OKUTUMBULA ENNIMI ENNANSI OLW'ENKULAAKULANA YA AFRIKA
LWAKI ABAKAZI TEBAALYANGA MMAMBA
EMMAMBA gumu ku miziro gy'Abaganda.
Nazzikuno ng'omukazi Omuganda talya mmamba .
Abaatusookawo baatunuuliramga ensonga ne bazeetegereza era baasalanga amagezi okuzirondoola n'okuzekkaanya ne bazisalira amagezi okuziyiza ebibi bye baabanga bamaze okwekengera nga byaliyinzizza okuva ku nsonga eyo.
Emmamba kimu ku bika by'ebyennyanja. Eriibwa era ewoomera abagirya . Abaana abato ebakuza bulungi , abasajja bo egumiza ddala ekinywa kyabwe ne batagooka.
Ekyennyanja ekyo kiriibwa abaana abato oba bawala oba balenzi .
Naye abaana abawala bwe bamala okukaziwala , tebaddayo kukirya !
Emmamba eriko amabeere nga omukazi, ate abagimanyi ennyo bagamba nti, egenda mu nsonga nga omukazi. (Kino oba kituufu, oba si kituufu, nze naawe.)
Abaatusookawo bwe beekenneenya emmamba baakizuula nti omukazi /omuwala bw'alya emmamba ng'eri mu nsonga zaayo alaalira .
Okulaalira kuyisa bubi nnyo abantu si bakazi bokka n'abasajja kibayisa bubi. Ggwe ate wabaawo ekigenda mu maaso ng'ensonga zilaalizza omukazi?
Awo nno we wasibuka Abaganda okuziza omukazi okulya emmamba.
Omuntu ayinza okuwakana nti ennaku zino abakazi tebava ku midaala gy'abasiika emmamba bagiriira ku nkalaayi!
Kituufu, naye era n'abalemera mu nsonga beeyongedde wadde tewannaba kunoonyereza kukolebwa ku bakazi abalya emmamba n'okulemera mu nsonga.
Abaatusookawo bwe batyo bwe baakitunuulira.
LWAKI OMUKAZI TEBAAMUZIIKANGA GYE YAFUMBIRWA
Nazzikuno nga kya muzizo omukazi okuziikibwa gye yafumbirwa.
Omukazi bwe yafanga nga bamuzzaayo ewaabwe aziikibwe ku kiggya ky'ekika kye .
Bino eby'okubaziika gye baafumbirwa bizze jjo jjuuzi wano wano nga abazungu batusuuzizza ebyaffe!
Waaliwo ensonga enkuukuutivu ezazzissangayo omukazi ku biggya by'ewaabwe.
,nyingi , naye kanjogereko kw'ezo ze nnaasobola , anti ebya Buganda tebiggwa malojja.
Omukazi bwe yabanga nga alina abaana mu basajja ab'enjawulo , kyabanga kizibu okukunngaanya abaana abo ne bagenda ewatali kitaabwe ne bakumirayo olumbe lwa nnyabwe .
Okuziika bwe kuggwa ,wabaawo omuntu alondebwa okuzzaayo abaana ewa kitaabwe , kati omukazi ono alina abaana mu basajja abadukka ku omu baba bakuzzibwayo mu bibu?
Waabangawo omukazi oyo okuba nga y'abaddeko empewo z'ewaabwe , ng'olwo ate zinaasigala eno gye yafumbirwa?
Ye abaffe omukulu w'olumbe aba ensiisira anaagikuba ku buko ?
Abaana nnyaabwe bwe bamala okumuziika ewaabwe bayinza okwerabirira ddala obukojja bwabwe Oluganda olwo ne luba nga lukutuseewo.
Abaana b'abaana ab'obuwala , bakola kinene nnyo okumala ebibamba ku mpya gye bazaala ba nnyaabwe .
Kati bwe wabaawo ekyabaawula nga okuziika omukazi gye yafumbirwa , obulwa bwe bubaawo baba baakunoonyeza wa?
Awo ba jjajjaffe kye kyali kyabalengezesa ewala bakuume obumu obwo.
Baagamba nti kizira okuziika omuntu ku kiggya ekitali kya kika kye.
Ebizira bingi tujja kugenda tubitegeera mpola mpola .

Mubiru Christopher Benon
30.10.2022 17:22
Thanks for the updates.