Oct. 1, 2014

LABA GANO

AMANNYA g'Abaganda ag'ebika tegaamala gagwawo wabula galina ensibuko ng'agamu gava mu mirimu gye baakolanga amalala gava mu mizannyo n'amalala mu byafaayo bya Buganda oba mu mpisa n'obulombolombo. Laba gano wammanga:

MUGERWA:

Erinnya lino lya basajja abeddira Enkima nga liva mu  kigambo okugerula ekitegeeza okukyusa ekintu. Edda waalingawo  omusawo  gwe baayitanga omugeruzi ng’ono agerula baana. Omukazi bwe yabanga n’olubuto olw’abalongo kyokka nga tayagala kuzaala balongo, omugeruzi yabagerulanga n’abakyusa, omu ne bamuzaala leero, omulala nga wayise ennaku ssatu oba wiiki oluusi n’omwezi nga omusawo bwe yalabanga. Olwo abaana baba tebakyali balongo. Mu kugerula kuno mwe muva erinnya Mugerwa eritegeeza okyusakyusa abaana abandibadde abalongo.

NAKIBOMBO:

Bano baba baana bawala abeddira Olugave. Erinnya liva mu muddo oguyitibwa ebbombo oba ekibombo. Abalenzi batuumibwa Kibombo.

KATWERE:

 Lino liva mu kigambo ntwere nga guno guba mwenge ogwakasula olunaku olumu mu kinnya nga bagubisse, gwe guyitibwa entwere. Oyinza okugamba nti Katwere litegeeza omwenge ogwakasula olunaku olumu mu kinnya mwe bagubikkira.

KALYESUBULA:

 Abasajja abeddira Endiga be batuumibwa erinnya lino. Liva mu kigambo kusubula ekikozesebwa mu mulimu gw’okukomaga. Okusubula kwe kuyubuluza ekikuta ky’omutuba okuva ku muti ng’ogenda kukikolamu olubugo.

KINSAMBWE: 

Linnya lya basajja nga liva mu binsambwe ebyeyambisimbwanga mu kuzimba ennyumba nga bye bisiba emiti n’emmuli. Bimera mu bibira.

SSEMUWEMBA:

 Erinnya lino lya basajja nga liva mu kigambo muwemba nga kino kimera balima kirime ne kivaako obusigo bwe bayita omuwemba nga guno bagukozesa mu kuyiisa omwenge.

SSEKISAMBU NE KISAMBU: 

Amannya gano gava mu linnya eriweebwa ennimiro mw’omaze okukungula emmere n’ogireka awo nga tosizeemu kirala, ennimiro emale okuddamu obugimu. Kino kye bayita ekisambu era mwe muva amannya ago Kisambu ne Ssekisambu. Abawala babatuuma Nakisambu.

SSEGGOBE:

Lino liva mu ggobe nga bino bikoola bya mpindi bye bafumba ne bakaza n’oluvannyuma ne babisa okufunamu obuwunga bwe bayita eggobe era nga balulya nga nva bwe balussa mu binyeebwa oba okufukamu amazzi n’omunnyo n’olya.

MAKAAKU:

Bano baba basajja nga liva mu kigambo mukaaku ekitegeeza ekikuta ky’omutuba ekimaze okuggyibwa ku muti nga kirinze kukolwamu lubugo. Kino kye kiyitibwa omukaaku era mwe muva erinnya Makaaku ly’oyinza okugamba nti litegeeza ekikuta ky’omutuba ekiggyiddwa ku muti.

KIMOTE: 

Erinnya lino lya basajja nga liva mu linnya eriweebwa olubugo olumyufu lwe bafumbako mu ntamu nga tebannalwanika. Olubugo luno nalwo luyitibwa kimote.

LUKENGE NE NALUKENGE:

Gano gava mu bulwadde bwa kakenge, nga buno bwe bukukwata owulira ng’alina amafumu mu lubuto olw’omukka oguba guyitiridde mu lubuto.

NNUNDA:

Linnya eriva mu linnya eriweebwa ekinyonyi kye bayita nnunda oba kalooli oba mulengeranseenene nga gano gonna mannya ga kinyonyi kino.

SSEWANKAMBO: 

Baba basajja. Erinnya lino liva mu linnya ly’ekinyonyi ekiyitibwa enkambo.

MUKUYE:

 Liva mu kigambo enkuyo nga guno muti gwe babajja ne bagukozesa okuzannya omuzannyo gwe bayita okukuba enkuyo.

MUTEBI: 

Erinnya lino liva mu kigambo ‘kutebuka’.  M.B Nsimbi mu katabo Waggumbulizi agamba nti  abantu ba Kabaka tebamusinga magezi. Kabaka okusinga abantu be amagezi kwe bayita okutebuka oba okuteba era mwe muva erinnya Mutebi eritegeeza omuntu asinga abalala amagezi.

KASIITA:

Erinnya lino liva mu kigambo kusiita nga guno gwabanga muzannyo mu Buganda. Baafunanga ensigo emmyuufu eriko eriiso eriddugavu gye bayita ssiiti ne bagiziika mu nfuufu ne bagenda nga bakola entuumu z’enfuuFu ng’olina okuteeba entuumu mw’eri.

LUGUJO:

Lino lya basajja nga liva mu kigambo mugujo ekitegeeza ekisawo ky’effumu omuyingira omuti gwe bayita olunyago.

KIGOZI NE NAKIGOZI:

Gano amannya gava mu lugoye oluyitibwa engozi. Engozi lwe lugoye olusitula omwana olumusookako nga yaakagwa. Olugoye luno lukulu nnyo era terumala gajaajaamizibwa, kubanga omuntu omubi bw’alukwatako ayinza okukola omwanawo ekibi. Mu ngozi eno mwe muva Kigozi ne Nakigozi. Kyokka waliwo abamu abatuuma Nangozi mu kifo kya Nakigozi.

NAKAYIKI: 

Lino liva mu lulimi lwa mweso. Abazannya omweso empiki 10 baziyita kayiki era we wava erinnya Nakayiki ly’oyinza okugamba nti litegeeza empiki 10.

SSONKO:

Lino liva mu kikalappwa ekibeeramu ekkovu ekiriyamba okwekuuma abalabe nakyo kye bayita essonko. Waliwo n’omuzannyo gwe bayita ssonko ng’abaguzannya bakongojja nga bwe bakasuka empeke oba akayinja.

 SSENTUMBWE NE NANTUMBWE:

Ku mubiri kuliko ekitundu kye bayita entumbwe nga bw’ova wansi ku kigere n’oyambuka nga tonnatuuka ku maviivi, awo wakati we wali entumbwe. Abaganda balina gwe bayita omwana ow’omu ntumbwe ng’ono baabanga bamutambulidde nga bamunyaze mu lutalo. Mu kitundu ekyo ekiyitibwa entumbwe mwe muva amannya Ssentumbwe ne Nantumbwe.

 MUGANGA:

Lino litegeeza omuntu asawula oba ajjanjaba oba awonya abalala. Okuganga kwe kujjanjaba oba okuwonya oba okuziyiza endwadde.

LUGGYA NE NALUGGYA:

Beddira Ndiga. Mu maaso g’ennyumba abantu we bayita  nga bajja awaka lwe luyitibwa oluggya era mwe muva erinnya Luggya ne Naluggya.

SSENKUNGO:

Eno yali mbwa ya Ssekabaka Ssuuna 1 ensajja era bwe yafa ne bagiziika e Najjanankumbi kyokka Ssekabaka Muteesa 1 bwe yalya obwakabaka abantu ne beemulugunya nti Ssuuna 1 yakola ekivve n’aziika embwa mu Buganda wakati. Muteesa 1 yalagira n’eziikulwayo ne bagiziika e Kawanda.

 KASAGGA NE NAKASAGGA:

Gano  gava mu kigambo ‘kusagga’ ekikozesebwa mu lulimi lw’abayizzi. Abayizzi bwe bagenda ku ttale okuyigga nga bamaze okuziga ensolo, basiba ebitimba byabwe era ne beesengeka bulungi we banaagittira. Bwe bamala olwo abali mu kitundu ensolo gy’eri era gye baagala okugigoba batandika okusagga. Okusagga kwe kuwoggana okw’engeri zonna okugenderera okutiisa ensolo eve we yeekukumye edduke ng’eraga eri akasiriikiriro so nga y’eri ebitimba n’abaamafumu abagenda okugifumita. Mu kusaggula kuno oba okusagga mwe muva erinnya Kasagga ne Nakasagga era kuliko n’enjogera egamba nti  ‘Bakusaggira okolola ak’obugoba   k’oyagala?’’  nga lukozesebwa ku muntu gwe baba bayambako okufuna ekintu ate ye yennyini n’aleeta kiremya.  

Comments

SSENTONGO

23.02.2020 10:49

SSENTONGO litegeeza ki?

Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page