EBIGAMBO BY'OBUJJANJABI MU LUGANDA / LUGANDA MEDICAL AND ARTISANS' TERMINOLOGIES

Kiikino kifulumye

Abaganda biki bye baabalanga?

ABAGANDA AB'EDDA OKUBALA BATUUKE NE KU KATABALIKA (TRILLION) OLOWOOZA BAALI BABALA KI?

OMUGANDA yava dda ng'abala era kyewuunyisa okulaba nga leero bazzukulu ba Kintu bangi tebamanyi kubala, tebaagala kubala era bakutya.

Omuganda bwe yabanga abala ng'ennukuta okuva ku 1 okutuuka ku mwenda ezo aziyita nsusuuba. Okuva awo atuuka ku kkumi (10). Kuno bw'ayongerako 0 endala ekyo kifuuka kikumi (100).

Ku kikumi bw'ayongerako 0 olwo aluyita lukumi (1,000). Ku lukumi bw'ayongerako 0 olwo aweza ky'ayita omutwalo (10,000) Ate wano bw'ayongerako 0 ate ezo aziyita kasiriivu (100,000). Bangi zino baziyita mitwalo 10 naye mu mbala y'Abaganda entuufu kino tekiriiyo. Omuganda bw'aba abala buli lw'ayongerako 0 ng'akyusa erinnya.

Ku kasiriivu bw'ayongerako 0 ezo aziyita kakadde (1,000,000). Akakadde bwe kava mu bukadde kawumba noolwekyo ku kakadde bw'oyongerako 0 ziba kawumbi (10,000,000). Zino abaziyita obukadde ekkumi baba tebabala mu mbala y'Abaganda entuufu.

Bw'ova ku kawumbi olwo Omuganda aba abala kafukunya (100,000,000). Kano ke boogerako akaagula Mukono.

Okuva ku kafukunya odda ku kase (1,000,000,000). Okuva ku kase odda ku keesedde (10,000,000,000) olwo n'olyoka odda ku kakumi (100,000,000,000). Awo oba otuuse ku katabalika (1,000,000,000,000).

Wabula ekitakuza abantu emitwe kye kibuuzo nti Omuganda owedda okubala atuuke ne ku katabalika (trillion) ddala yali abala ki? Waliwo abagamba nti Omuganda yali abala mboozi nti Abaganda baagala nnyo emboozi nti era waabangawo abanyumya abalungi abaagendanga ewa Kabaka okumunyumiza nga bano baatemanga ebiti era buli mboozi omunyumya gye yamalirizanga nti ekyo ekiti kimu, ng'akizza wabbali nti bano be baabalanga ebiti by'emboozi ne batuuka ne ku katabalika!.

Abalala bagamba nti baabanga babala munyago, nti Abaganda baalwana entalo nnyingi era omugabe bwe yakomangawo ng'abala omunyago gwonna alyoke agwanjulire Kabaka nti muno mwe mwali abalwanyi bannamige abaaleetanga akatabalika k'omunyago.

Kyokka abalala bagamba nti baalinga babala mmunyeenye nti kirabika waliwo Kabaka eyawa musajjawe eddimu ery'okubala emmunyeenye nti ono yabala bwe yatuuka ku katabalika (trillion) n'akoma nti Abaganda kye bava bajerega omuntu aba tategeera bigenda mu maaso nti ali mu kubala mmunyeenye.

Ggwe olowooza otya?

ABAGANDA AB'EDDA OKUBALA BATUUKE NE KU KATABALIKA (TRILLION) OLOWOOZA BAALI BABALA KI?

Comments

Israel Kasiriivu

09.09.2020 13:46

Mwebale nnyo naye kati ensonga yokutereza embala eno nga tekyasoboka. Gamba: Akawumbi ye Billion ate Kasse ye Trillion. Ekyo kyetumanyi enaku zino!

Ssaalongo Andrew Kaggwa

05.03.2019 08:45

Mwebale nnyo okunoonyereza. Tusiimye tusimidde ddala naddala Dr. Adam Kimala ku bigambo ebikozesebwa mu by'obujjanjabi.

Nalukenge Sarah

15.02.2019 12:35

tusiimidde dala omulimu gwe mukola anti ndikuma okulya nenkulyolyowa omwoyo. mungu abawe kyemusinga okwagala.

Nalukenge Sarah

15.02.2019 12:31

buttu balaba obutalya ngoma olwo engoma nefuuka kyamumi nga olugero olugamba nti akilila kumwana ani eyalambikaenjogera eno era lwaki

Mayanja Samuel

29.11.2018 07:22

Kino kyamuwendo nyo era mutukoze akalungi akatali katono

Muganga Katosi

06.12.2017 14:05

Mwebale okutusomesa.
Nsaba okukolagana namwe. Ndi ku +256774245505

Margaret

07.12.2017 14:51

Tusiimidde ddala ssebo naawe okuwaayo obudde n'osoma bye tuwandiise. Tujja kukukubira twogere.

Dr. Kimala Adam

13.06.2017 08:29

Mwerabidde Omweso? Nga mulimu okubala okw'ekika ekya waggulu! Omunyago nagwo gwabeerangamu okubala kungi nnyo. Tuve mu kulowooleza mu Lungereza.

Dr. Kimala Adam

13.06.2017 08:22

Maama wange nkwebazizza nnyo kutandika olutalo Ssematalo. Abamu baagala tugende n'emiwendo emikyamu mbu kubanga egyo abantu gye bamanyidde. Kandibadde nti olutegeera nti wabaddewo ensobi, nga ogolola

Margaret Nankinga

15.07.2014 13:31

Nnyabo weebalire ddala obubaka. Kubanga tugenderera kusomesa lulimi nzikiriza nkuwabule ku mpandiika entuufu ey'ebigambo bino by'okozesezza:
Bannaffe olw'omulimu gw'okutusomesa Mu butuufu mmanyi ku bye baali

Mirembe P. Namayanja

10.07.2014 14:18

Bannafe mwebale nnyo olwomulimu gwokutusomesa. Mubutuufu mbadde manyi nti akawumbi ziba 1,000,000,000! Naye sisobola kwogera kubyebaali babala kuba sikirowoozangako.

Ssentanda Medadi

07.07.2014 06:54

yagibalanga era ng'alondoola okulaba omulimu gwe gutambula oboolyawo okufaananako ng'ababazi b'ebitabo be tulina ensangi zino.

Ssentanda Medadi

07.07.2014 06:53

Omuwandiisi,
Nze ndowooza bwe nti: emirimu Abaganda gye baakolanga mwabangamu okubala: okugeza okukomaga, okuweesa, okulunda.... Omukomazi bwe yabanga n'emitanda gye egy'embugo nteebereza nti yagibal

Margaret Nankinga

05.07.2014 15:15

Mw. Weeraga weebale ekirowoozo kyo. Mu butuufu twatandise okutegeka ky'osaba kyokka nga tugenda kutandikira ku ssaayansi w'ebibiina ebisookerwako. Kyokka tozze mu kibuuzo. Olowooza Abaganda baabalanga ki?

John Weeraga

05.07.2014 14:51

Kati nsaba tufube okuzza ebigambo ebya ssaayansi mu Luganda. Waakiri ssaayansi asookerwako, kubanga olwo abaana baffe lwe banaayiga okufuna amagezi agali mu bitabo by'Abazungu. Tutandike mpola, ku ssaayansi w'obulumi n'obulunzi era tuwandiike mpola ebita

Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page