Oct. 25, 2014

Amannya g'ebika agamu gagenda gafa

AMANNYA g'ebika agamu gagenda gafa so ng'okufa kwago kuba kwoleka kufa kwa zimu ku mpisa zaffe, obulombolombo n'ebyafaayo. Abawala bangi kati beeyita mannya ga bakitaabwe, agaabwe ne bagafiisa ne batamanya nti batta byafaayo na bulombolombo bwa Buganda obwekwese era obuterekeddwa mu mannya g'ebika. Kale laba nga gano:

BUWEMBO:

Erinnya lino liva mu kigambo ‘ekiwembo’ nga guno guba mukolo ogw’okutta omuntu Kabaka kwe yakuliranga. Edda, ng’eddiini tennajja, Kabaka bwe  yabanga akola omukolo ogw’okukula, yagendanga ewa Kasujja, Omutaka w’Engeye mu muwafu gwe baayitanga Nnaabonganaani olwo Kabaka n’alyoka abuuza nti Nnaabonga n’ani?. Omuntu eyasookanga okuddamu nti nange nga bamukwata era oluvannyuma baamuttanga ng’okuttibwa kwe kwe kuyitibwa ekiwembo, nga bagamba nti Kabaka mukoka, mw’ayita agenda n’ekiwembo. Ekyalo kwe baamuttiranga nga nakyo kiyitibwa Kiwembo. Mu kiwembo kino mwe muva erinnya Buwembo ly’oyinza okugamba nti litegeeza omuntu ow’akamwa akangu.

KAWEESA:

Bano Baamafumbe. Kaweesa eyasooka yali mutabani wa Walusimbi nga muweesi nnyo kye baava bamutuuma Kaweesa eritegeeza omuweesi.

MPANGA:

Okuggya Bakabaka empanga (olumu luyitibwa luwanga) kyava dda. Kigambibwa nti akalombolombo kano kaviira ddala ku Kabaka Kintu. Kigambibwa nti mu lubiri lwa Kintu e Magonga mwalimu omugugu   ogutaakwatibwangako era Abataka nga bagamba nti  nga tebamanyi kigulimu. Wabula Sir Apolo Kaggwa agamba nti oluvannyuma ennyo bwe baagusumulula ne basangamu empanga bbiri entereke, nga bateebereza nti  olumu lwali lwa Kintu olulala  lwa Chwa Nabakka, Bakabaka abagambibwa nti baabula bubuzi. Kyokka abamu bagamba nti olwokubiri lwandiba nga lwali lwa Nambi muka Kintu. Apolo Kaggwa agamba nti abataka baali balimba okugamba nti tebamanyi kiri mu mugugu   era nga kiteeberezebwa nti osanga  empanga baazitereka nga balowooza nti bwe baliba baddayo gye baava okujja mu Buganda nti baliddayo nazo. Mu mpanga zino mwe muva erinnya Mpanga.

NAKIBONEKA:

Erinnya lya bawala nga liva mu kigambo okuboneka ekitegeeza okulabika okw’ekintu ekyagalwa nayE nga tekitera kulabikalabika. Okuboneka kukozesebwa ku mwezi ne ku Kabaka. Oyinza okugamba nti Nakiboneka litegeeza omuntu nnantalabikalabika.

MUSIIGE: 

Erinnya lya balenzi nga liva mu kigambo kusiiga. Edda abataka n’abakungu baawangayo abaana baabwe mu lubiri ewa Kabaka bakulire eyo nga bamuweereza. Kuno kwe kwayitibwanga okusiiga. Musiige wandigambye nti ye mwana gwe bawaddeyo mu lubiri okuweereza Kabaka.

MUGABI: 

Lino linnya lya basajja ng’ensibuko yaalyo eviira ddala ku Kabaka Kimera.Omulangira Kalemeera bwe yazaala mu muka Kabaka Winyi ayitibwa Wannyana omwana, omwana oyo eyatuumibwa Kimera  baamukweka mu kirombe kye baatuuma mugabi era wano we wava erinnya Mugabi ly’oyinza okugamba nti litegeeza omuntu akweka ebyama.

LUKENGE NE NALUKENGE:

Amannya gano  gategeeza eriggwa  ekkomerere mu ttaka lye liyitibwa lukenge. Ensibuko yaago etandikira ku Ssekabaka Ndawula eyali Kabaka owa 22 ng’obaze okuva  ku Kintu.  Ono omulongo we yamutuuma Lukenge ng’agamba nti obuyinza bwa Kabaka bufaanana n’eriggwa ekkomerere mu ttaka , bw’oliyitako likufumita. Noolwekyo Lukenge ne Nalukenge gategeeza eriggwa ekkomerere mu ttaka.

KASAJJA:

Lino nalyo litandikira ku Ssekabaka Ndawula eyatuuma  olubiri lwe erinnya Kasajjakaaliwano n’agamba nti litegeeza kitiibwa nti omusajja bw’amala okufa nga bamwogerako nti ‘Akasajja ako bwe kaabeeranga mu maka gaako wano nga kalina ekitiibwa n’amalala’ (Laba Empisa Za Baganda ekya Sir Apolo Kaggwa). Erinnya lino oluvannyuma lye baasalako ne lifuuka Kasajja.

MAWANDA: 

Erinnya lino litandikira ku Ssekabaka Ndawula. Omu ku bakazi be, Nakidde Luyiga,  bwe yafuna olubuto ne lumuyisa bubi ng’awandawanda buli kiseera era lumu Kabaka yamugoba ku mmere olw’okuwandawanda ng’agamba nti awanda mu mmere. Kabaka Ndawula yalagira eyali Ssekiboobo, Nkalubo, atte Luyiga ng’amulanga kuwanda malusu nga balya. Nkalubo yatya okumutta n’afunayo omukazi omulala ow’olubuto n’amutta n’akweka Luyiga. Bwe yazaala omulangira, Nkalubo n’amutwalira Kabaka era bwe yalaba omwana ng’amufaanana ate n’ajjukira nnyina bwe yawanda amalusu nga balya   kwe kumutuuma Mawanda (Laba akatabo Ekitiibwa Kya Buganda) . Wano we wava erinnya Mawanda ly’oyinza okugamba nti litegeeza omuntu omuwanduzi w'amalusu oba omujama.

SSAAKA:

Lino linnya lya basajja nga liva mu kigambo okusaaka ekikozesebwa mu kukomaga. Bw’omala okuggya ekikuta ku mutuba n’okukikalakata olwo ozzaako okusaaka ng’okozesa ensaamu ensaaka. Okusaaka kwe kukubaAkuba ekikuta kino ne kigaziwagaziwa nga bwe kigonderera. Mu kusaaka mwe muva erinnya Ssaaka.

KASEKENDE:

Erinnya lino lya basajja nga liva mu buseekende (akamu kaseekende). Obuseekende bwe buti obumera ku tteete obwo obuyitamu ne buwanvuwa, obubaako kyenvu. Edda abamu baabuzimbisanga enju. Mu buseekende buno mwe muva erinnya Kasekende.

NASSIWA: 

Lino lya bawala nga liva mu kigambo kusiwa. Okusiwa kukozesebwa mu lulimi lwa kuyiisa mwenge ng’omuntu addira omuwemba omusiike gwe bamaze okusa n’aguyiwa ku mubisi olwo n’agutabula n’ebibatu gunoge nga tannagubikka gufuuke omwenge. Nassiwa wandigambye nti litegeeza okulunga omubisi n’omuwemba omuse.

MUGWANYA NE NAMUGWANYA:

Gano gatera kutuumibwa Bankima. Aboobutiko nabo bagatuuma. Ensibuko y’erinnya lino eri ku Ssekabaka Kimbugwe ng’ono yali mwana wa Ssuuna I. Kimbugwe bwe yalya obwakabaka n’akuba ekibuga kye ku lusozi lwe yayita Bugwanya era n’olubiri lwe n’alutuuma Bugwanya kye yagamba nti kitegeeza nti 'tutabaganye'. Mu Bugwanya mwe muva erinnya Mugwanya ly’oyinza okugamba nti litegeeza omutabaganya.

NANSUKUSA:

Lino linnya lya bawala nga liva mu kigambo ensukusa ekitegeeza ekitooke ekito ekitannaba kussa. Edda Abaganda nga baakatandika okulima n’okusimba ensuku oli yajjanga ewa munne alabe oba alinayo ku ttooke oli n’amuddamu nti 'nedda ensuku nsa, ebitooke bikyali bito'. Ensuku nsa mwe muva ekigambo ensukusa ekivaamu erinnya Nansukusa. Nansukusa oyinza okugamba nti litegeeza ekitooke ekitannassa.

MAGALA NE NAMAGALA: 

Erinnya lino lirabika liva mu kigambo mugala ekitegeeza akayumba ke bazimba ku kiswa ekisaze basobole okukibikka enswa zireme kubuukira mu bire. Kyokka kirabika Aboolugave okutuuma Magala ne Namagala baakiggya ku butaka bw’owessiga Natiigo obuli e Magala mu Ssingo.

KIKOYO:

Linnya lya basajja nga liva mu bisassalala ebifubutuka mu kiswa eky’ennaka ebimerako obutiko obunakanaka ebiyitibwa ebikoyo. Ebintu ebyo abamu bye bayita enkanja z’obutiko mu Luganda  olutuufu biyitibwa bikoyo, bwe biba eby’enswa ennaka era mwe muva erinnya Kikoyo.

KALYESUBULA:

Litera kutuumwa basajja abeddira Endiga nga liva mu kigambo kusubula  ekikozesebwa mu lulimi lw’okukomaga. Omukomazi bw’aba aggya  oba okuyubuluza ekikuta ku mutuba ky’agenda okukolamu olubugo okwo kwe bayita okusubula. Noolwekyo oyinza okugamba nti Kalyesubula litegeeza okuyubuluza ekikuta ky’omutuba okuva ku muti ng’ogenda okukikomagamu olubugo.

SSEMUKUUTU:

Lino nalyo liva mu lulimi lwa kukomaga. Ekikuta ekiva ku mutuba kye bagenda okukomagamu olubugo kiyitibwa mukaaku kati oba olina okukikalakata ne kivaako ebigalagamba ebyo eby’okungulu. Akambe akeeyambisibwa mu kukalakata omukaaku kayitibwa kkuutu era mwe muva erinnya ssemukuutu ly’oyinza okugamba nti litegeeza akambe akeeyambisibwa mu kukalakata omukaaku nga bagenda okugukolamu olubugo.

KABUGO NE NAKABUGO:

Amannya gano  gombi ga bantu abeddira Enkima, bajjajja ba Buganda, nga gava mu kyambalo ekikulu ekya Buganda, olubugo. Kabaka bw’akisa omukono, okufuna anaamuddira mu bigere, omulangira amusikira amala kubikka njole kabugo. Omulangira kasita abikka akabugo olwo nga Buganda efunye Kabaka. Mu kabugo kano mwe muva amannya Kabugo ne Nakabugo. Olubugo olutono ate nga lulungi oyinza okuluyita akabugo noolwekyo Kabugo ne Nakabugo gategeeza olubugo olutono ate nga lulungi.

GGOLOOBA:

Erinnya lino litera kusangibwa mu balangira nga liva mu kigambo okugolooba ekikozesebwa okutegeeza enjuba ng’ekkirira oba ng’eggweerayo, obudde nga busemberera okuziba. Abamu oluusi bakikozesa okutegeeza okugenda. Oyinza okugamba nti Ggolooba litegeeza enjuba ng’eggweerayo oba ng’ekkirira.

NKATA:

Erinnya lino liva mu kigambo nkata ekitegeeza olulagala oluzinge n’olufunya bulungi ofunemu ekintu kye weEtissa olwo kye weetisse kireme kukunyiga.

MAGANDAAZI:

Lino  lya basajja nga liva mu kigambo okugandaala ekitegeeza okugalamirako oba okuwummulako kyokka nga teweebase. Emmuli bwe ziggyiira mu luyiira bwe zigwa wansi nazo ziyitibwa Magandaazi. Oyinza okugamba nti Magandaazi litegeeza okuwummulako.

Comments

Kibirango

28.05.2020 19:38

What is the meaning of my name

Godfrey

23.02.2020 10:52

Erinnya SSENTONGO litegeeza ki

Tonny . S

07.04.2018 13:37

Erinnya Ssenkubuge litegeeza ki?

Latest comments

29.11 | 05:08

Nzjaako akatinko in English

30.10 | 17:22

Thanks for the updates.

19.10 | 20:16

Bamuyita batya

19.10 | 20:14

Kyayi mu luganda

Share this page