Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page

ACALAN: YAMBA OKUZIYIZA SSENNYIGA OMUKAMBWE- COVID-19

KOLA BINO OKUZIYIZA SSENNYIGA OMUKAMBWE

EBIGAMBO EBIKOZESEBWA KU SSENNYIGA OMUKAMBWE BIVVUUNUDDWA

COVID-19 TERMS TRANSLATED

EBITONTOME KU SSENNYIGA OMUKAMBWE (Poems about COVID-19)

(1) OMULABE  ATUZINZE

Omulabe atuzinze,

Ate si waakusaaaga,

Era si waakunaanya,

Ye Kkolona nnamutta,

Ssennyiga omukambwe,

Era ddala nnamutta.

 

Okumanya omutyanga,

Alwana na mawuggwe,

Gonna n'agazinga,

Era n'aganyweza ,

Omukka n’oguwamma,

Obulamu n'obufiirwa .

 

Naawe vva mu  lusaago,

Ggyayo engabo eyo mwattu,

Omulabe omulumbe,

Omukube ssabbuuni ,

Ogatteko amazzi,

Wamma bubeefuke

 

Olutalo luno nno,

Terwetaaga kibundu,

Lulwane na ssabbuuni,

Ogatteko amazzi,

Engalo ozinaabe,

Kkolona omuwambe .

 

Naaba mu ngalo nno,

Onaabe mu ngalo ezo,

Ddamu nate ozinaabe,

Butikitiki abiri obwo,

Ng'onaaba mu ngalo  ezo,

Olutalo olulwanye .

 

Ate tokoma awo,

Engabo yo mutaasa,

Eri gye watuuma,

Tonkwatako gireete,

Omulabe omukange,

Era ddala omufunze.

 

Ennyindo togikwata ,

Amaaso togakwata,

Omumwa togukwata,

Ne mu ngalo tokwata,

Y'engabo lukuula,

Ng'omulabe omuwambye .

 

Tofuluma waka wo,

Okuggyako nga weekapise,

Ennyindo zisibe ezo,

N'emimwa nagyo omwo,

Tambula na bwomu ggwe,

Weewale ebiduula .      

Omulabe ng'akulumbye,

Sooka weesege ggwe,

Mu nju yo weebake omwo,

Basawo babaleete,

Ge magye amapange,

Gakutaase ogulwadde .

 

Namwe bakugu mmwe,

Mwebale okulwana,

Mufungize na maanyi,

Ebirezi mubireete,

Ddagala mulinoonye,

Omulabe mumuwambe .

 

Temulinda na Bazungu,

Mufungize bataata,

Namwe nno bamaama,

Mwakuguka mbatenda,

Mukozese obutonde,

Ddagala mulireete.

 

 

(2) GUNO MWENKANO NNABAKI

Baatulimba baatukisa,

Nti Kkolona k'atuuse,

Ssennyiga mukaabyansi,

Omugagga n'omwavu,

Bonna kati bafuuse omu ,

Era ddala bakaaba bumu,

Naye sooka weebuuze,

Guno mwenkano nnabaki !

Omugagga lw'atudde,

Akuyita kuwummulamu,

Yeeriire ku z'enkalira,

N'abaana bamwote buto,

Nga bwe basikaasika ebikoko,

N'okwenywera ku nvuguto,

Bawuge mu kidiba emmanju,

Ddala mwenkano nnabaki !

Omusaala baagusaze,

Nti ffenna tukaabe bumu,

Nti era tusinde bumu,

Mu mwenkano guno oguzze,

Ogwa Kkolona  gw'aleese,

Ssennyiga omukambwe ennyo,

Naye sooka weebuuze,

Guno mwenkano nnabaki!

Omusaala gwa binojjo oli,

Baasaze ku z'atereka,

Nti zaale zizaale nnyo,

Naye baabuwe omwavu,

Baasaze ku z'akamere,

Ku buffiizi bw'abaana,

Ez'obulwadde  lw'alwadde,

Ddala mwenkano nnabaki !

Ayi jjajja w'abaliwo,

Agabaagaba ebigagu,

Ebigoba Kkolona twabiyize,

Okunaaba twakuyize,

N'emimwa tunaagisiba,

N'ennyindo tunaazisiba,

Tonsemberera twamuyize,

Kye tusaba kutuddiramu.

Tukkirize tutambulemu,

Tuddemu tufeffette,

Tunoonye akasente ka leero,

Tuguleyo ku keewamala,

Era wamu n'obuweke,

Tutaase abato abakoozimba,

Kuba omwenkano oguzze,

Ddala mwenkano nnabaki !

©  Margaret Nankinga

(3) TUYIIYE BUTO

Mujje tubebbere,

Tuddemu tuyiiye buto,

Mujje tusambule,

Tuddemu tulwane buto .

 

Byonna bye twasiga,

Kkolona abitutte lumu,

Mujje tufungize,

Tuddemu tuteese buto .

 

Kalimu ko kali,

Kaddemu okapange buto,

Teekamu ebipya,

Kaddemu katinte buto .

 

Byamaguzi  bipya,

Ensabika ebeere mpya,

Okulatta kuleke,

Abaguzi obalumbe waka .

 

Ensibambi kimanye,

Nti nayo edibya mutere,

Yonja ky'olina,

Abantu kati beenyinyaze .

 

Tandika bupya,

Lumba ekigenderawo,

Mmere ,  byakunywa,

Obuyonjo bw'osooka .

 

Obwesigwa kikulu,

Be baguzi bo ab'enkya,

Obanyaga lumu,

Bonna ne bakuddukako .

 

Ensi kati k'ekyuse,

Byonna by'okola,

Tekinoloje abeemu,

Ge  magezi ag'ekikugu .

 

Lutalo lwennyini,

Kuzzaawo bye tufiiriddwa,

Buli ky'okola saba,

Omukama akukwatireko .

©  Margaret Nankinga

(4) ANI AFUGA ABANTU

Ensi ekyuse,

Ddala nnawolovu alwawo,

Ensi ekalubye.

Etufudde ba bigere .

Ensi ekyuse,

Omunafu lubojje jjo ,

Ensi ekalubye.

Kati ye mugezi wa leero.

Ensi ekyuse.

Akolera awaka we wano ,

Ensi ekalubye,

Kati ye muyiiya wa leero .

Ensi ekyuse,

Ku bikukujju kw'ekolera,

Ensi ekalubye,

Amagezi eyagala maggya .

Ensi ekyuse,

Oyo omuzadde y'asomesa,

Ensi ekalubye,

Ssomero lizze mu ddiiro.

Ensi ekyuse,

Kati akasimu y'ensi yo,

Ensi ekalubye,

Buli kimu kwe kiggweera.

Ensi ekyuse,

Tuddemu tuyiiye buto,

Ensi ekalubye,

Tekinoloje awambye .                                    

Ensi ekyuse,

Emirimu tupange buto ,

Ensi ekalubye,

Tekinoloje omugassemu ?

Ensi ekyuse,

Wooteri eri ku ssimu yo,

Ensi ekalubye,

N'akatale ku ssimu yo .

Ensi ekyuse,

Ofiisi eri ku ssimu yo,

Ensi ekalubye,

Nkiiko zituuze ku ssimu yo.

Ensi ekyuse,

Ssomero lizze ku ssimu yo,

Ensi ekalubye,

Omusomesa ku ssimu yo .

Ensi ekyuse,

N'eddwaaliro nti ku ssimu yo?

Ensi ekalubye,

Eddagala nti ku ssimu yo .

Ensi ekyuse,

Obwongo babufunzizza,

Ensi ekalubye,

Ku kasimu akatinniinya.

Ensi ekyuse,

Obwongo bwe bufunda butyo,

Ensi ekalubye,

Ani alowooleza abantu!

Ensi ekyuse,

Bufuzi  buli ku ssimu yo,

Ensi ekalubye,

Olwo ani afuga abantu ?

(5) MUKAMA SAASIRA

Mukama twasobya ,  era twakunyiiza nnyo,

Bikemo byatulya , era ggwe ne tukwerabira,

Naye nno twawubwa , tusaba otuddiremu .

Tuyambe twawubwa , omusango gutusinze nnyo ,

Masanyu gaatulya , eddiini ne tugyerabira,

Yeekalu zaawubwa , zaafuuka za kunoonya nsi .

Naye nno saasira totuleka kubungeeta,

Tutaase baabuwe  , gye tuli tuzaayirayo,

Kaakano twemenye , ddala ddala tugonze nnyo.

Endwadde zaatulya , enswanyu zituyinze nnyo,

Kkolona atuzinze ,  kibonerezo kikambwe nnyo,

Lugaba saasira , tusaba otuddiremu.

Ku Siriimu twaguma , ebbinu ne tulyongerayo,

Naye Kkolona haa , Mukama onyiize nnyo!

Sonyiwa twasobya , tugonze tutidde nnyo .

 

Kitiibwa kikuddire , Lugaba Mubambansi,

Tubadde twabula , ekkubo tulizudde buto,

Tuzze twavula , Kkolona atuyinze nnyo.

 

Tunoonye Mukama , tumusabe atuddiremu,

Kubanga wa buyinza ataleka ndiga ezibuze,

Atusonyiwe atutaase , ku Kkolona atususseeko .

©  Margaret Nankinga

(6) BW'OSSA BW'ANEGULA .

Empewo ya buwa,

Naye nno tugifudde butwa,

Kkolona n'agifuula maka,

Ssennyiga omukambwe ennyo,

 Bw'ossa bw'anegula.

Ennyanja ya buwa,

Nayo nno twagifunzizza,

Nnalubaale n'awaguza,

N'alumba n'atutwala bubi,

Bw'ossa bw'anegula.

 

Emigga gya buwa,

Twajooze ne gikambuwala,

Nyamwamba mutwala bafu,

N'abalamu abatwaliramu,

Bw'ossa bw'anegula.

 

Bisolo bya buwa,

Nabyo nno twabitambadde,

Ne tubiggyako Kkolona,

Ssennyinga omukambwe ennyo,

Bw'ossa bw'anegula.

 

Butonde bwa buwa,

Bwonna nno tubutaagudde,

Eyabutuwa ataamye,

Omukka tubaka mubake,

Bw'ossa bw'anegula.

©  Margaret Nankinga

(7) OMULABE ATALABIKAKO

Atambula amaga gy'oli anoonya ssente,

Atambula asotya gy'oli anoonya mmaali,

Bw'alengera ayita entiisa n'emuyiikira,

N'anoonya w'ayita yeetaase olunnabe,

Kuno kwe kutya okufuga obubi.

Omutambuze ayita oyo oluyasimula,

Ono n'ajjula ensisi ppuleesa ne zikuba,

Omulabe amutidde nnyo ku luno waakufa,

Basawo mwanguwe mujje mumponye okufa,

Kuno kwe kutya okufuga obubi.

 

Kiyegu gwe kyakutte ku muliraano gwe,

Oluggyayo akatambaala ono adduka buto,

Amala gapaala atyo yeewale okufa,

Omuzigo agusengukamu atere yeesege,

Kuno kwe kutya okufuga obubi.

 

Kaawonawo eyasiibuddwa bw'amulabako,

Akirako alabye omusota olwo ne yeesega,

Entuuyo ffukuffuku amameeme ne gakuba,

Entege ne zimwegaana ne yeekuba eddimwa,

Kuno kwe kutya okufuga obubi.

 

Omulabe gw'ayigga tamulabako,

Buli muntu gw'alabako ye mulabe we,

Olwo n'amaga wano n'amaga wali,

N'adduka wano n'adduka wali,

Kuno kwe kutya okufuga obubi.

 

Abasawo abazira abatujjanjaba,

Kkolona asize endwadde etuteganya,

Kuno kwe kutya omulabe atalabika,

N'enju tetuufulume nga mmugguddewo,

Mujjanjabe okutya tubeere balamu .

©  Margaret Nankinga

(8) OMULEMBE MUGGALIRE

Abafuzi ab'enkya kaakano bawambe,

Omulembe ogw'enkya guuguno ate muggalire,

Babatadde mu kkomera teri byakusaaga,

Bandibasiba amayisa bwe batataasibwa abo,

Abafuzi baleero babawambye babazinzeeko.

Okuyiga kwabwe mu ssomero kaakano kuwambe,

Akwana akira ayomba oyo naye akomye awo,

Babagulidde endwadde mpya obulamu kkoyi,

Abaana bali mu nkomyo , ekkomera lyennyini,

Omulembe ogw'enkya abaleero bagututte.

 

Abafuzi ab'enkya emibiri miwambe,

Endya embi n'endwadde bibawambye bassebo,

N'obutonde bw'abenkya babututte bannyabo,

Obuggagga bw'abenkya bugenze baabuwe,

Babusinze mu baamaanyi emyaka lukumi.

 

 Guno omulembe gwa ndwadde obulamu teri,

Bagufudde na ttyeetye ogudduka empewo,

Bagufudde gwa nsonyi nnyo guno ogwekweka okkola,

Gufuuse na mutiitiizi ogulwana n'empewo,

Mulembe gwa nsonyi nnyo guno ogudduka entalo.

 

Guno omulembe omuggalire ddala munaku,

Ebyagwo byonna byatundwa emyaka bikumi,

Guno omulembe muggalire ogw'enkya bassebo,

Baguwambye lwaleero ne gutundwa bannayabo,

Abaana b'ensi baggalire ani abanunula!

©  Margaret Nankinga

(9) ENSI MPEWO

Ensi nnamuziga , ky'ossaamu ky'ekuwa,

Eringa nnamuziga , yeebonga bw'eddawo,

Bw'oyagala ogirye , nga nayo ekulya,

Bw'olwana ogifuge , weekanga ekufuze .

Omukka gw'ogiwa nayo gw'ekuddiza,

Obutwa obwo bw'ogiwa , nayo bw'ekuddiza,

Endwadde z'ogiwa  , nayo z'ekuwa,

Ensi nnamuziga , ky’ossaamu ky'ekuwa .

 

Obugagga y'empewo gye yatuwa obuwa,

Twagiddiza butwa nayo n'etuddiza,

Obulamu mpewo , gye yatuwa obuwa,

Twagiddiza kufa , nayo n'etuddiza .

 

Obutonde yatuwa , tubeere balamu,

Twagiddiza bbule  , nayo n'etuddiza,

Obuyinza yatuwa , tugirya etulya,

Ensi nnamuziga , ky'ossaamu ky'ekuwa .

 

Ensi eno mpewo , agifuga y'aliko,

Obugagga y'empewo , agifuga nnigi,

Ensi okugifuga , osooka kwefuga,

Bw'olulunkana , eyasama ekulya !

©  Margaret Nankinga

(10) ENNUME BBIRI, EKISIBO KIMU

Ekifaananyi kisake

Ekifaananyi kisake

Olutalo lukoya,

Enjovu bbiri ,

We zirwanira,

Omuddo gukala,

Ettale likala.

 

Ani aluwangula,

Oyo eyawakula,

Oba eyasiigibwa?

Ennume bbiri,

Ekisibo kimu. 

 

Zirwanira ddene,

Zirwanira ffuga,

Zirwanira ttale,

Afirika ttale,

Ekisibo kimu.

 

Ettale likala,

Omuddo gukala,

Eyawakula,

N'eyasiigibwa,

Basaawa kye kimu.

 

Ng'ettale likala,

Ani mulokozi?

Ng'eyawakula ,

N'eyasiigibwa,

Basaawa kye kimu!

 

Afirika etala,

Ngwe ogw'ennyama?

Ate enswa ziri?

Ennume bbiri,

Ekisibo kimu.

 

Oba Bamerika,

Oba Bacayina,

Eyawakula,

N'eyasiigibwa,

Basaawa kye kimu.

©  Margaret Nankinga

(11) OBUTONDE BWANYIIZE

Bajjajjaffe abaalugera baabiraba ,

Bw'ogoba musajja munno kendeeza,

Olekemu ezinaakuzza weetaase .

Kayemba nnantabuulirirwa tetwafaayo,

Ne tudda ku butonde obwo ne twonoona,

Bibira , ntobazzi ne tusaanyaawo .

Ensolo mutaliibwa ne tubwebwena,

Ensaalu n'entobazzi ne tusaasaanya,

Olwo ebitonde byamu ne bisaasaana .

Bwe birabye tulumbye ne bikyusaamu,

Ne bidda mu maka eyo ggwe gy'obeera,

Kati okekema bukoko okaaba nnyo !

Bizimbye n'amayumba mu mawuggwe go,

Ye ssennyiga omukambwe ennyo gw'okaaba,

Obutonde bwanyiize butusaanyeewo .

Butwogeza bikankana nno mwanna ggwe,

Nti ssennyiga omukambwe eno gy'asibuka,

Mu buwundo obwo bw'otigiinya ennyo?

Oba lugave jjajja lwe yakuuma ennyo,

Nti abaana temulya era temukwatako,

Lwe bakijjanya mbu balubwebwene?

Be bakasomba ba Kkolona akaabya  ensi,

Mu katale k'ebisolo e Wuhan eri,

Obutonde bwanyiize genderera !

Ebibira tubizzeewo bye twasaawa,

N’ensolo tuzizzeeyo ze twawamba,

Ezo ze twassa mu butale tweriire .

Lugave jjajja w'abaana tumwesonyiwe,

Mansonyisonyi atalina gw'atambaala,

Ono tomulya era tomukwatako .

Obutonde bwanyiize weegendereze,

Musajja munno gw'olumba mwetaase,

Lekamu ezinaakuzza bwe yeesooza .

Simba bibira bubira omwetaase,

Etteeka Musa kw'akolera olyetange,

Atta munne gwe batta weegendereze !

©  Margaret Nankinga

(12) EBIROWOOZO BYE BIGERE

Ssebo nnyini kkalantiini kankuloopere,

Bwe wassaawo kkalantiini otaase obulamu,

Yakwata bigere , birowoozo ne bigyewogoma,

Kati bye bitaayaaya , ebigere bitudde wamu .

Byangu okukira , n'ebigere tobizannyisa,

Ne biva kuno okwaffe , wuuyo Kasensero,

Ate era ne bitambulamu wuuyo Mulago,

Okulaba bakaawonawo , abawonye ekirwadde !

 

Okumanya bitaayaaya , byaguze ennyonyi nno,

Gye bibonga mu bbanga awatali abigamba,

Bitumbiira ne biseeyeeya biibyo wa Trump,

Okulaba abayaayaana ne be lukanudde.

 

Ebirowoozo kazaalabulwa nze kale mbitidde,

N'ewa Paapa byatuuse okulaba ebikuuno,

Ebyaggaza ne yeekaalu Omukama atubeere,

Nnamugereka Lugaba eyatonda Mwene !

 

Ebirowoozo kyewaggula ddala , atamanyi kkalantiini,

E China birambulayo, birabe ebikuuno,

Byavuddeyo bitidde nnyo , tebirwa kulwala,

Ssennyiga mukaabyansi , atamanyi binojjo !

 

Ebiroowoozo kazaalabulwa nze kale mbitidde,

Kye nva nkusaba obiggalire awatali kunaanya,

Biteekeko kkalantiini eri maama yaake,

Kubanga bwe binaalwala ani avumula !

©  Margaret Nankinga

(13) EMBOOZI Y'ABAAGALANA

Ebyembi bisekerwa nange kankulojjere,

Kkolona ky'akoze abaagalana tekirabwa,

Omukwano gwakalubye anti wuliriza,

Ssennyiga omukambwe ono bw'abasattiza .

 

Jane mukulike Kkolona oyo kattira,

Oli wa mulembe nnyo Kkolona akutya,

Omutima oguwangudde kaakati gugwo,

Ggwe sanitayiza wange gukuume tegufa .

 

N'omuwala n'alojja wamma ne lukoya,

Nange mwattu bw'owulira n'eno bwe kiri,

Bwe mbeera w'oli awo mbeera seefu,

Ggwe sanitayiza wange ankuuma seefu .

 

Ate abawala baatizze ne bayitawo,

Amateeka ga jjajja ge bakukubisa,

Nti tusooke wa dokita tubeere seefu,

Kkalantiini gyongereyo katulindeko .

 

Ate kiri ki John tokitya namu,

Ekyo COVID yennyini nange nkitya,

Bwe nkiraba nkigambirawo tonsemberera,

Weeyongereyo ate sanitayizi .

 

Olwo Joseph n'asinda n'abityebeka,

Nange kali  ka Jane nakasalayo,

Nakassa mu kkalantiini tekaliva namu,

Oyo Kkolona yennyini era namudduka .

 

 Ggwe sanitayiza wange gwe ntambula naye,

Weewale omuyoolerero tubeere seefu,

Baddereeva ba loole tebakukwatako,

Jjangu mwattu tweggalire tubeere seefu .

 ©  Margaret Nankinga

Comments

Kari Parker

25.08.2020 19:43

Games

Maegan Kuhn

11.08.2020 15:13

Implementation

Jessy Luettgen

30.07.2020 09:49

web services

Berta Nolan

22.07.2020 07:05

attitude-oriented

Mr. Erich Berge

21.07.2020 01:57

Proactive

Yvette Bednar

19.07.2020 21:20

Buckinghamshire