Jul. 31, 2014
BULI Muganda alina erinnya lye baamutuuma ery'ekika naye bw'obuuza erinnya eryo kye litegeeza, batono abasobola okukubuulira amakulu agali mu mannya gaabwe. Katukulage amakulu g'amannya g'ebika agamu naawe ofeeyo okuzuula amakulu agali mu linnya lyo:
KASUJJU:
Lino nalyo linnya lya Lugave. Ku mulembe gwa Kabaka Mutebi omusajja yatuuka ng’ayiisa omwenge,abantu ne bajja bangi okugunywa. Mu bajja mwalimu n’omukazi ow’omwana eyazazika omwanawe wabbali n’atandika okwekatankira amagengere. Ono aba akyekatankira amagengere ate ne wajja omusajja eyalina endiga naye n’gisiba kiku ekinene wabbali n’atuula okunywa omwenge. Baba bakyanywa, ne wajja embwa ng’edduka era endiga bwe yeekanga kwe kudduka nga bw’ekulula ekiti kwe baali bagisibye, ne kikuba omwana ne kimutta. Omusango gwabalukawo nga babuuza avunaanyizibwa ku kufa kw’omwana. Abamu nga banenya muyiisa, abalala nnyini ndiga n’abalala nnyini mbwa eyakanze endiga. Baawoza okutuuka bwe baajulira ewa Kabaka naye baba basimbye olwa kasota bagenda okuwoleza kabaka kwe kusanga akavubuka akaali kayitibwa Kalali nga kali ku ttale kalunda embuzi. Bwe kaabuuza ogubadde ne bakannyonnyola ne kagamba nti yii ogwo omusango mwangu okusala. Bano beeyongerayo ewa Kabaka era bwe baamuwoleza n’alaba ng’omusango si mwangu, omu ku baaliwo kwe kumutegeeza ku kalenzi ke baasanze nga kalunda ente ne kategeeza nti omusango mwangu. Kabaka yatumya akalenzi era baakasanga kalya nsujju ne bakatwala bukubirire ewa Kabaka gye kaatuuka nga kalina n’ekiryo (akasigo k’ensujju ) ku bbeere. Kabaka bwe yakalaba kwe kugamba nti kano ka kasujjubbeere obwedda ke mugamba? Yakalagira kasale omusango nako ne kategeeza nti olwokuba omwana eyali attiddwa yali muwala, yali muka kabaka nti abantu bano bateekwa okuliyirira kabaka eggozi nga bamuwaamu abazaana . Bonna bakkaanya nti asaze bulungi omusango. Olwokuba Kabaka yamuyita kasujjubbeere we waava erinnya Kasujju mu boolugave ne Kasujju okuweebwa Obwakasujju obuvunaanyizibwa okukuuma n’okulamula abalangira.
MUGWANYA:
Lino litera kutuumwa basajja abeddira Obutiko n'Abenkima nabo balituuma nga liva mu linnya lya kibuga kya Ssekabaka Kimbugwe ekiyitibwa Bugwanya. Bugwanya kitegeeza nti tutabaganye noolwekyo Mugwanya litegeeza omutabaganya oba omuntu atabaganya abalala.
NAKANGU:
Lino erinnya lyatandikira ku Ssekabaka Kateregga nga ye yasooka okulituuma enju ye nga yeewaana nti yayanguwa okulya Obwakabaka Nakangu litegeeza omuntu omwangu.
NAMBOOZE:
Lino lyatandikira ku Kabaka Kyabaggu ku mukazi Namale eyali omuyimbi ate nga muzinyi. Kyabaggu bwe yamulaba bw’azina n’awuliriza n’ennyimba ze kwe kumutuuma erinnya Namboozi eritegeeza omuntu omunyumya oba omuntu ow’emboozi ennungi nga lino lye lyakyusibwa ne lifuuka Nambooze. Litegeeza omukazi omunyumya nga lituumibwa Bakkobe.
KATENDE:
Lino linnya lya Baalugave. Lumu jjajja w’Aboolugave, Mukiibi Mulangwa yava e Kapeeka gye yali abeera n’agenda e Ssekiwunga. Bw’atuuka eno kwe kulengera akasozi n’akatendereza obulungi olwo n’atambula n’akatuukako. Ku kasozi kano kwe yasinziira n’agamba nti: “Akasozi kano akatenderezebwa, wano we ndigwa. E Kapeeka balizzaayo luwanga. Akatenderezebwa mwe mwava erinnya Katende eryatuumibwa akasozi kano akamanyiddwa nga obutaka bw’Aboolugave era we wava n’erinnya Katende. Katende litegeeza omuntu omulungi mu ndabika, atenderezebwa.
NAKAKAAWA:
Erinnya lino lya kika kya Kkobe nga litegeeza ekkobe ettono. Amakobe gaaliibwanga nnyo wano mu Buganda mu biseera eby'enjala. Basimba masimbe kyokka waliwo n'ageemeza gokka mu bibira.
NAKATUDDE litegeeza ekkobe eddene.
KIWOMBOJJO:
Lino erinnya litegeeza omuwemba omubisi. Liva mu linnya empombojjo eriweebwa omuwemba omubisi gwe basa ne bongera mu mwenge nga gugaanyi okukula.
MASENGERE:
Ensibuko yaalyo eri mu mayinja ageeyambisibwa mu kuweesa ge bayita amasengere ge basaanuusa okukolamu ebyuma Masengere litegeeza omuntu omugumu nga ekyuma.
SSEMPIJJA:
Linnya erituumibwa Abente. Empijja kiba kyuma ekinene nga kigumu ddala, omuweesi kw'akubira ekyuma ekyengeredde. Ssempijja litegeeza omuntu omugumu ennyo. Omuwala ayitibwa Nampijja.
BUSUULWA:
Bano baba beddira Kkobe ng'erinnya liva ku makobe agaasuulibwa okwetangira ebizibu. Kigambibwa nti jjajja w'Abekkobe Sseddumi olumu enjala eyagwa mu Buganda yamuwaliriza okubba amakobe ku buko gye yafumbiza muwalawe. Bwe baamugoba kwe kusuulako agamu era wano we wava erinnya Busuulwa.
KAYIWA:
Lino nalyo lya Bakkobe. Sseddumi bwe yalaba abamugoba olw'amakobe ge yali abbye bamulemeddeko kwe kugayiwa gonna era wano we wava erinnya Kayiwa.
MBAZIIRA:
Lituumibwa Abennyonyi n’Abaakasimba nga liva mu kigambo kubaziira. Okubaziira embugo kwe kuzitaba (okuzigatta) nga bazitunga n’obuso. Noolwekyo Mbaziira litegeeza muntu agatta (ataba) embugo.
MULINDWA-
Bano baba beddira Mbwa nga liva ku jjembe Mulindwa lye basamirira.
MUGALULA-
Bano beddira Nseenene nga liva ku kuba nti mu kusooka Kisozi- Ggomba lyali lifugibwa mukazi naye bwe yazaala omwana omulenzi gwe bayita Kajjongolo, obukulu kwe kukyusibwa ne buweebwa omulenzi ono n’atuumibwa Mugalula ekitegeeza okukyusa eng'oma n’edda ku musajja. Oyinza okugamba nti Mugalula litegeeza nkyukakyuka.
KAKINDA-
Ono aba wa Kkobe nga litegeeza okukinda (okuyooyoota) n’okutona olubugo lwa Kabaka. Noolwekyo oyinza okugamba nti Kakinda litegeeza omuyooyoosi.
NSAMBA-
lino lya Ngabi nga liva ku jjajja w’Abengabi ono bwe yali akyali muto baamusibanga endege ku magulu aleme kubula olwo n’atambulanga nga bw’asamba zisobole okuvuga, kwe kumutuuma Nsamba. Abawala bayitibwa Nansamba
NTANDA-
Yeddira Mmamba nga lino liva ku Kibuuka Omumbaale, bwe yajja mu Buganda okulwana n’Abanyoro. Bwe yali yaakatuuka, omwana Mubiru kwe kumwetikkirako omugugu gwe yajja nagwo, wano Kibuuka kwe kumutuuma Ntanda kubanga yeetikka entanda ye
LUWAGA
Lya ba Mpologoma. Lyava ku jjajja w’Abempologoma Ssebuganda eyatta empologoma bbiri n’omuggo nga bali e Lwadda. Bwe yadda eka kitaawe n’akwata omuggo n’agamba nti ‘Guno omuggo luwaga’, we waava erinnya Luwaga Kigambibwa nti omuggo bwe yagussa wansi ne gufuuka olusozi oluyitibwa Luwaga. Noolwekyo Luwaga kitegeeza omuntu omuzira.
SSEKABEMBE-
Linnya lya Mmamba kyokka n’Abendiga balituuma. Lino liva ku mwana wa Ssebawutu owookusatu eyayitibwanga Kijjambu eyaweebwa omulimu gw’okukuuma effumu lya Kibuuka Omumbaale eriyitibwa Kababembe olwo n’aye n’atandika okuyitibwa Ssekabembe ekitegeeza omukuumi w’omuggo. Ssekabembe lituumibwa n’Abendiga era omuwala ayitibwa Nakabembe.
MUKOOZA-
Lino linnya lya Bantalaganya naye nga baaliggya ku mbwa ya Kabaka eyitibwa Mukooza abentalaganya gye balabirira. Oyinza okugamba nti Mukooza litegeeza mbwa ya Kabaka.
JJOOGA-
Lino lituumibwa Abemmamba n’Aboolugave. Lyava ku mwana ow’emmamba eyali ayitibwa Ssekibumba, eyajooganga banne, olwo Kibuuka Omumbaale bwe yamulaba kwe kumutuuma Jjooga eritegeeza omuntu omujoozi.
KAYIIRA-
Lino ly’abeddira Embogo nga lyava ku jjajjaabwe Kayanja eyayamba muzzukuluwe Makumbi okunoonya embazzi eyali emubuzeeko. Kayanja yayokya oluyiira ensiko eveewo basobole okulaba embazzi. Kuno kwe kwava okumuyita Kayiira eritegeeza omuntu ayokya empiira.
KIZUULA-
Linnya lya Mmamba nga lyava ku lutalo lwa Kibuuka Omumbaale n’Abanyoro. Bwe baali balwana, omwana Ssembajjwe kwe kuzuula Omunyoro eyali yeekwese ku kyalo. Wano we yava ne bamutuuma Kizuula.
MAKUMBI
Erinnya lino lya Bambogo nga lyatandikira ku Ssekabaka Kimera. Kimera bwe yali ajja okulya Obuganda, muzzukulu wa Kayiira ayitibwa Kipimpini ye yamwetikkira enkumbi kwe kumutuuma Makumbi eritegeeza omwetissi w’enkumbi.
SSEBUKANJA
Linnya lya Mmamba nga baaliggya ku mwana waabwe eyaleetera Kibuuka Omumbaale omwenge ogulimu enkanja.
KAAMAANYI-
Linnya lya Bambogo nga baaliggya ku ngabo ya Kabaka gye basitula eyitibwa Kaamaanyi.
TTONDA-
Linnya lya Mmamba nga baaliggya ku lusozi Ttonda olusangibwa e Mpigi. Ku lusozi luno Kibuuka Omumbaale kwe yasisinkana omukongozzi wa Lubaale Katonda, olusozi n’alutuuma Butonda kyokka abantu ne balisalako ne baluyita Ttonda eritegeeza omutonzi.
NAKYONDWA:
Lino linnya ly’abawala mu Ngabi Ennyunga. Liva ku muwala wa Mutaawe (Mutaawe ye jjajja w’Abengabi Ennyunga) eyagenda n’ayunga ente ya Kabaka Kintu eyali emenyese. Ente yawona n’eddamu n’etambula. Wano we wava erinnya Nakyondwa n’omulenzi Ssekyondwa. Amannya gano gategeeza muyunzi.
SSEKAMWA:
Ono yeddira Mpeewo ng’erinnya lino lyajja ku Ssekabaka Mutebi I . Mutebi yaddira mutabani wa Kiggye Sseryazi Ssebbaale n’amuwa obukulu Obwakibaale nga bw’agamba nto ono y’alina akamwa akasalira Kabaka omusango. Wano we wava erinnya Ssekamwa nga litegeeza omuntu ow’akamwa akoogi akatatya banene nga Kabaka.
KASUJJA:
Bano baba beddira Ngeye. Jjajja w’Abengeye ayitibwa Bakazirwendo Ssemmandwa yalina omwanawe Kyesimba eyabeeranga e Busujju ng’ono ye yawonyanga Kabaka omusujja kye baava bamutuuma Kasujja. Kasujja litegeeza omusawo w’omusujja. Ssessanga: Bano baba beddira Njovu. Erinnya lyatandika ku Kabaka Kintu anti ono bwe yali ajja okulya Obuganda, jjajja w’Abenjovu ye yajja akutte essanga lya Kintu kwe kumutuuma Ssessanga. Okunyweza erinnya lino, Abenjovu be bakuuma essanga erikuuma Obuganda. Noolwekyo Ssessanga litegeeza mukuumi w’essanga lya Kabaka.
BUKOMEKO NE NABUKOMEKO:
Gano mannya ga&nb
NJAWUZI FREDRICK
04.09.2022 14:46
Neyanziza lwa bubaka bunno obunyabwe enyo mukwezula mu buzale nobutaka. Naye nange nsaba okumanya amakulu agali mulinya NJAWUZI eyedila ekobe etonno
Nnassanga Nalubaale Kiwazi
07.06.2022 04:43
Newunya lwaki Ab'Enjovu te tutuma Massanga ( anti amassanga gali abbiri) mukifo kya) Nnassanga( nga liri limu?)
Margaret Nankinga
07.06.2022 09:37
Anti oluusi twogerera mu bumu naye nga tutegeeza bingi okugeza oyinza okugamba nti essanga liri ku buseere, oba otegeeza nti amasanga gali ku buseere.
Sekitto Hamza
24.09.2021 05:52
Nze Ssekitto , Neddira Ngeye, Ndi muzukulu wa Kasujja, Akabiro kunguvu,
Nsaba Kumanya amakulu ge'linya Ssekitto
Kasota
13.09.2021 16:50
Nsanyuse okumanya amakulu g’elimu ku manya gange
Lukenge Leonard
03.08.2021 16:59
Nkulamusiza, nze Lukenge Leonard nga ndi mutabani womugenzi Makaatu Joseph agalamidde e Bubale mu kyadondo era nedira Kayozi akabiro Nsomba byuma. Mukulu nsaba kumanya erinya Bayiyana litegeeza ki.
Mpalanyi
26.12.2020 11:53
Neddira Nkima, omukulu we siga Mande e Kabembe, Nsaba kumpa amakulu gerinnya Baakanaga
Naluwooza litegenza ki
13.12.2020 04:58
Naluwooza litegenza ki
Lwegaba
20.10.2020 13:21
Nsaba kumanya makulu galinnya lyange Lwegaba
Nansumba Judith
11.07.2020 18:23
Nsaba kumanya makulu ga linya lyange Nansumba.
sseggujja micheal
08.06.2020 07:54
nsaba kumanya makulu gelinnya lyange sseggujja
Navvuga Ritah
13.09.2019 08:44
Good thanks a lot
Mubiru
12.04.2019 07:39
Njagala kumanya makulu gakyo
SSEMUGENYI
06.02.2019 19:49
me
kazibwe
27.07.2018 11:59
Kazibwe Andrew
masajjage
04.10.2020 14:37
meaning erinya Masajjage
Margaret Nankinga
18.11.2014 15:18
Omuseenene weebale kusiima ssebo naawe gattako ettoffaali ng'yongerezaako by'omanyi anti agali awamu ...
Kajubi James Omuseenene
18.11.2014 13:07
Mukama waffe tweyanzizza nnyo olw'omulimu guno amakula toggyang'okwo lino taffaali ddene ly'oyongedde ku lulimi ,nange natandikako dda http://kajubi.tvheaven.com/rich_text_2.html