Sep. 3, 2014

BWINO

BULI Muganda alina erinnya lye baamutuuma ery'ekika naye bw'obuuza erinnya eryo kye litegeeza, batono abasobola okukubuulira amakulu agali mu mannya gaabwe. Katukulage amakulu g'amannya g'ebika agamu naawe ofeeyo okuzuula amakulu agali mu linnya lyo:

 KABOGGOZA:

Lino linnya lya basajja abeddira Eng'onge. Kaboggoza eyasooka kigambibwa nti ye yaleeta okukomaga mu Buganda. Mu kusooka erinnya lye ye yali Lutaaya naye abantu bwe baamutunuulira ng’aboggoza ensaamu ku mukomago ng’akomaga kwe kumutuuma Kaboggozansaamu oluvannyuma lye  baasalako ne lisigala Kaboggoza era ne lifuuka erinnya ery’ekika ky’Eng'onge. (Laba n'amakulu amalala wansi).

SSEKYONDA:

Bano baba basajja abeddira Engabi. Erinnya lino lyajja bwe liti: Bemba Musota bwe yatandika okulwana ne bataka banne, abamu badduka kyokka abalala ne beekweka bwekwesi. Mu beekweka mwe muli n’omutaka Mutaawe ow’Engabi. Gye yeekweka yazaalirayo abaana olwo n’atandika okwewaana nga yeeyita ‘ekyondo’ ekivaamu abaana era kwe kutandika okutuuma Ssekyonda nga liva mu kyondo. Erinnya lino lyafuukira ddala lya kika kino.

 MWENNYANGO:

Lino linnya lya bawala nga liva mu muddo oguyitibwa omwennyango. Omuddo guno guba n’amagimbi era bw’ogukoonako gukwokya n’owulira obubalagaze kyokka guliko n’eddagala. Baagugerako n’olugero nti “Abalangira mwennyango, aligukwatako gulimwokya’.

 SSEMBIRO NE NAMBIRO:

Bano baba beddira Mpeewo. Amannya gano okugatuuma bagaggya ku butaka bwabwe obusangibwa e Bubiro mu Kyaggwe. Mu Bubiro mwe muva amannya Ssembiro ne Nambiro.

 SSEKANJAKKO NE NAKANJAKKO:

Bano baba beddira Nkima ng’okutuuma amannya gano bagagggya ku butaka bwabwe e Bunjakko mu Mawokota nga buno butaka bw’Abenkima ab’essiga lya Jjumba.

SSEKABEMBE NE NAKABEMBE:

Ng’oggyeeko Abendiga abatuuma amannya gano era gatuumwa n’Abenkima ng’okutuuma amannya gano bagaggya ku butaka bwabwe obuli e Kabembe nga buno butaka bw’Abenkima ab’essiga lya Mande oluusi ayitibwa Kibembe.

 NABISERE:

Erinnya lino lya bawala nga liva mu bubbo obuyitibwa obusere nga buba bubbo butoneetone obulungi nga bwe bwaleeterwangamu emmwaanyi mu lubiri nga buno bulukibwa Baamutima. 

WAGABA:

Bano baba basajja abeddira Obutiko. Erinnya lino okulituuma baliggya ku kifo we babajjira eng'oma ya Kabaka eyitibwa Kawulugumo wamu ne Nnamulondo. Aboobutiko be babajja Nnamulondo n’eng'oma Kawulugumo era we babibajjira bayitawo Wagaba , kwe baava okutuuma erinnya lino. Noolwekyo oyinza okugamba nti Wagaba litegeeza ekifo we babajjira Nnamulondo n’eng'oma Kawulugumo.

 KIMBUGWE

Erinnya lino lyabanga lya mulezi wa mulongo wa Kabaka . Kigambibwa nti omulongo kyabanga kirira ekyavanga ku Kabaka ng’azaaliddwa. Buli Kabaka aba n’omulongowe era akuumwa butiribiri ng’edda yakuumwanga Kimbugwe era Kimbugwe ng’abeera na lubiri lulamba anti mwabangamu ennyumba 50. Omulongo wa Kabaka yayalirwanga ekitanda kinene nnyo kwe baamuteekanga ng’alina n’abakyala abamukuuma era nga balinga abakuuma Kabaka yennyini.  Kigambibwa nti Kabaka bwe yabuuzaanga nti ‘Kino kiki?’ ng’omukuumi addamu nti 'kino mbu ggwe’ muno mwe mwava erinnya Kimbugwe.  Abawala bayitibwa  Nakimbugwe.

KYANJO NE NAKYANJO: Ensibuko y’amannya gano eri mu lubiri lwa Kabaka. Mu lubiri lwa Kabaka mwabangamu ennyumba nnyingi.  Bwe wayitanga mu luggya lwa Masengere ng’osanga enkuubo ezizimbiddwaamu ensiisira ezaaseresebwanga amaliba g’ente. Emu ku nsiisira zino ezaasangibwanga mu lubiri ensereke n’amaliba g’ente ng’eyitibwa kyanjo, bwe ziba ennyingi nga ziyitibwa byanjo. Ensiisira zino zaasulangamu abaami abaalinga bakulira ebitongole ebinene n’abakungu nga basula bakuuma Kabaka. Noolwekyo oyinza okugamba nti Kyanjo ne Nakyanjo   gategeeza ennyumba z’omu lubiri ensereke n’amaliba g’ente ezaasulangamu abaami n’abakungu nga bakuuma Kabaka. Eddiba ly'ente eritali liwale (ggwale) nalyo liyitibwa kyanjo.

NABIKAKALA: Lino linnya lya bakazi nga liva mu muti oguyitibwa Ekikakala  ogweyambisibwanga mu kuzimba ennyumba.

MUTUMBA: Erinnya lino liva mu kigambo Mututumba nga kikozesebwa mu kuzimba ennyumba z’Abaganda nga bwe zaalinga. Edda ennyumba z’Abaganda zaabanga za ssubi era zaaserekebwanga mu mbu. Olubu olusooka olw’essubi baaluserekanga ebikolo (eno gye baatemye) bye bitunudde wansi ate olubu oluddako ng’ebikolo biba bitunudde waggulu, bwe batyo bwe baagendanga bawaanyisa okutuuka waggulu ku kasolya. Guno gwe mututumba era mwe muva erinnya Mutumba.

WAMALA: Erinnya lino lirina ensibuko y’emu n’ennyanja Wamala nga lyajja bwe liti:

Musisi  ow’e Bukasa mu Ssese yalina abaana be babiri; Bumbujje ne Lubaale. Lwali lumu abaana bano ne balwana. Embwa ya Bumbujje yalaba mukama waayo bamukuba bubi kwe kukkira Lubaale n’emuluma okugulu ekyamuviiramu okulemala. Lubaale bwe yalemala abantu kwe kumutuuma Wannema ng’ono ye lubaalere asamirwa leero.  Kitaabwe bwe yazuula nga Bumbujje ye yali awakudde olutalo olwavaako omwanawe Lubaale okulemala n’anyiiga era n’agoba Bumbujje e Ssese. Bumbujje e Ssese yavaayo n’amazzi mu nsumbi ge yatwala nti agakozese mu kwalula abaana be. Bwe  yatuuka e Busundo mu Ssingo n’azimba awo. Kyokka amazzi ge yatwalira mu nsumbi ne gayiika ne gavaamu ennyanja. Ng’ali e Ssingo kitaabwe Musisi yamuweerezanga obubaka nti: ‘’Wamala okulemaza omwana wange olowooza awo e Ssingo w’oli siyinza kukulumbawo?’’ Kuno kwe kuva erinnya Wamala eryatuumibwa ennyanja era n’abantu. Oyinza okugamba nti Wamala litegeeza buzibu.

 VVUBYA NE NAVVUBYA

Bano baba beddira Lugave. Kigambibwa nti amannya gano gaatandikira ku Ssekabaka Muteesa I nti lumu Mukaabya Muteesa I bwe yali asomoka akagga Nneerabiddeng'oma akaayawulanga Banda ku Kyambogo nti ebirenge by’embugo ze ne bikuba mu mazzi. Bwe yabiraba nga bitobye kwe kugamba nti ‘Nvubizza birenge’’ Abantu akagga ne bakatuuma Vvubyabirenge era lino lye baasalako ne batuuma abantu Vvubya ne Navvubya.

 KAGUGUBE:

Lino litegeeza omuntu ow’emputtu atawulira bimugambibwa.

 KKONDE:

Erinnya lino lisibuka mu kawuka ke bayita Mukulutafakkonde nga kigambibwa nti akawuka kano ne bw’okakuba ekikonde tekafa. Abaana batera okukazannyisa nga bakakuba ebikonde balabe oba kanaafa. Erinnya ly’akawuka kano lye baasalako ne batuuma Kkonde. Abawala bayitibwa Nakkonde.

 KALEMA:

Erinnya lino liva mu linnya ly’omuti oguyitibwa Kalemanjovu. Guno teguba muti munene naye guba gugonda nnyo era enjovu tesobola kugumenya olw’obugonvu bwago. Guno gwe basalako ne batuuma Kalema eritegeeza omuntu omugonvu.

 SSEMPAKA:

Lino lisibuka mu mpaka ezaaliwo wakati w’abalangira; Kikulwe ne Mawanda wamu n’omusajja Mawuuba bwe baali badduse muganda waabweKabaka  Kagulu Tebucwereke ng’ayagala okubatta.  Bwe baali bakomawo okuwamba Obuganda, ne batandika okuwakana ku wa we basaanye okuyita. Olusozi kwe baawakanira kwe kulutuuma Ssewampaka era lino lye livaamu erinnya Ssempaka. Kyokka abamu bagamba nti erinnya Ssempaka lyava ku mpaka za Wagaba Owoobutiko, ezaamuggya mu kika ky’Envuma.

 KASASA:

Erinnya lino liva mu muti omusasa. Baguyita Omusasa kubanga gutera okuwogoka ne guvaako amatabi agakala amangu ne gafuuka enku ze baasasisanga emmere. Okusasa kitegeeza kwonoona, kale oyinza okugamba nti Kasasa abeera mwonoonyi wa bintu.  Omuti Omusasa era guyitibwa Omuzzanvuma n’erinnya eddala guyitibwa Mwesigamwabakyala.

 NALWOGA: 

Erinnya lino liva mu kigambo ky’Olunyoro; okwoga ekitegeeza okunaaba. Mu kigambo ky’Olunyoro kino okwoga mwe muva ekigambo ekyogero ekitegeeza ekibya omwana omuto mw’anaabira.  Oyinza okugambanti Nalwoga litegeeza omuntu omunaabi.

LWOGAMATA:

Lino nalyo liva mu kigambo Okwoga eky’Olunyoro ekitegeeza okunaaba. Noolwekyo oyinza okugamba nti Lwogamata litegeeza Munaabamata.

 KAYOGA:

 Lino nalyo liva mu kigambo okwoga ekitegeeza okunaaba.

 MWERUKA:

Erinnya lino lya basajja nga liva mu kigambo kweruka ekikozesebwa ku kintu ekyeru oba ekyereere ekitaliiko kintu kyonna. Abawala bayitibwa Namweruka nga Mweruka ne Namweruka gategeeza omuntu omweru oba ataliiko bbala lyonna.

NAMAALWA:

Linnya eritegeeza omwenge.

NSANGI:

Bano baba bawala nga litegeeza ekifo abantu we basisinkanye.

SSERWADDA NE NALWADDA

Bano baba beddira Mpologoma. Ensibuko y’amannya gano eri ku butaka bw’Abempologoma. Akulira ekika ky’Empologoma ye Namuguzi ng’obutaka bwe buli Lwadda ekisangibwa mu Kyaddondo. Ku kyalo Lwadda, Abempologoma kwe bava okutuuma amannya Sserwadda ne Nalwadda.

SSEWANDIGI:

Erinnya lino lya basajja abeddira Enjovu. Lisibuka ku kyalo Buligi, ekisangibwa e Buligi mu Butambala ng’eno eriyo ekiggwa ky’Abenjovu ekya lubaale waabwe Nawandigi kwe baava ne batuuma amannya Ssewandigi ne Nawandigi erituumibwa abawala.

 KABENGWA:

Lituumibwa basajja abeddira Empologoma. Obumu ku butaka bw’Abempologoma busangibwa ku kyalo Bubengwa e Bulemeezi. Obutaka buno kwe baggya okutuuma erinnya Kabengwa era erinnya lino lye liweebwa n’akulira obutaka buno.

 NNAAMALA:

Bano abawala abeddira Enkula ng’ensibuko y’erinnya lino eri ku nte ya Kabaka Kimera eyitibwa Namala ekitegeeza nti Kimera bwe yalya Obwakabaka yamala. Abenkula be baalundanga ente eno kye baava batuuma bawala baabwe erinnya Nnaamala eritegeeza omuntu ali obulungi (ebitaala gwe bitadde)

SSEMBIRO:

Lituumibwa basajja abeddira Empologoma ng’erinnya lino baaliggya ku kyalo Kkulambiro gye balina obutaka. Kkulambiro kisangibwa Kyaddondo. Ssembiro y’akulira obutaka buno nga Wassiga. Wano we bava okutuuma Ssembiro, abawala ababatuuma Nambiro.

KASAMBA:

Bano baba beddira Mbogo. Ensibuko y’erinnya lino eri ku kyalo e Busamba mu Busiro eri obutaka bw’Abembogo abava mu ssiga lya Kasamba ng’ono y’atwala obutaka obwo.

NNYANZI:

Lituumibwa basajja abeddira Embogo. Ensibuko y’erinnya lino eri ku kyalo Nnyanzi mu Ssingo gye balina obutaka kye baava basalawo okutuuma batabani baabwe erinnya Nnyanzi. Abawala bayitibwa Nannyanzi.

KAAMAANYI:

Lituumibwa abasajja abeddira Embogo ng’erinnya baalyetuuma nga baliggya ku ngabo ya Kabaka eyitibwa Kaamaanyi, Abembogo gye bakwata. Noolwekyo Kaamaanyi oyinza okumuyita engabo ya Kabaka.

NANJOBE:

Abawala abeddira enjobe be batuumibwa erinnya lino nga baliggya ku Njobe gye beddira. Abalenzi babatuuma Ssenjobe.

 KYAMBADDE: 

Linnya lya basajja abeddira Ennyonyi nga baliggya ku kibira kyabwe ekikulu ekiyitibwa Kyambadde nga kisangibwa mu Kyaggwe. Abawala bayitibwa Nakyambadde. Noolwekyo oyinza okugamba nti Kyambadde litegeeza kibira. Ekibira kino bakyogerako ne mu mubala gwabwe nti 'Mu Kyambadde mulimu engo, bampe omuggo nneewerekeze'.

KIYEMBA: 

Ensibuko y’erinnya lino eri ku nkejje. Enkejje zirimu ebika. Enkejje ennene okusinga zino ze tutera okulaba ze ziyitibwa Kiyemba. Noolwekyo Kiyemba litegeeza enkejje ennene. Abawala batuumibwa Nakiyemba.

BWANIKA: 

Ensibuko y’erinnya lino eri ku kasozi Naggalabi, e Buddo, ng’eviira ddala ku Bemba Musota ne mugandawe Nambigirwa abaalwanyisa Kintu ne bamugoba ku bukulembeze. Bemba ne Nambigirwa baagenda ew’omulubaale eyabawa obuganda bw’enku obusibe obulungi n’abagamba nti babutwale babusse okumpi n’enju ya Kintu nti bw’anaabukwatako nga bufuuka emisota nga gimubojja ng’afa. Ekifo we baayanika obuganda bw’enku e Naggalabi ne leero wayitibwa Bwanika  era we wava erinnya  Bwanika eritegeeza obulwa.

 KASIBANTE: 

Erinnya lino liva ku muddo nagwo oguyitibwa Kasibante nga gulina emirandira emingi egiba gyetuumye awamu ne gikola akanywa ne ginywera mu ttaka nga kuno abantu kwe baava okulowooza nti osobola okugusibako ente.

KIBOWA:

Linnya eritegeeza okusiba. Lituumwa abasajja Abenvubu nga liva ku muddo oguyitibwa ekibowabowa nga gwezingirira ku miti ne guba nga ogugisibye. Kibowabowa kirabika kiva mu Lunyoro kubanga bano okusiba bakuyita kuboha.

 BAKKA NE NABAKKA:

Bano beddira Ffumbe ng’amannya gava ku lusozi okuli obutaka bwabwe oluyitibwa Bakka, olusangibwa mu Busiro. Erinnya Bakka liviira ddala ku Lutalo wakati wa Ssekabaka Kagulu  Tebucwereke ne baganda be Kikulwe ne Mawanda. Abalangira bano lumu baali badduka obukambwe bwa Kagulu ne basisinkana omusajja Mawuuba ow’Emmamba e Busunju ne bakola eggye okudda okulwanyisa Kagulu kyokka baba bajja okulwana ne batandika okukaayana ng’abamu bagamba bayite waggulu ku lusozi ate abalala nga bagamba baluyite bbali.Olusozi luno kwe baawakanira baalutuuma Ssewampaka era baaluyita waggulu olwo bwe baali bakkirira Kagulu ne basajja be kwe kubalaba era ne bagamba nti  ‘balabe bakka’. Wano we wava erinnya bakka eryaweebwa olusozi era erituumibwa Abeffumbe.

 NDAGIRE:

 Lino linnya ly’abawala nga liva mu kika ky’omutuba gwe bayita endagire, mwe bakola embugo.

 BBANDA: 

Litera kutuumibwa basajja Ab’Enkima nga liva mu bigambo 'bbanda balogo' ebitegeeza omuntu atatya balogo.

KASOLO:

Erinnya lino lituumibwa basajja ab’Engeye nga liggwaayo nti Kasolo kamponye. Liviira ddala ku Ssekabaka Ssuuna II eyali omuyizzi kkungwa. Lumu yali ayigga mu bitundu by’e Lugoba, akasolo ne kamuddukako ko ye nti ‘akasolo kamponye’’. Abantu olwakiwulira ne bakituuma akagga mwe yakyogerera ne lifuuka linnya ly’abasajja ab’Engeye.

 KASENGE:

Erinnya lino litandikira ku Lutalo lwa Bemba Musota ne Kintu. Bemba Musota yagenda ne mugandawe Nambigirwa ew’omulubaale abawe eddagala erigoba Kintu ku bukulu. Omulubaale yabatwala n’abalagulira mu kasenge ke ng’atya abantu okumulaba ng’ayogera n’abajeemu. Ekyalo kwe yabalagulira kye kyava kituumibwa Kasenge n’erinnya ne litandika okutuumwa mu bantu.

 SSEMMENGO:

Erinnya lya basajja abeddira Envubu. Liva ku mmengo (olumu baluyita lubengo) za lubaale Kiwanuka Abenvubu gwe basamirira ezaabeeranga kati we bayita Mengo nga buno bwali butaka bwa Banvubu kyokka ne bavaako nga Kabaka Mwanga II amaze okuzimbako olubiri lwe, ne baggyako n’emmengo za Kiwanuka ne bagenda nazo. Ku mmengo zino kwe baava okutuuma erinnya Ssemmengo.

Comments

Mukwaya Muyise Ssekiyijja

15.10.2017 09:45

Nsanyuse nnyo okuyiga ebikwata ku mmannya era singa nsanzeewo eryange MUKWAYA ate naalisinzeewo.

Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page