ABAYIZI mu ssomero lya Janan e Bombo mu Luweero basanyusizza Kabaka n'abagenyi abalala bwe babannyonnyodde ssaayansi w'omubiri nga bamuzzizza mu lulimi Oluganda. Balaze engeri omusaayi gye gutambula mu mubiri okuyita mu mutima nga
baguteeka ccupa ne ne bakozesa enseke ezaakoze nga emisuwa okugusaasaanya mu bitundu by'omubiri ebirala. Bino bibadde ku ssomero lino ku mukolo Kabaka kw'akwasirizza engabo essomero eryasinze mu mpaka z'amasomero ga pulayimale ez'okuyimba mu Buganda. Omukolo
guno gwabaddewo ku Lwomukaaga nga 13 Sebutemba 2014.
Ekifananyi ky’omuntu kye baalaze Kabaka kyabadde kiraga engeri emmere gy'etambuzibwamu okuva lw'eriibwa okutuuka mu lubuto. Kiraga emmere bw'eyita mu byenda; ekinene n’ekitono.
Emmere esunsulwamu ey’omugaso n'etambuzibwa mu bitundu by’omubiri ate etali ya mugaso n'etwalibwa mu kifo awakuumibwa obubi.
Mike Kironde, nnannyini masomero ga Janan agamba nti bagenderera okulaga ensi nti basobola bulungi okusomesa
amagezi ga saayansi mu lulimi Oluganda, abayizi n'abantu abalala ne beeyongera okutegeera amagezi ga ssaayansi.
Ono ye kaweefube n'akakiiko ka Luganda Lusoga Lugwere nako gwe katandiseeko okulaba ng'amagezi ga ssaayansi gawandiikibwa mu nnimi ennansi abantu beeyongere okutegeera ssaayansi babe nga basobola okumuyiiyizaaamu ebigasa eggwanga. Mu kiseera kino abaana bangi ebintu babikwata bukusu so si kubisoma kubitegeera. Eno y'ensonga lwaki amagezi gano amakwate obukusu kibakaluubirira okugayiiyizaamu ebintu ebiyamba eggwanga. Obutafaanana na ssomero lya Janan e Bombo, akakiiko ka Luganda Lusoga Lugwere ko kaweefube waako kaamutandikidde ku kufuna bannassaayansi abasobola okukyusa ebisomesebwa mu ssaayansi wa pulayimale mu lulimi Oluganda babikube mu kyapa.
AKAKIIKO ka Luganda Lusoga Lugwere katandise okussaawo ebibiina ebisomi, abayizi mwe banaayita okuyiga okusoma ebiwandiiko by'Oluganda. Omulimu guno bagutandikidde mu ssomero lya Nansana C/U pulayimale gye baatandise ekibiina kino ku Lwokusatu nga 23 July 2014.
Ng'ayogerako ne bannakibiina, omumyuka w'omukulu w'essomero lino, Muky. Ester Araka Oluoch yasiimye akakiiko olw'okuwa essomero lye omukisa ogusooka n'ategeeza nti bo nga essomero babadde bafuba okulaba ng'abaana bayiga okusoma mu nnimi zaabwe. Yategeezezza nti akakiiko okubeegattako kigenda kubanguyiza kaweefube ono. Omu ku bannakakiiko, Mw. Fred Lukabwe Kisirikko, yategeezezza nti abaana okwegatta mu bibiina bino ebisomi kibayamba okuyiga okusoma ebiwandiiko ebiri mu nnimi zaabwe n'okuzirowoolezaamu ate n'okuyiga okwogera mu bantu. Yanenyezza abazadde abaggye ku baana omukisa gw'okuyiga okwerowooleza n'okuyiiya n'agamba nti kino kinafuyizza obwongo bw'abaana. Yawadde ekyokulabirako nti edda abaana baafubanga okuyiga n'okuyiiya okwekolera ddole mu byayi n'emipiira bafune bye bazannyisa naye kati babibagulira bugulizi omwana n'amanyiira buli kimu okumusanga awo.
Pulezidenti w'akakiiko, Muky. Margaret Nankinga yategeezezza nti omwana bw'amala okuyiga obulungi okusoma mu lulimi lwe oluzaaliranwa kimwanguyira okuyiga ennimi endala nnyingi kubanga aba afunye omusingi kw'atandikira.
Omuwi w'amagezi ow'akakiiko, Muky. Pamela Batenga ng'ono kaminsona mu kitongole ky'ebyobuwangwa mu minisitule y'ekikula ky'abantu, ebyemirimu n'okwekulaakulanya, yasabye n'abaana aboogera ennimi endala ezitali Luganda nabo baweebwe omukisa mu kibiina kino basomere bannaabwe ebiwandiiko ebiri mu nnimi zaabwe nabo bazifunemu obumanyirivu mu kuzisoma n'okuzaagala.
Ssekiboobo Alex Kigongo awadde abasomesa b'olulimi Oluganda abeegattira mu kibiina kya Kyaggwe Luganda Teachers Development Forum ofiisi mwe banaakolera ng'abasiima olw'okutegeka empaka z'olulimi Oluganda ez'amasomero ga sekendule. Empaka zino ez'akamalirizo zaabadde ku ssomero lya Seeta High Green Campus ku Ssande nga 6 July ng'abayizi munaana okuva mu masomero ana be baatuuse ku z'akamalirizo ezaawanguddwa Gerald Matovu okuva mu St Stephen's Mukono n'addirirwa William Sserugo owa Mukono High School. Ssekiboobo n'abagenyi abalala abaabaddewo baasiimye abategesi era ne bategeeza nti empaka zino zongedde ku kumanya kw'olulimi Oluganda mu bayzi, ziboogiya obwongo n'okubawa okulowooza amangu awamu n'okwagala olulimi lwabwe. Wano Ssekiboobo we yaweeredde abasomesa bano ofiisi ku ssaza bakakkalabizeemu emirimu gyabwe. Mu balala abaabaddewo kwe kwabadde n'omubaka omukyala owa Mukono, RDC wa Mukono n'abalala.
Ssaabawandiisi w'akakiiko ka African Union ak'ennimi aka African Academy of Languages Polof. Sozinho Fransisco Matsinhe yasisinkanye dayirekita w'ebyobuwangwa mu minisitule y'ekikula ky'abantu Muky. Jane Sanyu Mpagi ne boogeraganya ku nsonga ezikwata ku kakiiko ka Luganda Lusoga Lugwere Cross border Language Commission. Ensisinkano eno yabaddewo ku Lwokutaano nga 30 May 2014 ku kitebe kya minisitule eno ekiri ku Simbamannyo okumpi ne poliisi ya CPS.
Polof. Sozinho bwe yabadde ayogera ku nsisinkano eno, yagambye nti yabadde nnungi kubanga waabaddeyo bye yabadde alina okuttaanya ku kakiiko kano eri dayirekita w'ebyobuwangwa, naddala ku nkolagana yaako n'ekitongole kino eky'ebyobuwangwa. Ensisinkano teyeetabiddwaamu bannakakiiko kyokka oluvannyuma polofeesa yabasisinkanye n'abategeeza ebyavuddemu. Yagambye nti yategeezezza dayirekita nti ekitebe kya African Academy of Languages kyasookera wano mu Uganda, mu Kampala oluvannyuma ne kiryoka kisengulwa okuzzibwa e Bamako mu Mali, n'asaba dayirekita okuwagira akakiiko mu mirimu gyako.
Ssaabawandiisi wa African Academy of Languages Polof. Sozinho Francisco Matsinhe yennyamidde okulaba nga Afrika kuva dda erina sayansi waayo omugundiivu kyokka tasomesebwa mu masomero ekireetedde Afrika okusigalira emabega mu bya sayansi. Bino yabyogedde asisinkanye abaakakiiko ka Luganda Lusoga Lugwere ku Lwokutaano nga 30 May be yasanze ku kitebe kya minisitule y'ekikula ky'abantu mu Kampala. Yawadde ekyokulabirako ky'abawala mu Acholi abeetengerera obusuwa butaano n'okusingawo n'agamba nti okusobola okubwetengerera obusuwa buno bakozesa etteeka ly'essomo lya Physics ery'okwetengerera (law of balance) kyokka nti abasomesa abasomesa essomo lino bwe baba basomesa etteeka lino abawala bano tebaboogerako ekyandiyambye abaana okwongera okunyweza bye bayize kubanga baba babirabako. Yasabye akakiiko kano kanguye emirimu egyakakwasibwa kasobole okutumbula ennimi ennansi zibe nga zisobola n'okusomesebwamu sayansi.
Mu balala abaayogedde mwe mwabadde ne kaminsona mu kitongole ky'ebyobuwangwa Muky. Pamela Batenga eyagambye nti abantu bangi balaga okwagala nga boogera ku nnimi ennansi naye ate bwe kituuka mu kubaako kye bakola ate ne kibula.
Bafunye omukutu
APRIL 26: Luganda Lusoga Lugwere bafunye ekibanja ku website nga bali ku WWW.lugandalusogalugwerecommission.simplesite.com
APRIL 26: Olukiiko lwa Luganda Lusoga Lugwere commission olwatudde ku Lwomukaaga nga 26 April 26 2014 lwasazeewo bammemba okutandika okukola ku ky'okuwandiika enkuluze ennyonnyola ebigambo by'Oluganda mu Luswayiri n'Olungereza
Pulezidenti wa Luganda Lusoga Lugwere asabye gavumenti okussaawo ekitongole ekinaakulaakulanya ennimi ennansi ekya Uganda languages commission. Bino yabyogeredde mu mpaka z'amasomero ga sekendule ezaabadde ku ssomero lya Seeta High e Mbalala gye yabadde
omugenyi omukulu. Empaka zeetabiddwaamu amasomero okwabadde St. Stephen's s.s Ddandira Mukono, Seeta High School Green Campus, Seeta High School Mukono campus, Seeta High School main campus, Forest Hill College, St. Cyprian High School Kyabakadde, Mukono
High School ne Hilton High School.
Ku mukolo gwe gumu, minisita weggwanga ow'ebyenjigiriza ebya waggulu Dr. JC. Miyingo yasuubizza okuwagira ekiteeso ky'okussaawo ekikulaakulanya ennimi ennansi mu ggwanga. Yakubirizza abayizi okujjumbira olulimi Oluganda
n'ategeeza nti abayizi abalusomye banguyirwa okufuna emirimu.
Kaminsona w'ebyobuwangwa n'ebyamaka mu minisitule y'ekikula ky'abantu, Muky. Juliana Kuruhira yeeyamye okukwatizaako akakiiko ka Luganda Lusoga Lugwere okutumbula ennimi ennansi mu Uganda. Mu lukiiko lwe yakubirizza nga April 8, ku kitebe kya minisitule eno olwabaddemu bammemba b'akakiiko kano, Kaminsona yategeezezza nti okutumbula ennimi ennansi n'okuzikulaakulanya ky'ekimu ku biri ku mwanjo mu minisitule ye. Yennyamidde nti ennimi ennansi nnyingi wano mu ggwanga zigenda zoonoonebwa abantu abamala gazikozesa n'ategeeza nti kino kyanditufiiriza amagezi agazirimu. Yasuubizza nga minisitule ye bw'egenda okubaga ekiwandiiko ekisaba gavumenti okussaawo ekitongole ky'ennimi ennansi n'oluvannyuma kitwalibwe mu kabineti kiteesebweko
May 30 2014: The Secretary general of African Academy of Laguages has met with the director of culture, ministry of Gender in Uganda to discuss the Luganda Lusoga Lugwere Commission and how the department of culture can help the commission fulfill its duties. The meeting took place on Friday May 31st 2014 at the ministry headquarters. The Secretary General later met the commission members and adressed them.
APRIL 26: Luganda Lusoga Lugwere cross border language commission gets website.
APRIL 26: In a meeting that sat ate Makerere University department of languages, members of the Luganda Lusoga Lugwere commission have agreed to start writing the Luganda English Kiswahili lexicon.
APRIL 6: President of Luganda Lusoga Lugwere commission has asked govt. to start a Uganda languages commission that will help develop all Uganda's local languages. She was speaking at a secondary schools Luganda language competition at seeta High school Mbalala campus where she presided as guest of honour. The minister of State for Higher education who also attended, promised to support the establishment of the Uganda language commission when tabled ate cabinet. He advised students not to neglect Luganda as those who study it find it easy to get jobs.
APRIL 8: The Commissioner for Culture and family Affairs in the ministry of Gender, Mrs. Juliana Kuruhiira has pledged support for the Luganda Lusoga Lugwere commission saying that the protection and development of local languages is one of the priorities
of the Uganda National Culture Policy.
She noted that languages are changing for the worse and need to be restored or else they will get lost. On behalf of her ministry she promised to prepare a paper about the formation of Uganda languages commission
that will be tabled to cabinet.