Emikolo gy'olunaku gyategekeddwa Minisitule y'Ekikula ky'abantu abakozi n'okutumbula embeera z'abantu ng'eno y'evunaanyizibwa ne ku nnimi. Entegeka zonna zaawomeddwaamu omutwe Muky. Ruth Muguta ku lwa Minisitule ng'ayambibwako ebitongole ebisakirira n'okutumbula ennimi ennansi mu Uganda omuli ekya RTI, SIL, Twaweza- Uwezo, ACALAN, n'ebirala. Emikolo gyatandika na kukubaganya birowoozo ku nnimi enzaaliranwa n'abantu mu bitundu eby'enjawulo omuli abaana b'amasomero n'abakulembeze.
Ku lunaku lwennyini ebitongole ebitali bimu byayolesezza bye bikola okutumbula ennimi enzaaliranwa n'oluvannyuma ne wabaawo okukubaganya ebirowoozo.
Akakiiko ka Luganda Lusoga Lugwere ku mukolo guno kaaleese abayizi ba Mafubira Pulayimale okuva e Jinja abaanyumirizza abaabadde ku mukolo emboozi ekwata ku kitundu ky'ewaabwe era emboozi ne bagikyusa mu nnimi ssatu. Akakiiko kaggulawo ekibiina ky'abasomi b'ebitabo mu ssomero lino mu mwaka 2015 era ekigendererwa ky'akakiiko okubaleeta ku mukolo kwongera kwagazisa bayizi n'abasomesa ennimi zaabwe n'okubannyikiza mu kusoma ebiwandiike mu nnimi zino. Ab'e Mafubira okujja ku mukolo baakulembeddwa omulambuzi w’amasomero avunaanyizibwa ku kitundu ky’e Butembe mu disitulikiti ya Jinja mukyala Lydia Namuwaya.
Aug. 29, 2015
Nga gwe mulundi ogusookedde ddala, Uganda yakuzizza olunaku lw'ensi yonna olw'ennimi ennansi ng'omukolo guno gwategekeddwa akakiiko ka Luganda Lusoga Lugwere Vehicular Crossborder Language Commission.
Omukolo guno ogwajjumbiddwa, gwabaddewo ku Lwomukaaga nga 21 February 2015 mu nnimiro za National Theatre nga gwatandise ku ssaawa musanvu ez'olweggulo.
Omukolo gwabaddeko aboogezi ab'enjawulo okwabadde Dr. Wambi Gulere ng'ayogera ku bukulu bw'ennimi ennansi okugunjula eggwanga eririna empisa, Mw. Charles Muwanga yayogedde ku kifo kya ssaayansi mu nnimi ennansi so nga Muky. Margaret Nankinga ye yasoose okulambulula ebikwata ku kakiiko ka Luganda Lusoga Lugwere.
Aboogezi nga bamaze, Dr. Prosper Nankindu yamulungudde bye baabadde boogedde n'alaga n'ebyetaagisa okukola omuli okwongera okumanyisa n'okwagazisa abantu olunaku luno olw'ennimi, ennimi za Uganda endala okulabira ku Mw. Muwanga zeeyambise ebigambo bya ssaayansi bye yakyusizza mu lulimi Oluganda nabo okubikyusa mu nnimi za Uganda endala kibayambe okuwandiika obutabo bwa ssaayansi mu nnimi zaabwe n'okutuusa obutabo bwa ssaayansi obuwandiikiddwa mu bantu, naddala abasomesa basobole okubweyambisa okusomesa abaana ssaayansi.
Omugenyi omukulu ow'omukolo guno, yabadde Polofeesa Mercy Mirembe Ntangaare okuva mu Makerere yunivasite, eyasiimye aboogezi olw'okuggyayo obulungi obukulu bw'ennimi ennansi mu kugunjula eggwanga eririna empisa ate n'ekifo kya ssayansi mu nnimi ennansi era n'asaba eggwanga lyongere okulambika empisa ze tuyinza okugamba nti zino eggwanga ze litwala nga enkulu ezikulembera.
Omukolo gwabaddeko n'okwolesa ebitabo ebiwandiikiddwa mu nnimi ennansi ng'aba USAID ne RTI okwolesa kuno baakujjumbidde nnyo bwe baalaze ebitabo ebiyigiriza abaana abato okusoma bye bawandiise mu nnimi za Uganda 14. Ekitongole ekirala ekya SIL nakyo kyayolesezza ebitabo byakyo ate ne Mw. Charles Muwanga n'ayolesa ebitabo bya ssaayansi by'awandiise mu Luganda omuli n'ebyo ebikyusa ebigambo bya ssaayansi mu Luganda. Kino kyasanyusizza nnyo abeetabye ku mukolo guno kubanga kyabadde kiyungulula ebizze byogerwa nti ennimi za Afrika tezirina bigambo bisobola kukozesebwa kusomesa ssaayansi.
Essomero lya St. Anne Grace e Nakifuma lye lyasanyusizza abagenyi nga mu nnyimba ze baayimbye mwabaddemu n'ezikubiriza abantu okwagala n'okukuuma ennimi zaabwe kubanga kyabugagga kyabwe. (Ebifaananyi byonna bya Ruth Nakanwagi ne Mutale Ttendo)
(LABA OKWOGERA KW'ABOOGEZI B'OLUNAKU MU BUJJUVU)