Sep. 30, 2014

Amannya g'ebika agamu gava mu mirimu oba emizannyo gy'Abaganda

 AMANNYA g'Abaganda ag'ebika tegaamala gagwawo wabula galina ensibuko ng'agamu gava mu mirimu gye baakolanga amalala gava mu mizannyo n'amalala mu byafaayo bya Buganda oba mu mpisa n'obulombolombo. Laba gano wammanga:

WAMPAMBA:

Erinnya lino lya basajja nga liva mu lulimi lw’ababazzi b’amaato. Bano balina ekigambo empamba kye bakozesa  nga buno buba buti bwe bakozesa okusiba ebika ebibeera mu lyato okwongera okubinyweza.  Ebika biba wansi mu lyato we baligattira ng’okunyweza ebiti bino bye bakozesa okuligatta ebiyitibwa ebika, bakozesaayo obuti obulala obubinyweza bwe bayita empamba ng mu buno mwe muva ernnya Wampamba.

BATENGA:

 Lino linnya lya bawala nga liva mu mulimu gw’Abaganda ogw’okukomaga. Mu kukomaga waliwo omutendera gwe bayita okutenga nga kuno kwe kukuba olubugo okulubyabyataza n’okwongera okuggyamu amazzi agayitibwa obuleebo nga bakozesa ensaamu ey’amannyo amanene. Mu kutenga olubugo mwe muva erinnya Batenga ly’oyinza okugamba nti  litegeeza okukuba ekikuta ky’omutuba ekigenda okukolebwamu olubugo  okukibyabyataza n’ensaamu ey’amannyo amanene.

 DDAMBA:

Kino kizinga mu nnyanja Nnalubaale gye baatwalanga abasibe ne babamenya emikono n’amagulu ne babaleka eyo ggoonya ne zeeriira.

KALINDA:

 Lino erinnya lyava mu kalindaluzzi ng’ono yalinga mukuumi wa luzzi Kabaka mw’anywa amazzi. Oluvannyuma lyatandika okutuumwa mu kika nga lisaliddwaako ne lisigala Kalinda.

MUWAMBI:

Erinnya lino lya basajja nga lisibuka mu kutabaala. Abaganda edda bwe baatabaalanga ne bawangula era ne banyaga ebintu okuva ku bebalwanye nabo.  Mu mbeera eno waabangawo kye bayita okukuba omuwambiro nga mu kino omugabe (eyaduumiranga  olutabaalo) bwe yamalanga okulobola ebinyagiddwa ng’atoolamu ebyo by’ayagala okuva mu by’abasajjabe abalwanyi bye baanyaze, bwe yamalanga ate ng’asindika  ababaka be nga baddamu nga balobola ebintu abatabaazi bye baasigazza nga baddamu nga baggyamu bye baagala nga babitwala ng’omutabaazi olwo asigazaawo ebibye . Okulobola kuno okwokubiri okukolebwa ababaka b’omugabe kwe kuyitibwa okukuba omuwambiro era Omuwambiro mwe muva erinnya Muwambi ly’oyinza okugamba nti litegeeza kulobola ebinyagiddwa mu lutabaalo.

SSEJJOBA NE NAJJOBA:

Gano gava mu nkola y’Abaganda ey’okwetonaatona emitwe gyabwe. Ejjoba  byabanga byoya eby’enkusu n’ebyennyange bye baatikkiranga ku mitwe nga kino kye bayita ejjoba. Omuntu oluusi yatalanga ejjoba nga kino kitegeeza nti basala enviiri ebbali n’ebbali ne balekawo enviiri wakati ezitali nsale okwefaanaanyiriza ebyoya by’enkusu n’ennyange bye beetikkiranga ku mitwe ebiyitibwa ejjoba. Ssejjoba ne Najjoba oyinza okugamba nti gategeeza  musono gwa nviiri ogw’okwetikkira ebyoya by’ennyange n’enkusu.  Erinnya eddala erya Nakijoba nga lino lya bawala aboolugave nalyo ligwa mu ttuluba lye limu.

SSENFUKA NE NANFUKA:

Gano gava mu lulimi lw’abatabaazi n’abalwanyi nga baalinanga enjogera nti mukooneko enfuka oba nti enfuka ne zidding'ana nga bakozesa enfuka okutegeeza okusookereza omulabe wo oba omuntu bwe mulwana ng’oyagala okupima amaanyi ge. Mu lulimi olw'ekigwo Ekiganda, enfuka kiba kitundu kya kigwo.

 SSEBIRUMBI:

Lino lya basajja nga liva mu linnya eriweebwa ebisagazi ebito nga biyitibwa ebirumbirumbi. Muno mwe muva erinnya Ssebirumbi. Ebirumbirumbi bino Kabaka by’alwanyisa nga ogumu ku mikolo egikolebwa ng’agenda okutikkirwa e Naggalabi. Abawala bayitibwa Nabirumbi ng’oyinza okugamba nti gategeeza ebisagazi ebito.

KIBIRIGE NE NAKIBIRIGE:

Gano amanny g’abantu abeddira  Engeye. Gava mu muzannyo ogw’okubiriga nga mu muzannyo guno abaana batema emiggo emimpi enta nga bbiri oba ssatu gye baayitanga embirigo olwo ne babiriga nga buli omu afuba okukanyuga embirigo ye n'egenda wala, asinze okukasuka ewala y'aba awangudde olwo n'akuba embirigo za banne ne zigenda wala. Mu kibiriga mwe muva erinnya Kibirige ng’abawala abamu bayitibwa Nakibirige abalala Nambirige.

KIZIMULA:

Lino liva mu lulimi lw’ababazzi b’amaato Okuzimula  kwe kutereeza eryato nga babajja n’okuyooyoota ekitundu ky’emabega olulimi lw’eryato we lunaagalamira. Oyinza okugamba nti Kizimula ye muntu atereeza n’okuyooyoota eryato nga balibajja naddala ekitundu eky’emabega kye bayita Balumba.

SSEMAWATA:

Lino lya basajja nga liva mu kigambo ky’ababazzi b’amaato ‘mawata’ ekitegeeza ekifo we batemye omuti ogugenda okubaggyibwamu eryato.

Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page