiriri . bw'otuuka ku 'waalaalaala' ng'ekiwato  okinyeenya mangu  ng'ozza ku kkono ne ku ddyo nga enduulu bw'egenda ate bw'otuuka ku 'cca cca cca cca' ate olwo  ng'okinyeenya nnyo nnyo ng'ozza ku kkono ne ddyo  mu bwangu n'okusinga bwe wakoze ku waalaalaala ng'okirako azina Muwogola . Kyokka ng'onyeenya ekiwato weewale okunyeenya ekifuba , onyeenye kiwato kyokka . Kikole emirundi egiwerako ojja kuwulira ng'ekiwato n'omugongo bizze mu nteeko.)

    Ebibuuzo

    Ani ayogera mu muzannyo ogwo waggulu?

    Lwaki bamugobaganya?

    Bw'agamba nti 'amasavu cca cca cca' olowooza abeera ategeeza ki?


    Ebibuuzo

    (1) Enderendete kitegeeza ki?


    (2) Lwaki olowooza nti guno omuzannyo mulungi okuzannyibwa abaana?

    • EKIBUTO

    Ekibuto kino bwe kiryatika,

    Kirivaamu enderendete.

    Ekibuto kino bwe kiryatika,

    Kirivaamu enderendete .


    (Kazannyo ka kunyonyoogera muntu ng'ogenderera okumusesa era kaseera ka maama okuzannyako n'omwana we .  Omunyonyoogera mu lubuto mu mbiriizi n'awalala okutuusa lw'afuna ennyonyoogeze n'aseka nga bw'akyusa omubiri eno n'eri .abadde yeekapye n'atoowolokoka , anti batugamba nti okuseka ddagala . Kyokka bw'aba mwana muto mupimire kubanga oluusi bw'aseka ennyo ate kimukola bubi .)




    EMIZANNYO GY'ABAANA EGIBAYIGIRIZA NGA BWE BASEKA

    Latest comments

    29.11 | 05:08

    Nzjaako akatinko in English

    30.10 | 17:22

    Thanks for the updates.

    19.10 | 20:16

    Bamuyita batya

    Kyayi mu luganda

    19.10 | 20:14

    Mu Buganda kuva dda ng'abantu bayiiya emizannyo gy'abaana egituukira ku myaka gyabwe egibawa essanyu n'okukuuma emibiri gyabwe kyokka nga bwe gibayigiriza n'olulimi Oluganda. Emizannyo gino gyazannyibwanga abaana ab'emyaka egy'enjawulo kyokka nga bwe gibayigiriza empisa, obuntubulamu, obuyonjo, obukozi n'ebirala ntoko, ng'abaana babiyiga mu ngeri ya kuzannya na kusanyuka. Tunuulira emizannyo gino wammanga olabe abaana kye bagiyigamu.


    • BALIJJA

    Kye nkunkuna                      Balijja,

    Nga ekiriga,                           Balijja,

    Ekiriga ekito,                        Balijja,

    Kyeyoleza,                             Balijja,

    Kyeyalira,                               Balijja,

    Kyefumbira,                          Balijja .


    Ssebo Kabaka,                      Balijja,

    Omukazi gwe wampa,      Balijja ,                                                                                                                Tanfumbira,   a,

    Afumba ewunye,                  Balijja,

    Afumba ekonye,                    Balijja,

    Nneewaatira,                          Balijja,

    Nneefumbira,                         Balijja,

    Mpaayo omulala,                 Balijja.



    (Omu ku baana aatuula ku ntebe nga y'azannya ekya "Kabaka", olwo abalala ne batuula wansi. okukola olugo olwo ne mufuna omu ku mmwe n'akwata omuggo ne yeeweeta nga omukadde n'agenda ng'ayimba nga bwe  yeetooloola nga mmwe muddamu "Balijja" nga bwe mukuba mu ngalo . Bw'atuuka awali Kabaka  n'amusindira olwo  n'amusaba omukazi olwo Kabaka n'asonga ku omu ku bawala abali mu lugo  oyo  n'asituka n'agoberera ayimba nga bw'amukongoola , bwe mutyo okutuusa abawala bonna bwe baggwaawo . Okumukongoola kiraga nti alimba anoonya byekwaso kusabirako Kabaka mukazi mulala.


    • SSAABAKAAKI

    Ssaabakaaki Ssaabakaaki ebbuto lye ddene,    

    Ssaabakaaki Ssaabakaaki n'amala azina!

    Ssaabakaaki Ssaabakaaki eriiso lye limu,

    Ssaabakaaki Ssaabakaaki n’amala alaba,

    Ssaabakaaki Ssaabakaaki okugulu kumu,

    Ssaabakaaki Ssaabakaaki n'amala adduka!



       (Wankaaki gwe mulyango omunene oguyingira

    mu Lubiri lwa Kabaka . Ssaabakaaki ye mumbowa

    omukulu agukuuma . Obulema  si buteesobola , 

    ono yalina eriiso limu naye nga tomuyitako nga

    takulabye , yalina okugulu kumu naye ng'ayinza

    n'okukugoba , abaana kye baavanga bazannya

    akazannyo kano nga bamwewuunya n'okukungiriza .

    Ebbuto lye ddene nga bagezza olubuto nga bwe bazina ,

    eriiso erimu nga bazibirizaako erimu ne balabisa erimu,

    okugulu  nga bayimiriza kumu ne bagezaako n'okuddukira

    ku kugulu okwo okumu.)


    Ekibuuzo

    Bitundu ki eby'omubiri omuzannyo guno bye

    guyamba okukuuma nga biramu?



          Ebibuuzo


    Olowooza Mawuleeteeni y'ani?


    Laga obukulu bw'akambe n'ettooke mu maka?


    Okuggyako okutendeka omukono obwangu, kitundu ki ekirala eky'omubiri ekiganyulwa mu muzannyo guno?


    Kiganyulwa kitya?


     

                Ebibuuzo

    (1) Omuzannyo guno guyigiriza mirimu ki?

    (2) Guyigiriza mpisa ki?

    (3) Omuzannyo guno gukuyigiriza ki mu kubala?

    (4) Guyamba gutya okukuuma emibiri gy'abaana nga miramu?

    (5) Bigambo ki ebipya gy'oli ebiri mu muzannyo guno?

    (6) Olowooza bigambo ki Kabaka kw'asinziira okwongera omusajja ono abakazi? S


    • KINNAMUNIIGIINI


    Kinnamuniigiini Mawuleeteeni ggwe waleeta wano akambe,                                                                  N'ettooke !

    Kinnamuniigiini Mawuleeteeni ggwe waleeta  wano akambe,                                                                N'ettooke !

    Kinnamuniigiini Mawuleeteeni ggwe waleeta wano akambe                                                                   N'ettooke!



    (Mutuula nga mukoze olugo (enkulungo) nga buli omu alina ejjinja . Mwenna mutandika lumu okuyimba nga bwe mutambuza amayinja  nga ly'olina  olissa ewa munno , akuddiridde naye erirye alina okulissa ew'amuddiridde era buli lwe mutuuka ku " n'ettooke "  mwongera okwanguyiriza nga muyimba era ku bwangu obwo kwe muyimbira , kwe mutambuliza amayinja olwo atalina bwangu mu mukono amayinja gajja kwetuuma ewuwe , oyo ng'awanduka bwe mutyo okutuusa lwe musigala babiri ne muvuganya okulaba awangula . Kano kazannyo akayamba emikono okuzannya n'okufuna obwangu n'amaanyi .)