Oct. 17, 2014

EBIGAMBO EBIMU BIGENDA BIBULA

ABAAGAZI b'olulimi Oluganda kyetaaga okuvaayo amangu bakole okunoonyereza ku mannya g'ebika, ensibuko n'amakulu gaago kubanga amannya gano mangi nnyo era wano tuwugako mawuge so ng'ebigambo ebimu omuva amannya gano bigenze bibula n'ebimu amakulu gaabyo ne gafiira ddala. Abanoonyerezza abanajja bandigaziya ku mulimu gwe tutandiseeko wano sinakindi n'okuzuula ebyafaayo by'amannya bye tutoogeddeeko wano.

Agamu ku mannya n'amakulu gaago:

MUKWAYA NE NAMUKWAYA:

Amannya gano ga bantu abeddira Embogo   nga gava mu kigambo okwaya ekyakozesebwanga mu lulimi lw'entabaalo. Abatabaazi baabanga ne kye bayita okwaya  emmere.  Abasajja be baayitanga abaayi baatambulanga era bwe baasanga emmere yonna gye beetaaga nga tebasaba wabula nga bagikwata bukwasi ne basiba ne batwalira abatabaazi. Kuno kwe baayitanga okwaya nti emmere baayaayanga njaaye. Oyinza okugamba nti Mukwaya ne Namukwaya gategeeza abantu  abanoonyeza abatabaazi emmere mu lutalo.

KAYIMA NE NAKAYIMA

Amannya gano galina akakwate  n’ekigambo muyima. Abayima be balaalo. Abaganda balowooza nti Abayima bantu balungi mu ndabika era bwe bagamba nti yakula kiyima baba boogera ku muntu alina emba ensoobolokufu n’akayindo akatono akawanvu. Amannya Kayima ne Nakayima mu kusooka galabika gaali googera ku baana abaakula ekiyima abalina ennyindo endaalo n’emba ensoobolokofu oba empanvu.

Amannya LUYIMA ne NALUYIMA nago ansibuko yaago y’emu eva mu kigambo Muyima ekikozesebwa okutegeeza omulaalo.

NAMUNYIGA: 

Liva mu kigambo kanyiga ekitegeeza obusungu era kiriko n’olugero nti ‘Akanyiga akakwata embwa omuyizzi takamanya’.

MUYINDU: 

Lino linnya lya bawala abeddira Emmamba nga liva mu mayinja agakozesebwa mu kuweesa agayitibwa omuyindu.

NAMISINGA:

Bano baba  bawala abeddira Engabi nga nalyo liva mu lulimi lwa baweesi. Abaweesi bwe bafukuta amayinja agayitibwa omuyindu, bagasaanuusa ne bafunamu  ebyuma ebiwanvuyirivu bye bayita emisinga nga mu gino mwe baweesa ebyuma ebitali bimu. Mu misinga mwe muva erinnya Namisinga.

SSENNYONJO NE NANNYONJO:

Amannya gano gava mu kigambo ennyonjo nga kino kirina amakulu ga mirundi ebiri. Amakulu agasooka waliwo ennyonjo ezaatikkirwanga Kabaka ku ngule ye nga bino byabanga buuma obwaweesebwanga ne bussibwa ku ngule ya Kabaka okwogera okugirabisa obulungi.  Ku makulu gano kusobola okuba nga kwe kuva amannya Ssennyonjo ne Nannyonjo. Ennyonjo endala kiba kituuti okutuuzibwa abagole nakyo bakiyita nnyonjo.

KAYIZZI:

Erinnya lino liva mu kigambo muyizzi ekiyitibwa omuntu akola omulimu gw’okuyigga.

MITALA NE NAMITALA:

Amannya gano ga bantu abeddira Endiga. Gava mu kigambo mutala ekitundu omuntu kye yaakasengako nga tekuli mmere wadde abantu. Bwe biba ebitundu ebingi bye biyitibwa emitala. Bwe bagamba nti gundi yaakasenga ali ku mutala baba bategeeza nti ali ku kitundu kipya era tekuli mmere.  Emitala kiyinza era okutegeeza nti olina ky’osomoka oba kibira oba mugga olwo ekitundu ky’ozzaaako oyinza okukyogerako nga emitala w’omugga.

NASSIWA:

Linnya lya bawala nga liva mu kusiwa nga luno lulimi olukozesebwa mu kuyiisa omwenge.

Okusiwa kwe kuddira omuwemba omusiike era nga gimaze n’okuseebwa n’oguyiwa mu mubisi olwo n’ogenda ng’ogumerengulira mu mubisi n’ebibatu byo. Kuno kwe bayita okusiwa omwenge era mwe muva Nassiwa.

NABWEGGAMO: 

Nalyo linnya lya bakazi nga liva mu kigambo kweggama ekitera okukozesebwa ku nkuba ne ku bakazi abafumbo. Okweggama enkuba kwe kufuna ekifo enkuba w’etesobola kukukubira n’obeerako awo okutuusa lw’ekya ne weeyongerayo. Abakazi abafumbo bw’akugamba nti alina we yeggamyeko ayinza okuba nga yava mu bufumbo olw’ebizibu n’agira ng’afunako w’abeera ekyosi kimale okuyita alyoke addeyo mu ddya oba yeeyongereyo awalala. Omukazi bw’agamba nti mu bufumbo yeggamyeyo bweggami aba ategeeza nti tagenda kufumba, ajja kutuusa ekiseera aveeyo. Noolwekyo Nabweggamo kitegeeza ekifo ekisobola okukutaasa obuzibu okumala akaseera.

KIMERA NE NAKIMERA:

Amannya gano ensibuko yaago eviira ddala ku mulangira eyava e Bunyoro n’ajja okulya Obwakabaka ng’ono ye Ssekabaka Kimera. Abaganda baamwogerako nti yamera ku Baganda kubanga yava Bunyoro okujja okulya Obwakabaka so nga mu Buganda mwalimu abantu. Baamwogerangako nti Kimera eyamera ku Baganda erinnya Kimera ne litandikira awo. Abawala batuumibwa Nakimera.

Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page